bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 2
Numbers 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 3 →
1
Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti:
2
“Abayisirayeli bwe banaabanga basiisira, buli muntu ajjanga kusiisira awali bbendera y'ekibinja kye, era awali obubonero bw'Ekika kye. Banaasiisiranga okwetooloola Eweema ey'Okunsisinkanirangamu, nga bagyesuddeko ebbanga.
3
“Abanaasiisiranga ku ludda lw'ebuvanjuba nga batunuulidde enjuba gy'eva, banaabanga ba bbendera ya lusiisira lwa Yuda mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Yuda ye Nahusooni mutabani wa Amminadabu.
4
Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga.
5
Ab'Ekika kya Yissakaari be banaasiisiranga okumuliraana. Omukulembeze waabwe ye Netaneeli mutabani wa Zuwari.
6
Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo etaano mu enkumi nnya mu bina.
7
Ne kuddako ab'Ekika kya Zebbulooni, ng'omukulembeze waabwe ye Eliyaabu mutabani wa Heloni.
8
Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo etaano mu kasanvu mu bina.
9
Abasajja bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Yuda, mu bibinja byabwe, baali emitwalo kkumi na munaana mu kakaaga mu bina. Abo be banaasookanga okutambula.
10
“Ku ludda olw'ebukiikaddyo, we wanaabanga bbendera y'olusiisira lwa Rewubeeni mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Rewubeeni ye Elizuuri mutabani wa Sedewuri.
11
Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano.
12
Ab'Ekika kya Simyoni be banaasiisiranga okumuliraana. Omukulembeze waabwe ye Selumiyeeli mutabani wa Zurisaddayi.
13
Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo etaano mu kenda mu bisatu.
14
Ne kuddako ab'Ekika kya Gaadi, ng'omukulembeze waabwe ye Eliyasaafu mutabani wa Reweli.
15
Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano.
16
Abasajja bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Rewubeeni, mu bibinja byabwe, baali emitwalo kkumi n'etaano mu lukumi mu bina mu ataano. Abo be banaabeeranga mu kifo ekyokubiri mu kutambula.
17
“Awo Eweema ey'okunsisinkanirangamu n'eryoka eddako, wamu n'olusiisira lw'Abaleevi, wakati w'ensiisira ezikulembera n'eziddirira. Nga bwe baddiriŋŋana mu kusiisira, era bwe banaddiriŋŋananga mu kutambula, bagoberere bbendera zaabwe, nga buli omu atambulira mu kifo kye.
18
“Ku ludda olw'ebugwanjuba, we wanaabanga bbendera y'olusiisira lwa Efurayimu, mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Efurayimu, ye Elisaama mutabani wa Ammihudi.
19
Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo ena mu bitaano.
20
Ab'Ekika kya Manasse be banaasiisiranga okumuliraana. Omukulembeze waabwe ye Gamaliyeeli mutabani wa Pedazuuri.
21
Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bibiri.
22
Ne kuddako ab'Ekika kya Benyamiini, ng'omukulembeze waabwe ye Abidaani mutabani wa Gidiyoni.
23
Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu bina.
24
Abasajja bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Efurayimu, mu bibinja byabwe baali emitwalo kkumi mu kanaana mu kikumi. Abo be banaabeeranga mu kifo ekyokusatu mu kutambula.
25
“Ku ludda olw'ebukiikakkono, we wanaabanga bbendera ey'olusiisira lwa Daani mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Daani, ye Ahiyezeri mutabani wa Ammisaddayi.
26
Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu.
27
Ab'Ekika kya Aseri be banaasiisiranga okumuliraana. Omukulembeze waabwe ye Pagiyeeli mutabani wa Okuraani.
28
Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo ena mu lukumi mu bitaano.
29
Ne kuddako ab'Ekika kya Nafutaali, ng'omukulembeze waabwe ye Ahira mutabani wa Enani.
30
Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina.
31
Abasajja bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Daani, mu bibinja byabwe, baali emitwalo kkumi n'etaano mu kasanvu mu lukaaga. Abo be banaasembangayo emabega, nga bbendera bwe ziddiriŋŋana.”
32
Abo be Bayisirayeli abaabalibwa okusinziira ku nnyumba za bajjajjaabwe. Abasajja bonna abaabalibwa mu nsiisira zonna, mu bibinja byabwe, baali emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.
33
Naye nga Mukama bwe yalagira Musa, bo Abaleevi tebaabalibwa wamu na Bayisirayeli bannaabwe.
34
Bwe batyo Abayisirayeli ne batuukiriza byonna Mukama bye yalagira Musa: ne basiisiranga awali bbendera zaabwe, era ne batambulanga bwe batyo, okusinziira ku nsibuko ya buli omu, n'ennyumba ya bajjajjaabe.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36