bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 10
Numbers 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 11 →
1
Mukama n'agamba Musa nti:
2
“Kola amakondeere abiri aga ffeeza, ogaweese, ogakozesenga okuyita abantu okukuŋŋaana, n'okubalagira okuva mu lusiisira okutambula.
3
Bwe banaagafuuwanga gombi, ekibiina kyonna kinaakunŋŋaaniranga w'oli, ku mulyango gw'Eweema Ey'Okunsisinkanirangamu.
4
Naye bwe banaafuuwangako erimu, olwo abakulembeze bokka, abakulu b'Ebika bya Yisirayeli, be banaakuŋŋaaniranga w'oli.
5
Bwe munaagafuuwanga nga musirisaamu, ab'omu nsiisira eziri ku ludda olw'ebugwanjuba banaatandikanga okutambula.
6
Bwe munaagafuuwanga omulundi ogwokubiri nga musirisaamu, ab'omu nsiisira eziri ku ludda olw'ebukiikaddyo banaatandikanga okutambula. Kale banaafuuwanga nga basirisaamu, olw'okulagira abantu okutambula.
7
Naye bwe kunaabanga okuyita abantu okukuŋŋaana, munaagafuuwanga naye nga temusirisaamu.
8
Bakabona ab'olulyo lw'Arooni be banaafuuwanga amakondeere ago. Ekiragiro ekyo munaakikuumanga ennaku zonna.
9
Era mu nsi yammwe bwe munaatabaalanga olutalo okwetaasaako abalabe ababali obubi, kale munaafuuwanga amakondeere ago nga musirisaamu, Nze Mukama Katonda wammwe ne ndyoka mbajjukira mmwe, ne mbawonya abalabe bammwe.
10
Ne mu biseera byammwe eby'okusanyuka, ne ku mbaga zammwe ezaalagirwa, era ne ku ntandikwa ya buli mwezi, munaafuuwanga amakondeere ago nga muwaayo ebitone byammwe ebyokebwa, n'ebitambiro bye muwaayo olw'okutabagana. Olwo Nze Mukama Katonda wammwe nnaabajjukiranga mmwe, ne mbayamba.”
11
Ku lunaku olw'amakumi abiri olw'omwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri, okuva Abayisirayeli lwe baava e Misiri, ekire ne kiggyibwa waggulu wa Weema Entukuvu.
12
Abayisirayeli ne batandika olugendo lwabwe olwabaggya mu Ddungu ly'e Sinaayi, ne batambulira mu bibinja byabwe. Ekire ne kiyimirira mu Ddungu ly'e Parani.
13
Ne batandika okutambula, nga Mukama bwe yabalagira ng'ayita mu Musa.
14
Aba bbendera ey'olusiisira lw'ab'Ekika kya Yuda ne bakulemberamu, nga bali mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Yuda, yali Nahusooni mutabani wa Amminadabu.
15
Ekibinja ky'ab'Ekika kya Yissakaari, kyali kikulirwa Netaneeli, mutabani wa Zuwari.
16
N'ekibinja ky'ab'Ekika kya Zebbulooni, kyali kikulirwa Eliyaabu, mutabani wa Heloni.
17
Olwo Eweema Entukuvu n'esimbulibwa. Ab'olulyo lwa Gerusooni n'ab'olulyo lwa Merari ne bagisitula, ne batandika okutambula.
18
Ne kuddako aba bbendera ey'olusiisira lwa Rewubeeni, nga batambulira mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Rewubeeni, yali Elizuuri mutabani wa Sedewuri.
19
Ekibinja ky'ab'Ekika kya Simyoni, kyali kikulirwa Selumiyeeli, mutabani wa Zurisaddayi,
20
n'ekibinja ky'ab'Ekika kya Gaadi, kyali kikulirwa Eliyasaafu, mutabani wa Deweli.
21
Abakohati ne balyoka baddako, nga basitudde eby'omu Kifo Ekitukuvu. We baatuukiranga awanaaba olusiisira, nga Eweema emaze okusimbibwa.
22
Ku abo, ne kuddako aba bbendera ey'olusiisira lw'ab'Ekika kya Efurayimu, nga batambulira mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Efurayimu, yali Elisaama mutabani wa Ammihudi.
23
Ekibinja ky'ab'Ekika kya Manasse, kyali kikulirwa Gamaliyeeli, mutabani wa Pedazuuri,
24
n'ab'ekibinja ky'ab'Ekika kya Benyamiini nga bakulirwa Abidaani, mutabani wa Gidiyoni.
25
Awo aba bbendera ey'olusiisira lw'ab'Ekika kya Daani, abaakooberanga ebibinja byonna, ne balyoka batandika okutambula nga bali mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Daani, yali Ahiyezeri mutabani wa Ammisaddayi.
26
Ekibinja ky'ab'Ekika kya Aseri, kyali kikulirwa Pagiyeeli mutabani wa Okuraani,
27
n'ekibinja ky'ab'Ekika kya Nafutaali nga kikulirwa Ahira mutabani, wa Enani.
28
Eyo ye ngeri ebibinja Abayisirayeli bye baatambulirangamu gye byaddiriŋŋananga, bwe baabanga bava mu lusiisira olumu okudda mu lulala.
29
Awo Musa n'agamba mukoddomi we Hobabu, mutabani wa Reweli Omumidiyaani nti: “Tutambula okugenda mu kifo, Mukama kye yagamba okutuwa. Mukama yasuubiza Yisirayeli ebirungi. Jjangu tugende ffenna, tuligabanira wamu naawe ebirungi ebyo.”
30
Hobabu n'addamu nti: “Nze sijja kugenda. Nja kuddayo mu nsi y'ewaffe ne mu b'eŋŋanda zange.”
31
Musa n'amuddamu nti: “Totuleka, nkwegayiridde, kubanga ggwe omanyi we tunaayinzanga okusiisira mu ddungu, era ggwe onoogendanga otulagirira.
32
Kale bw'onoogenda naffe, ebirungi byonna Mukama by'anaatukoleranga, tunaabigabaniranga wamu naawe.”
33
Ne bava ku lusozi lwa Katonda, ne batambula olugendo lwa nnaku ssatu. Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama n'ebakulemberamu okubanoonyeza ekifo eky'okusiisiramu.
34
Bwe baatambulanga okuva mu lusiisira, ekire kya Mukama ne kibeera ku bo emisana.
35
Essanduuko ey'Endagaano buli lwe yasitulwanga okutandika olugendo, Musa ng'agamba nti: “Situka, ayi Mukama, abalabe bo basaasaane, n'abakukyawa, badduke bave w'oli.”
36
Era Essanduuko bwe yayimiriranga, ng'agamba nti: “Komawo, ayi Mukama, mu mitwalo n'emitwalo gy'Abayisirayeli. ”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36