bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 8
Numbers 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 9 →
1
Mukama n'agamba Musa nti:
2
“Bw'onoobanga oteeka ettaala, ettaala omusanvu, ku kikondo kyazo, onoozitereezanga zimulise ebbanga eriri mu maaso g'ekikondo kyazo.”
3
Arooni n'akola bw'atyo, n'atereeza ettaala ne zimulisa ebbanga eriri mu maaso g'ekikondo kyazo, nga Mukama bwe yalagira Musa.
4
Ekikondo kyali kiweeseddwa, nga kyonna kya zaabu okuva ku kikolo kyakyo, okutuuka ku matabi gaakyo. Kyali kiweeseddwa okufaananira ddala ekyokulabirako Mukama kye yalaga Musa.
5
Mukama n'agamba Musa nti:
6
“Yawula Abaleevi mu Bayisirayeli abalala, obatukuze.
7
Onoobatukuza bw'oti: onoobamansirako amazzi agaateekebwawo okunaazangako ebibi, beemwe omubiri gwonna, era booze engoye zaabwe, beetukuze.
8
Ebyo nga biwedde, batwale ente emu ennume envubuka wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, bwe buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, era obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti. Naawe otwale ente endala ennume envubuka, eneeba ekiweebwayo olw'ebibi.
9
Olwo onookuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, n'oleeta Abaleevi mu maaso g'Eweema ey'Okunsisinkanirangamu.
10
Ng'omaze okuleeta Abaleevi mu maaso gange, Abayisirayeli ne balyoka bateeka emikono ku Baleevi abo,
11
Arooni n'abampongera babe bange mu ngeri ey'enjawulo, ekitone ekivudde mu Bayisirayeli, Abaleevi bafuuke abaweereza bange.
12
Abaleevi banaateeka emikono gyabwe ku mitwe gy'ente, oziweeyo gyendi Nze Mukama: emu ebe ekiweebwayo olw'ebibi, n'eyookubiri, ebe ekiweebwayo ekyokebwa okusonyiyisa Abaleevi ebibi.
13
“Abaleevi onoobateekawo baweerezenga Arooni ne batabani be, era onoobampongera Nze Mukama, babe bange mu ngeri ey'enjawulo.
14
Bw'otyo bw'onoyawula Abaleevi mu Bayisirayeli abalala, Abaleevi babe bange.
15
Ng'omaze okubatukuza n'okubampongera babe bange mu ngeri ey'enjawulo, Abaleevi banaasaanira okukolanga ogw'obuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu,
16
kubanga bampeereddwa mu butongole okuva mu Bayisirayeli abalala. Mbeerobozezza babe bange mu kifo ky'abaggulanda ab'obulenzi b'Abayisirayeli abalala bonna.
17
Abaggulanda bonna ab'obulenzi mu Bayisirayeli, bange, era na buli nsolo y'Abayisirayeli esooka okuzaalibwa, yange. Nabeeyawulira ku lunaku lwe nattirako abaggulanda bonna ab'obulenzi mu nsi y'e Misiri.
18
Kaakano Abaleevi be ntutte mu kifo ky'abaggulanda bonna ab'obulenzi mu Bayisirayeli.
19
Nzigye Abaleevi mu Bayisirayeli abalala bonna, ne mbawaayo eri Arooni ne batabani be ng'ekirabo, bakolerenga Abayisirayeli omulimu gw'obuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu, era bawonyenga Abayisirayeli akabi akandibatuusengako singa basemberera Ekifo Ekitukuvu.”
20
Musa ne Arooni n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli bwe batyo bwe baakola ku Baleevi. Baatuukiriza byonna Mukama bye yalagira Musa okukola ku Baleevi.
21
Abaleevi ne beetukuza, ne booza engoye zaabwe; Arooni n'abawonga eri Mukama, babeere babe mu ngeri ey'enjawulo, era n'akola omukolo ogw'okubasonyiyisa ebibi, n'abatukuza.
22
Abayisirayeli ne bakola byonna Mukama bye yalagira Musa okukola ku Baleevi. Ebyo bwe byaggwa, Abaleevi ne basaanira okukolanga omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, nga balabirirwa Arooni ne batabani be.
23
Mukama n'ayogera ne Musa ng'agamba nti:
24
“Lino lye tteeka ku Baleevi: Abawezezza emyaka amakumi abiri mu etaano n'okusingawo, be banaakolanga omulimu ogw'obuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu.
25
Naye bwe banaawezanga emyaka amakumi ataano, banaalekeranga awo okukola omulimu gw'obuweereza, ne bawummula.
26
Banaayinzanga okuyamba ku Baleevi bannaabwe, nga babalagirira okutuukiriza omulimu gwabwe ogw'obuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu, naye bo tebaakolenga mulimu. Bw'otyo bw'onootegeka Abaleevi okutuukirizanga omulimu gwabwe.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36