bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 31
Numbers 31
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 32 →
1
Mukama n'agamba Musa nti:
2
“Woolera eggwanga ku Bamidiyaani olw'ebyo bye baakola Abayisirayeli. Ng'omaze okukola ekyo, olyoke ofe weegatte ku bajjajjaabo.”
3
Musa n'agamba abantu nti: “Mulonde abasajja mu mmwe, mubawe ebyokulwanyisa, bagende mu lutalo okulwanyisa Abamidiyaani, okubabonereza olw'ebyo bye baakola Mukama.
4
Mulonde mu buli kika kya Yisirayeli abasajja lukumi, mubatume okutabaala.”
5
Awo ne balonda mu nkumi n'enkumi z'Abayisirayeli, abasajja lukumi okuva mu buli kika, ne baweza abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri, abalina ebyokulwanyisa.
6
Musa n'atuma abantu abo olukumi okuva mu buli kika, ne bagenda okutabaala, nga bakulemberwa Finehaasi mutabani wa Eleyazaari kabona, eyagenda n'ebintu eby'omu Kifo Ekitukuvu, n'amakondeere ag'okufuuwa.
7
Ne balumba Midiyaani, nga Mukama bwe yalagira Musa, ne batta abasajja bonna.
8
Mu abo abattirwa mu lutalo olwo, mwe mwali ne bakabaka bataano aba Midiyaani: Evi, ne Rekemu, ne Zuuri, ne Huuri, ne Reba. Era mwe battira ne Balamu mutabani wa Beyori.
9
Abayisirayeli ne banyaga abakazi Abamidiyaani n'abaana abato ab'Abamidiyaani, n'amagana gaabwe gonna ag'ente, n'ag'endiga n'embuzi, n'ebintu byabwe byonna, ne babitwala.
10
Ne bookya ebibuga byonna Abamidiyaani bye baabeerangamu, era n'ensiisira zaabwe zonna.
11
Ne batwala omunyago gwonna gwe baafuna, omwali abantu n'ensolo,
12
ne baguleeta eri Musa ne Eleyazaari kabona, n'eri ekibiina ky'Abayisirayeli, ekyali mu lusiisira, mu nsenyi z'e Mowaabu, ku Yorudaani okumpi ne Yeriko.
13
Awo Musa ne Eleyazaari kabona, n'abakulembeze abalala ab'ekibiina ky'Abayisirayeli, ne bagenda okusisinkana abaserikale, ebweru w'olusiisira.
14
Musa n'asunguwalira abakulu mu ggye abaakulira olukumi lukumi, n'abaakulira ekikumi kikumi, abaali bavudde mu lutabaalo.
15
Musa n'abagamba nti: “Abakazi bonna mubalese nga balamu?
16
Mujjukire nga baali bakazi abo mu mitawaana gye Pewori, abaagoberera amagezi ga Balamu, ne basendasenda Abayisirayeli obutaba beesigwa eri Mukama, bw'atyo kawumpuli n'ajja mu bantu ba Mukama.
17
Kale kaakano mutte buli mwana ow'obulenzi, era mutte buli mukazi eyali yeegasseeko n'omusajja.
18
Naye abawala abato bonna abakyali embeerera, mubeesigalize.
19
Era mmwe musigale ebweru w'olusiisira okumala ennaku musanvu. Buli eyatta omuntu, na buli eyakoona ku mulambo, mmwe mwenna n'abawambe bammwe, mwetukuze ku lunaku olwokusatu, ne ku lunaku olw'omusanvu.
20
Era mutukuze buli kyambalo, na buli kintu eky'eddiba, n'ebintu byonna ebyakolebwa mu byoya by'embuzi, era n'ebintu byonna eby'emiti.”
21
Eleyazaari kabona n'agamba abaserikale abaava mu lutalo nti: “Bino bye biragiro Mukama bye yawadde Musa:
22
‘Zaabu ne ffeeza, ekikomo, ekyuma, ebbaati, n'ekyuma ekizito,
23
buli kintu ekiyinza okugumira omuliro, munaakiyisa mu muliro, ne kiryoka kiba ekirongoofu, naye era ne kitukuzibwa ne mu mazzi ag'okwetukuza. N'ebyo byonna ebitayinza kugumira muliro, munaabitukuza nga mubiyisa mu mazzi.
24
Era munaayoza ebyambalo byammwe ku lunaku olw'omusanvu, ne muba balongoofu, olwo ne mulyoka muyingira mu lusiisira.’ ”
25
Mukama n'agamba Musa nti:
26
“Ggwe ne Eleyazaari kabona, n'abakulembeze b'ekibiina ky'abantu, mubale ebintu byonna ebyanyagiddwa, wamu n'abantu, era n'ensolo.
