bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 20
Numbers 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 21 →
1
Mu mwezi ogusooka, ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kituuka mu Ddungu ly'e Ziini, ne kisiisira e Kadesi. Miriyamu n'afiira eyo, era n'aziikibwa eyo.
2
Ekibiina kyonna ne kitaba na mazzi, abantu ne bakuŋŋaanira ku Musa ne Arooni nga beemulugunya.
3
Ne bayombesa Musa nga bagamba nti: “Singa twafa baganda baffe lwe baafiira mu maaso ga Mukama!
4
Lwaki mwaleeta ekibiina kya Mukama mu ddungu lino? Mwagala tufiire muno, n'amagana gaffe?
5
Era lwaki mwatuggya e Misiri, ne mutuleeta mu kifo kino ekibi, omutali ŋŋaano, omutali mitiini, omutali mizabbibu, omutali makomamawanga, era omutali wadde amazzi ag'okunywa?”
6
Musa ne Arooni ne bava mu maaso g'ekibiina, ne bagenda ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, ne beeyala ku ttaka nga beevuunise, ekitiibwa kya Mukama ne kibalabikira.
7
Mukama n'agamba Musa nti:
8
“Kwata omuggo ogwo, okuŋŋaanye ekibiina, ng'oli wamu ne Arooni muganda wo, mulagire olwazi olwo, bonna nga balaba, luveemu amazzi. Obaggyire amazzi mu lwazi, bw'otyo onywese ekibiina ky'abantu n'amagana gaabwe.”
9
Musa n'aggya omuggo ku Ssanduuko ey'Endagaano, nga Mukama bwe yamulagira.
10
Musa ne Arooni ne bakuŋŋaanyiza ekibiina mu maaso g'olwazi. Musa n'agamba abantu nti: “Bajeemu mmwe, muwulirize! Tuyinza okubaggyira amazzi mu lwazi luno?”
11
Musa n'agalula omuggo n'agukubisa olwazi emirundi ebiri, amazzi mangi ne gawamatukamu. Abantu bonna ne banywa era n'amagana gaabwe.
12
Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Nga bwe mutanneesize, ne mutampeesa kitiibwa mu maaso g'Abayisirayeli, temuliyingiza kibiina ky'abantu bano mu nsi bo gye mbawa.”
13
Ago ge mazzi g'e Meriba, Abayisirayeli gye baawakanyiza Mukama n'abalaga bw'ali omutuukirivu.
14
Awo Musa ng'ali e Kadesi, n'atuma ababaka eri kabaka wa Edomu okumutegeeza nti baganda be Abayisirayeli bagamba nti: “Omanyi bulungi ebizibu byonna ebyatutuukako.
15
Bajjajjaffe baagenda e Misiri, ne tubeera mu Misiri okumala emyaka mingi. Abamisiri ne batubonyaabonya ffe ne bajjajjaffe.
16
Twakaabirira Mukama atuyambe, n'awulira okukaaba kwaffe, n'atuma omubaka n'atuggya e Misiri. Kaakano tuutuno tuli Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n'ensi yo.
17
Tukwegayiridde, tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetujja kulinnyako mu nnimiro n'emu, wadde ey'emizabbibu, era tetujja kunywa ku mazzi ag'omu nzizi zammwe. Tujja kutambulira mu luguudo mwokka, awatali kuwunjawunjako ku ddyo oba ku kkono, okutuusa lwe tulimala okuyita mu nsi yo.”
18
Naye Abeedomu ne bamuddamu nti: “Tojja kuyita mu nsi yaffe. Bw'onoogezaako okuyitamu, tujja kukwata ebyokulwanyisa tukulwanyise.”
19
Abayisirayeli ne bagamba nti: “Tujja kutambulira mu luguudo mwokka, era ffe n'amagana gaffe, buli lwe tunaanywa ku mazzi gammwe, tujja kugasasulira. Tusaba kimu kyokka: mutukkirize tuyitemu buyisi.”
20
Abeedomu ne bagamba nti: “Temujja kuyitamu.” Ne basindika eggye eddene n'ebyokulwanyisa eby'amaanyi okulumba Abayisirayeli.
21
Bwe batyo Abeedomu ne bagaana Abayisirayeli okuyita mu nsi yaabwe. Abayisirayeli ne bakyuka ne bakwata ekkubo eddala.
22
Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kiva e Kadesi, ne kitambula, ne kituuka ku Lusozi Hoori,
23
ku nsalo ne Edomu. Nga bali eyo, Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti:
24
“Arooni ajja kufa yeegatte ku bajjajjaabe. Tajja kuyingira mu nsi gye mpa Abayisirayeli, kubanga mmwe mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi ag'e Meriba.
25
Twala Arooni ne Eleyazaari mutabani we, oyambuke nabo ku Lusozi Hoori.
26
Arooni omwambulemu ebyambalo bye eby'obwakabona, obyambaze Eleyazaari mutabani we. Arooni ajja kufiira eyo, yeegatte ku bajjajjaabe.”
27
Musa n'akola nga Mukama bwe yalagira. Ne bambuka ku Lusozi Hoori, ng'ekibiina kyonna kiraba.
28
Musa n'ayambulamu Arooni ebyambalo eby'obwakabona, n'abyambaza Eleyazaari mutabani wa Arooni. Arooni n'afiira eyo ku ntikko y'olusozi. Olwo Musa ne Eleyazaari ne baserengeta ne bava ku lusozi.
29
Awo ekibiina ky'Abayisirayeli bwe kyamanya nga Arooni afudde, ne kimukungubagira okumala ennaku amakumi asatu.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36