bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 22
Numbers 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 23 →
1
Abayisirayeli ne batambula, ne basiisira mu nsenyi z'e Mowaabu, emitala wa Yorudaani okwolekera Yeriko.
2
Awo Balaki mutabani wa Zippori n'alaba byonna Abayisirayeli bye baakola ku Baamori.
3
Abamowaabu ne batya nnyo ne batekemuka, kubanga Abayisirayeli baali bangi nnyo.
4
Abamowaabu ne bagamba abakulembeze ba Midiyaani nti: “Kaakano ogubinja guno gujja kulya gusaanyeewo byonna ebitwetoolodde, ng'ente bw'erya n'esaanyaawo omuddo ogw'omu ttale.” Awo Balaki mutabani wa Zippori, era eyali kabaka wa Mowaabu mu kiseera ekyo,
5
n'atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Beyori ow'e Petori, ekiri okumpi n'Omugga Ewufuraate, mu nsi y'Abammoni, okumugamba nti: “Abantu b'eggwanga eddamba bavudde e Misiri, babuutikidde ensi, era bali wano okuliraana nange.
6
Kale kaakano, nkwegayiridde, jjangu onkolimirire abantu bano, kubanga bansinga amaanyi. Olwo mpozzi tunaasobola okubawangula, ne mbagoba mu nsi eno, kubanga mmanyi nga ggwe, omuntu gw'osabira omukisa, agufuna, era nga buli gw'okolimira, akolimirwa.”
7
Awo abakulembeze ba Mowaabu n'aba Midiyaani ne bagenda eri Balamu, nga batutte kye banaamusasula olw'okukolima. Bwe baatuuka gy'ali, ne bamutegeeza ebyo Balaki bye yabatuma.
8
Balamu n'abagamba nti: “Musule wano ekiro kino. Enkya nja kubaddiza obubaka, okusinziira ku ekyo Mukama ky'anaaba aŋŋambye.” Abakulembeze ba Mowaabu ne basula ewa Balamu.
9
Katonda n'ajja eri Balamu n'amubuuza nti: “Bantu ba ngeri ki bano abali naawe?”
10
Balamu n'agamba Katonda nti: “Kabaka wa Mowaabu, Balaki mutabani wa Zippori, antumidde ng'agamba nti:
11
‘Waliwo abantu abavudde e Misiri, ababuutikidde ensi. Nkwegayiridde, jjangu obankolimirire, mpozzi nnaasobola okubalwanyisa, ne mbagoba mu nsi eno.’ ”
12
Naye Katonda n'agamba Balamu nti: “Togenda nabo, era togeza n'okolimira abantu bali, kubanga baaweebwa omukisa.”
13
Enkeera, Balamu n'agamba ababaka ba Balaki nti: “Muddeeyo mu nsi yammwe. Mukama agaanye okunzikiriza okugenda nammwe.”
14
Awo abakulembeze ba Mowaabu ne basituka ne baddayo eri Balaki, ne bamugamba nti: “Balamu agaanye okujja naffe.”
15
Balaki n'ayongera okutuma abakulembeze abalala abasinga abo obungi, era n'okuba abeekitiibwa.
16
Ne bagenda eri Balamu, ne bamugamba nti: “Balaki mutabani wa Zippori agamba nti: ‘Nkwegayiridde, waleme kubaawo kikuziyiza kujja gye ndi,
17
kubanga nja kukukuza obeere waakitiibwa nnyo, era buli ky'onoŋŋamba, nja kukikola. Kale jjangu, nkwegayiridde, onkolimirire abantu bano.’ ”
18
Balamu n'addamu abaweereza ba Balaki nti: “Balaki ne bwe yandimpadde olubiri lwe nga lujjudde ebyobugagga ebingi, siyinza kuva ku ekyo Mukama Katonda wange ky'alagidde. Siyinza kukikendeezaako wadde okukyongerako.
19
Kale nno mbeegayiridde, nammwe musule wano ekiro kino, mmale okumanya Mukama ky'anaayongera okuntegeeza.”
20
Ekiro ekyo Katonda n'ajja eri Balamu, n'amugamba nti: “Abantu abo oba nga bazze kukuyita, situka ogende nabo. Wabula ojja kukola ekyo kyokka kye nkulagira.”