27
Omunyago mugwawulemu ebitundu bibiri ebyenkanankana: ekitundu ekimu, mukiwe abaserikale abaalwana olutalo, ekitundu ekirala, mukiwe ekibiina ky'abantu abalala bonna abasigaddewo.
28
Ku mugabo gw'abaserikale abaalwana olutalo, onoosoloolezaako Mukama omusolo: omuntu omu ku buli bawambe ebikumi bitaano. Era onookola bw'otyo ne ku nte, ne ku ndogoyi, ne ku mbuzi n'endiga.
29
Omusolo ogwo, oguggye ku mugabo gwabwe, oguwe Eleyazaari kabona, gube ekiweebwayo ekiwongerwa Mukama, ne kiba kikye mu ngeri eyenjawulo.
30
Ne ku mugabo ogw'Abayisirayeli abalala bonna, onoosoloozaako omuntu omu, ku buli bawambe makumi ataano, era onookola bw'otyo ne ku nte, ne ku ndogoyi, ne ku mbuzi n'endiga, ne ku nsolo endala zonna, obiwe Abaleevi abalabirira Eweema ya Mukama.”
31
Musa ne Eleyazaari kabona, ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.
32
Ebintu ebyasigalawo ne biba omunyago abaserikale gwe baanyaga, byali endiga emitwalo nkaaga mu musanvu mu enkumi ttaano,
33
n'ente emitwalo musanvu mu enkumi bbiri,
34
n'endogoyi emitwalo mukaaga mu lukumi,
35
n'abawala embeerera emitwalo esatu mu enkumi bbiri.
36
Ekitundu ekimu ekyokubiri ekyagabanibwa abo abaatabaala, kyali bwe kiti: endiga zaali emitwalo amakumi asatu mu esatu, mu kasanvu mu bitaano.
37
Okwo ne kuggyibwako omusolo gwa Mukama, endiga lukaaga mu nsanvu mu ttaano.
38
Ente zaali emitwalo esatu mu kakaaga, okwaggyibwa omusolo gwa Mukama, ente nsanvu mu bbiri.
39
Endogoyi zaali emitwalo esatu mu bitaano, ne kuggyibwako omusolo gwa Mukama, endogoyi nkaaga mu emu.
40
N'abantu baali omutwalo gumu mu kakaaga, okwaggyibwa omusolo gwa Mukama abantu asatu mu babiri.
41
Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira: n'awa Eleyazaari kabona omusolo ogwo gwonna, ne guba ekiweebwayo ekiwongerwa Mukama, ne kiba kikye mu ngeri eyenjawulo.
42
Ekitundu ekimu ekyokubiri Musa kye yayawula ku ky'abasajja abaatabaala ne kiba eky'Abayisirayeli abalala bonna,
43
kyali bwe kiti: endiga zaali emitwalo asatu mu esatu mu kasanvu mu bitaano.
44
Ente zaali emitwalo esatu mu kakaaga,
45
endogoyi emitwalo esatu mu bitaano,
46
n'abantu omutwalo gumu mu kakaaga.
47
Ku kitundu ekyo ekyaweebwa Abayisirayeli, Musa n'aggyako omuntu omu omu ku buli bantu makumi ataano, n'ensolo emu emu ku buli nsolo amakumi ataano, nga Mukama bwe yamulagira, n'abiwa Abaleevi abaalabiriranga Eweema ya Mukama.
48
Awo abakulembeze mu ggye, abaakulira olukumi lukumi, n'abaakulira ekikumi kikumi, ne bajja eri Musa,
49
ne bamugamba nti: “Ffe abaweereza bo, tubaze abaserikale be twakulembera, ne kutabulako n'omu.
50
Kale tuleese ku by'okwewoomya ebya zaabu buli omu by'afunye: emikuufu, obunyere, empeta ez'oku ngalo n'ez'oku matu, n'ebikomo. Tubitonera Mukama, nga twesabira ekisonyiwo gy'ali.”
51
Musa ne Eleyazaari kabona, ne babaggyako zaabu oyo yenna, eyali akoleddwamu eby'okwewoomya.
52
Zaabu yenna gwe baggya ku bakulembeze b'enkumi n'ab'ebikumi mu ggye, ow'ekiweebwayo ekitonerwa Mukama, ne kiba kikye mu ngeri eyenjawulo, zaabu oyo yaweza kilo nga ebikumi bibiri.
53
Abaserikale baali beenyagidde ebintu, buli omu ebibye.
54
Musa ne Eleyazaari kabona, ne batwala zaabu gwe baggye ku bakulembeze b'enkumi n'ab'ebikumi mu ggye, ne bamuteeka mu Weema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, zaabu oyo abe ekijjukizo ky'Abayisirayeli mu maaso ga Mukama.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36