bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 24
Numbers 24
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 25 →
1
Balamu bwe yamanya nga Mukama ayagala okuwa Abayisirayeli omukisa, n'atagenda kumala kwebuuza nga bwe yakola mu kusooka, wabula n'ayolekeza amaaso ge eri eddungu.
2
Bwe yayimusa amaaso, n'alaba Abayisirayeli nga basiisidde ng'ebika byabwe bwe biddiriŋŋana. Mwoyo wa Mukama n'ajja ku ye.
3
N'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Bino bye bigambo bya Balamu mutabani wa Beyori, era bye bigambo by'omusajja alaba obulungi.
4
Bino bye bigambo by'oyo awulira Katonda by'agamba, eby'oyo eyeebaka, kyokka n'asigala ng'atunula, n'alaba ebimulagibwa Omuyinzawaabyonna.
5
Eweema zammwe aba Yakobo, n'ensiisira zammwe Abayisirayeli, nga nnungi!
6
Zeeyaliiridde ng'ebiwonvu, ng'ennimiro ku lubalama lw'omugga; ng'emiti gy'omugavu, Mukama gye yasimba. Ziri ng'emiti emyerezi, egiri okumpi n'amazzi.
7
Banaafunanga enkuba nnyingi, ne basiga ensigo zaabwe mu nnimiro efukirirwa obulungi. Kabaka waabwe anaasinganga Kabaka Agagi ekitiibwa, n'obwakabaka bwe bunaatenderezebwanga.
8
Ng'embogo bwe yeesiga amayembe gaayo, nabo bwe beesiga Katonda abaggye mu Misiri. Balisaanyaawo amawanga g'abalabe baabwe, bamenyeemenye amagumba gaabwe, babafumise obusaale bwabwe.
9
Abayisirayeli babwama ne beebaka ng'empologoma ey'amaanyi. Ani aguma okubazuukusa? Buli abasabira omukisa, naye aguweebwenga. Buli abakolimira, naye akolimirwenga.”
10
Awo Balaki n'asunguwalira Balamu, ne yeecwacwana, n'agamba Balamu nti: “Nakuyita kukolimira balabe bange, ate ggwe kaakano obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule.
11
Kale kaakano ddayo ewammwe. Nali nsuubizza okukukuza obe waakitiibwa nnyo, naye Mukama akuziyizizza okukuzibwa.”
12
Balamu n'agamba Balaki nti: “Ababaka be wantumira ssaabagamba nti:
13
‘Balaki ne bw'ampa olubiri lwe nga lujjudde ebyobugagga ebingi, siyinza kuva ku kigambo kya Mukama, ne nkola ekyange ku bwange, ka kibe kirungi oba ekibi,’ era nti ‘Nja kwogera ekyo kyokka Mukama ky'anaagamba?’
14
Kaakano nzirayo mu bantu bange, naye nga sinnagenda, jjangu nkutegeeze abantu bano bye balikola ku bantu bo mu biseera ebijja.”
15
Awo Balamu n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Bino bye bigambo bya Balamu mutabani wa Beyori, era bye bigambo by'omusajja alaba obulungi.
16
Bino bye bigambo by'oyo awulira Katonda by'agamba, amanya amagezi g'Atenkanika, era eby'oyo eyeebaka, kyokka n'asigala ng'atunula, n'alaba ebimulagibwa Omuyinzawaabyonna.
17
“Bwe ntunula, mbalaba, naye si nga bwe bali kati. Mbatunuulira naye nga bandi wala. Kabaka ali ng'emmunyeenye alisibuka mu ba Yakobo bano Ye, ggwe muggo ogw'obwakabaka, ogulisibuka mu Bayisirayeli. Alikuba abakulembeze ba Mowaabu, alisaanyaawo aba Seeti bonna.
18
“Aliwangula abalabe be mu Edomu, ne yeefuga ensi yaabwe Seyiri, nga yo Yisirayeli yeeyongera kuba ya maanyi.
19
Oyo asibuka mu ba Yakobo alifuga, era alisaanyaawo abaliba basigaddewo mu kibuga.”
20
Awo Balamu bwe yatunuulira Abamaleki, n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Ery'Abamaleki lye lyali ebbereberye mu mawanga, naye ku nkomerero, lya kuzikirira.”
21
Bwe yatunuulira Abakeeni, n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Ekifo kye mubeeramu kigumu Kiri ng'ekisu ekyesiifu ekyawanikibwa eyo mu lwazi.
22
“Naye Abakeeni mulizikirizibwa, Abassiriya bwe balibatwala nga muli basibe.”
23
Balamu era n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Zitusanze! Katonda bw'alikola ekyo, ani alisigalawo nga mulamu?
24
Kale abalumbaganyi baliva e Kittimu mu mmeeri, ne bawangula Assiriya ne Eberi, naye nabo balizikirizibwa.”
25
Awo Balamu n'asitula n'addayo ewaabwe, ne Balaki n'akwata amakubo ge.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36