21
Enkeera Balamu bwe yazuukuka, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n'agenda n'abakulembeze ba Mowaabu.
22
Katonda n'asunguwala, kubanga Balamu yagenda. Awo Balamu bwe yali nga yeebagadde endogoyi ye, nga n'abaweereza be babiri bali naye, Malayika wa Mukama n'ayimirira mu kkubo okumuziyiza.
23
Endogoyi bwe yalaba Malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo, ng'akutte ekitala ekisowoddwa, n'eva mu kkubo, n'edda mu ttale. Balamu n'agikuba okugizza mu kkubo.
24
Malayika wa Mukama n'alyoka ayimirira ekkubo we lifundira, nga liyita wakati w'ennimiro z'emizabbibu, ng'ebbali n'ebbali eriyo ekisenge.
25
Endogoyi bwe yalaba Malayika wa Mukama, ne yeenyigiriza ku kisenge, n'enyigirizaako ekigere kya Balamu. Balamu n'addamu okugikuba.
26
Malayika wa Mukama ne yeeyongerayo mu maaso, n'ayimirira mu kifo eky'akanyigo, awatali bwekyusizo ku ddyo wadde ku kkono.
27
Endogoyi bwe yalaba Malayika wa Mukama, n'ebwama ku ttaka, nga Balamu agiri ku mugongo. Balamu n'asunguwala nnyo, n'agikuba n'omuggo gwe.
28
Mukama n'asobozesa endogoyi okwogera, n'egamba Balamu nti: “Nkukoze ki, ggwe okunkuba emirundi gino gyonsatule?”
29
Balamu n'agiddamu nti: “Kubanga onnyoomye. Singa mbadde n'ekitala, n'andikusse.”
30
Endogoyi n'egamba Balamu nti: “Si nze ndogoyi yo gye weebagalako okuva ddi na ddi n'okutuusa kati? Nali nkuyisizzaako bwe ntyo?” Balamu n'addamu nti: “Nedda.”
31
Mukama n'azibula amaaso ga Balamu, Balamu n'alaba Malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo ng'agaludde ekitala ekisowoddwa. Balamu n'akutama, ne yeeyala ku ttaka nga yeevuunise.
32
Malayika wa Mukama n'agamba Balamu nti: “Okubidde ki endogoyi yo emirundi egyo gyonsatule? Nzuuno nzize okukuziyiza, kubanga olugendo lwo sirusemba.
33
Endogoyi yo bw'endabye, n'ekyuka okunneewala emirundi egyo gyonsatule. Singa tekyuse kunneewala, nandibadde nkusse ggwe, yo ne ngireka.”
34
Balamu n'agamba Malayika wa Mukama nti: “Nnyonoonye. Mbadde simanyi ng'oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Kale, kaakano, oba nga olugendo lwange terukusanyusa, ka nzireyo eka.”
35
Malayika wa Mukama n'agamba Balamu nti: “Genda n'abantu abo, naye ekyo kyokka kye nnaakutegeeza, ky'onookola.” Awo Balamu n'agenda n'abakungu ba Balaki.
36
Balaki bwe yawulira nga Balamu azze, n'agenda okumusisinkana mu kibuga kya Mowaabu, ekiri ku lubalama lw'Omugga Arunoni, awasemberayo ddala ku nsalo.
37
Balaki n'agamba Balamu nti: “Lwaki tewajja bwe nakutumira abantu okukuyita ku mulundi ogwasooka? Walowooza nti siyinza kukukuza n'oba waakitiibwa?”
38
Balamu n'agamba Balaki nti: “Nzuuno kaakano nzize gy'oli. Naye olowooza nnina obuyinza okubaako kye njogera ekyange ku bwange? Ekyo kyokka Katonda ky'anandagira okwogera, kye nja okwogera.”
39
Awo Balamu n'agenda ne Balaki, ne batuuka mu Kibuga Huzooti.
40
Balaki n'atambira ente n'endiga, n'aweerezaako Balamu n'abakungu abaali naye.
41
Awo enkeera, Balaki n'atwala Balamu, n'ayambuka naye ku bifo ebigulumivu ebya Baali. Balamu n'asinziira eyo, okulengera ekitundu ku kibinja ky'Abayisirayeli.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36