bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 25
Numbers 25
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 26 →
1
Abayisirayeli bwe baali e Sittimu, ne batandika okukola obwamalaaya n'abakazi Abamowaabu.
2
Abakazi abo bwe baakolanga embaga nga batambirira balubaale baabwe, baayitanga Abayisirayeli. Abayisirayeli ne beetaba mu kulya, era ne bavuunamira balubaale abo,
3
ne batabagana ne lubaale Baali ow'e Pewori. Mukama n'abasunguwalira.
4
Mukama n'agamba Musa nti: “Twala abakulembeze bonna ab'Abayisirayeli obattire mu maaso gange emisana ttuku, ndyoke ndekere awo okusunguwalira abantu.”
5
Musa n'agamba abakungu b'Abayisirayeli nti: “Buli omu ku mmwe atte basajja be abaasinzizza Baali ow'e Pewori.”
6
Mu kaseera ako, omu ku Bayisirayeli n'aleeta mu weema ye omukazi Omumidiyaani, nga Musa n'Abayisirayeli bonna balaba, bwe baali nga bakungubagira ku mulyango gw'Eweema ey'Okusisinkanirangamu Mukama.
7
Finehaasi mutabani wa Eleyazaari, era muzzukulu wa Arooni kabona, bwe yalaba ekyo, n'asituka n'ava mu kibiina ky'abantu, n'akwata effumu,
8
n'agoberera omusajja oyo Omuyisirayeli n'omukazi oyo, mu weema. N'abafumita effumu, ne libayitamu bombi. Olwo kawumpuli eyali azikiriza Abayisirayeli, n'akomezebwa,
9
ng'amaze okutta abantu emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
10
Mukama n'agamba Musa nti:
11
“Olw'ekyo Finehaasi mutabani wa Eleyazaari, era muzzukulu wa Arooni kabona, ky'akoze, ndekedde awo okusunguwalira Abayisirayeli. Yagaanye okubaako b'agumiikiriza mu bo, okusinza omulala yenna atali Nze, kyenvudde sibazikiriza mu busungu bwange.
12
Kale, mugambe nti nkola naye endagaano ey'emirembe, era nti mmusiima,
13
ye n'ezzadde lye eririmuddirira, babenga bakabona olubeerera, kubanga teyagumiikirizza banvuganya Nze Katonda we, bw'atyo n'afunira Abayisirayeli ekisonyiwo.”
14
Omusajja Omuyisirayeli eyattirwa awamu n'omukazi Omumidiyaani yali Zimuri, mutabani wa Saalu, omukulu w'emu ku nnyumba ez'ab'Ekika kya Simyoni.
15
Omukazi Omumidiyaani eyattibwa, yali Kozibi muwala wa Zuuri, eyali akulira abamu ku bakulu b'ennyumba mu Bamidiyaani.
16
Mukama n'agamba Musa nti:
17
“Lumba Abamidiyaani, obatte,
18
kubanga balabe bammwe. Baabasalira enkwe, ne babasenderasendera e Pewori. Era balabe bammwe, olwa Kozibi muwala w'omufuzi Omumidiyaani. Kozibi oyo, mwannyinaabwe, ye yattibwa mu kiseera kya kawumpuli, olw'ebyo ebyagwawo e Pewori.”
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36