bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 11
Numbers 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 12 →
1
Awo abantu ne batandika okwemulugunyiza Mukama olw'ebizibu ebyabatuukako. Mukama bwe yawulira, n'asunguwala. Omuliro gwe ne gwaka mu bo, ne gwokya ekitundu ekikomererayo mu lusiisira.
2
Abantu ne bakaabirira Musa abayambe. Musa ne yeegayirira Mukama, omuliro ne gukkakkana.
3
Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya “Okwaka”, kubanga omuliro gwa Mukama gwayaka mu bo.
4
Awo ab'omu kibinja ky'abagwira abaali batambula n'Abayisirayeli, ne booya nnyo okulya ennyama. Abayisirayeli nabo ne beemulugunya nga bagamba nti: “Ani anaatuwa ennyama tulye?
5
Kale mazima tujjukira ebyennyanja bye twalyanga eby'obwereere e Misiri, ssaako wujju n'ensujju, n'obutungulu, ne katunguluccumu.
6
Naye kaakano amaanyi gonna gatuweddemu. Tetukyalina kyakulya kye tulabako, wabula mannu eno yokka!”
7
Mannu yali efaanana ng'obusigo bw'omuwemba, naye nga langi yaabwo njeru, ya mataatata.
8
Abantu baagendanga ne bagikuŋŋaanya, ne bagiseera ku mmengo, oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu, ne bagikolamu obugaati. Okuwooma kwayo kwali ng'okw'obugaati obusiikiddwa mu muzigo ogw'emizayiti.
9
Ekiro omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira, mannu n'egwa ku gwo.
10
Musa n'awulira abantu nga beemulugunya, buli omu n'ab'omu maka ge, nga bali ku miryango gy'eweema zaabwe. Mukama n'asunguwala nnyo. Musa n'anakuwala.
11
Musa n'agamba Mukama nti: “Onnanga ki nze omuweereza wo, okumpisa obubi bw'oti? Lwaki tonsaasira? Lwaki ontikka obuvunaanyizibwa ku bantu bano bonna?
12
Nze naba olubuto ne nzaala abantu bano bonna, olyoke oŋŋambe nti: ‘Basitule mu kifuba, ng'omulezi bw'asitula omwana ayonka’, okubatwala mu nsi gye walayirira bajjajjaabwe?
13
Ŋŋenda kuggya wa ennyama okuwa abantu bano bonna? Baabano bankaabirira nga bagamba nti: ‘Tuwe ennyama tulye.’
14
Sirina bwe nnyinza kwetikka buvunaanyizibwa bwa bantu bano bonna nzekka. Ekyo kinzitooweredde nnyo.
15
Oba nga bw'oti bw'ogenda okumpisa, nkwegayiridde waakiri nzita mangu kaakano, nneme okubonaabona bwe nti.”
16
Mukama n'agamba Musa nti: “Nkuŋŋaanyiza abasajja nsanvu, abassibwamu ekitiibwa mu Yisirayeli, b'omanyi nga bakungu, era nga bakulembeze ba bantu, obaleete ku Weema ey'Okunsisinkanirangamu, bayimirire eyo wamu naawe.
17
Nze nja kukka njogerere eyo naawe. Era nja kutoolako ku Mwoyo ali ku ggwe, mmuteeke ku bo, balyoke bakuyambengako ku buvunaanyizibwa obw'okulabirira abantu, bulemenga kubeera ku ggwe wekka.
18
Kaakano gamba abantu nti: ‘Mwetukuze okwetegekera olunaku olwenkya. Mujja kulya ennyama. Mukama awulidde bwe mukaaba nga mwebuuza anaabawa ennyama mulye, nga mugamba nti mwali bulungi mu Misiri. Kale Mukama anaabawa ennyama ne mulya.
19
Temujja kugiriira lunaku lumu oba bbiri, nnaku ttaano oba kkumi, wadde amakumi abiri,
20
naye mwezi mulamba, okutuusa lw'erifulumira mu nnyindo zammwe ne muginyiwa, kubanga mwesammudde Mukama ali mu mmwe, ne mwemulugunyiza mu maaso ge nga mugamba nti mwaviira ki mu Misiri!’ ”
21
Musa n'agamba nti: “Abantu be ndi nabo bawera abasajja emitwalo nkaaga. Ggwe n'ogamba nti onoobawa ennyama bagiriire omwezi mulamba?
22
Waliwo amagana g'endiga n'ente agayinza okubattirwa ne gabamala? Ne bwe babakuŋŋaanyiza ebyennyanja byonna mu nnyanja, biyinza okubamala?”
23
Mukama n'addamu Musa nti: “Obuyinza bwange buliko ekkomo? Kaakano ojja kulaba oba nga kye njogedde kinaatuukirira, oba nga tekiituukirire.”
24
Musa n'afuluma, n'ategeeza abantu Mukama by'ayogedde. N'akuŋŋaanya abasajja nsanvu ku bakulembeze b'abantu, n'abateekawo ne bayimirira okwetooloola Eweema.
25
Mukama n'akkira mu kire, n'ayogera ne Musa. N'atoola ku Mwoyo eyali ku Musa, n'amuteeka ku bakulembeze ensanvu. Mwoyo olwakka ku bo, ne batandika okulanga, kyokka baakoma awo tebaddamu mulundi mulala.
26
Naye ku bakulembeze ensanvu, babiri Elidaadi ne Meedaadi baali basigadde mu lusiisira, nga tebafulumye kujja ku Weema. Mwoyo n'akka ku bo, ne batandika okulanga nga bali mu lusiisira.
27
Ne wabaawo omulenzi eyadduka n'agenda abuulira Musa nti: “Elidaadi ne Meedaadi bali eri mu lusiisira balanga.”
28
Omuweereza wa Musa, era omu ku basajja be abalondemu, ayitibwa Yoswa, mutabani wa Nuuni, n'addamu ng'agamba nti: “Mukama wange Musa, bagaane!”
29
Musa n'amuddamu nti: “Olumirwa nnyo ekitiibwa kyange? Nze nandyagadde, Mukama abantu be bonna abawe Mwoyo we, babe balanzi.”
30
Awo Musa n'abakulembeze ensanvu ne baddayo mu lusiisira.
31
Mukama n'asindika embuyaga, n'ereeta entiitiri okuva ku nnyanja, nga zibuukira mu bugulumivu nga bwa mita emu okuva ku ttaka, ne zigwa kumpi n'olusiisira okulwetooloola, ne zibuna mu kibangirizi ekya kilomita eziwerako ku buli ludda.
32
Abantu ne basituka ne bagenda olunaku olwo lwonna n'ekiro kyonna, n'olunaku lwonna olwaddirira, ne bakuŋŋaanya entiitiri. Eyakuŋŋaanya entono yaweza kilo ng'enkumi bbiri. Ne bazaanika wonna wonna okwetooloola olusiisira.
33
Bwe baali batandise okulya ennyama eyo kyokka nga tebannagimalawo, Mukama n'abasunguwalira nnyo, n'abasuulamu obulwadde obw'amaanyi.
34
Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya “Entaana z'Okwoya”, kubanga mwe baaziika abantu abaayoya ennyama.
35
Abayisirayeli bwe baava mu kifo ekyo, kye baatuuma “Entaana z'Okwoya”, ne bagenda e Hazerooti, ne basiisira eyo.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36