bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 21
Numbers 21
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 22 →
1
Araadi, Kabaka Omukanaani, eyabeeranga mu kitundu kya Kanaani eky'ebukiikaddyo, bwe yawulira ng'Abayisirayeli bajja, nga bakutte ekkubo ly'e Atariimu, n'agenda okubalwanyisa, n'awamba abamu ku bo.
2
Abayisirayeli ne beeyama obweyamo eri Mukama ne bagamba nti: “Bw'onooweerayo ddala abantu bano mu mikono gyaffe, tujja kuzikiririza ddala ebibuga byabwe.”
3
Mukama n'akkiriza Abayisirayeli kye baasaba, n'abawa okuwangula Abakanaani, ne babazikiririza ddala, bo n'ebibuga byabwe. Ekifo ne kituumibwa erinnya Horuma.
4
Abayisirayeli ne bava ku Lusozi Hoori, ne batambula, nga bakutte ekkubo eridda ku Nnyanja Emmyufu, basobole okwetooloola ensi ya Edomu. Abantu ne beetamwa olw'olugendo,
5
ne boogera bubi ku Katonda ne ku Musa nti: “Lwaki mwatuggya e Misiri? Mwatuleeta tufiire mu ddungu? Tewali mmere, tewali mazzi. N'okwetamwa twetamiddwa ekyokulya kino ekitalina bwe kiri.”
6
Awo Mukama n'asindika emisota egy'obusagwa, era bangi ku Bayisirayeli ne bafa.
7
Abantu ne bajja eri Musa, ne bagamba nti: “Twakola kibi bwe twayogera obubi ku Katonda ne ku ggwe. Weegayirire Mukama atuggyeko emisota.” Musa n'asabira abantu.
8
Mukama n'agamba Musa nti: “Kola omusota ogufaanana egyo egy'obusagwa, oguwanike ku mulongooti. Buli anaaba alumiddwa omusota, bw'anaatunula ku ogwo, anaawona.”
9
Musa n'aweesa omusota ogw'ekikomo, n'aguwanika ku mulongooti. Awo buli eyabanga alumiddwa omusota, bwe yatunuuliranga omusota ogwo ogw'ekikomo, ng'awona.
10
Abayisirayeli ne batambula, ne basiisira mu Obooti.
11
Bwe baava mu Obooti, ne basiisira mu Yiye-Abariimu, mu ddungu eryolekera Mowaabu, ku ludda olw'ebuvanjuba.
12
Bwe baava eyo, ne batambula ne basiisira mu Kiwonvu ky'e Zeredi.
13
Bwe baava eyo, ne batambula ne basiisira emitala w'Omugga Arunoni, oguli mu ddungu erituuka ne mu nsi y'Abaamori. Omugga Arunoni gwe gwawula ensi y'Abamowaabu ku y'Abaamori.
14
Mu Kitabo ky'Entalo za Mukama kyebava bagamba nti: “Waaheebu mu Suufa n'ebiwonvu bya Arunoni,
15
okukkirira mu biwonvu, okutuuka ku Kibuga Ari, okuliraana ensalo ne Mowaabu.”
16
Bwe baava eyo ne batambula, ne batuuka ku Beeri. Olwo lwe luzzi Mukama lwe yagamba Musa nti: “Kuŋŋaanya abantu, Ŋŋenda kubawa amazzi.”
17
Abayisirayeli ne bayimba oluyimba luno nti: “Muluyimbire! Ggwe oluzzi, sumulula ensulo zo.
18
Oluzzi olwasimwa abakulu, abakungu b'abantu, nga balagirwa omufuzi. Baalusimisanga miti gye bakwata: gye miggo.” Ne bava mu ddungu, ne bagenda e Mataana.
19
Bwe baava e Mataana, ne bagenda e Nahaliyeeli. Bwe baava e Nahaliyeeli ne batuuka e Bamooti.
20
Bwe baava e Bamooti, ne batuuka mu kiwonvu ekiri mu nsi y'Abamowaabu, ku ntikko y'Olusozi Pisuga, okulengererwa eddungu.
21
Abayisirayeli ne batuma ababaka eri Sihoni, Kabaka w'Abaamori, okumugamba nti:
22
“Tukwegayiridde, tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetujja kuwunjawunjako mu nnimiro n'emu, wadde ey'emizabbibu. Tetujja na kunywa mazzi ga mu nzizi zammwe. Tujja kutambulira mu luguudo mwokka, okutuusa lwe tulimala okuyita mu nsi yo.”
23
Kyokka Sihoni n'atakkiriza Bayisirayeli kuyita mu nsi ye. N'akuŋŋaanya abantu be bonna, n'agenda e Yahazi mu ddungu, n'alwanyisa Abayisirayeli.
24
Abayisirayeli ne battira abantu be mu lutalo, ne beefuga ensi ye, okuva ku Mugga Arunoni okutuuka ku Mugga Yabboki, kwe kugamba okutuuka ku Bammoni, kubanga ensalo y'Abammoni yali ekuumibwa na maanyi.
25
Abayisirayeli ne bawamba ebibuga by'Abaamori byonna, omuli ne Hesubooni, n'obubuga bwonna obwali bukyetoolodde, ne babibeeramu.
26
Hesubooni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sihoni kabaka w'Abaamori, eyali amaze okulwanyisa kabaka wa Mowaabu mu kusooka, n'amuwangula, n'awamba ensi ye yonna, okutuukira ddala ku Mugga Arunoni.
27
Abayimbi kyebaava bayimba nti: “Mujje mu Hesubooni ekibuga kya Sihoni, mukizimbe buggya kinywezebwe.
28
Omuliro gwava mu Hesubooni, ennimi zaagwo mu kibuga kya Sihoni, ne gwokya Ari, ekibuga kya Mowaabu, ne guzikiriza ebifo ebigulumivu ebya Arunoni.
29
Nga zibasanze Abamowaabu! Muzikiridde mmwe abasinza lubaale Kemosi! Alese batabani bammwe bafuuke ababungeese, ne bawala bammwe bawambibwe Sihoni, Kabaka w'Abaamori.
30
Naye ffe tubasaanyizzaawo okuva ku Hesubooni, okutuuka e Diboni. Tubazikirizza n'okutuuka e Noofa, ekituuka ku Medeba.”
31
Bwe batyo Abayisirayeli ne bafuukira ddala batuuze mu nsi y'Abaamori.
32
Musa n'atuma abantu okuketta Ekibuga Yazeri. Abayisirayeli ne bakiwamba, awamu n'obubuga obwali bukyetoolodde, ne bagobamu Abaamori abaalimu.
33
Abayisirayeli ne bakyuka, ne bakwata ekkubo ly'e Basani. Ogi, Kabaka w'e Basani, n'abalumba n'abantu be bonna okubalwanyisiza mu Edereyi.
34
Mukama n'agamba Musa nti: “Tomutya, kubanga mmuwaddeyo mu mikono gyo, ye n'abantu be bonna, era n'ensi ye. Onoomukolako kye wakola ku Sihoni, kabaka w'Abaamori, eyabeeranga mu Hesubooni.”
35
Awo Abayisirayeli ne batta Ogi ne batabani be, n'abantu be bonna, obutalekaawo n'omu, ne beefunira ensi ye.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36