bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 15
Numbers 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 16 →
1
Mukama n'agamba Musa nti:
2
“Yogera n'Abayisirayeli, obagambe nti: ‘Bwe mulimala okutuuka mu nsi gye ŋŋenda okubawa okubeerangamu,
3
ne mwagala okutoola ku nte, ne ku ndiga ne mbuzi zammwe, okuntonera Nze Mukama ekiweebwayo ekyokebwa oba ekitambiro, okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo mu kweyagalira, oba ku nnaku zammwe enkulu ezaateekebwawo, akawoowo k'ebyokulya ebyo, kansanyusa Nze Mukama.
4
Oyo antonera Nze Mukama ekitone kye eky'engeri eyo, anaakiwangayo wamu ne kilo emu ey'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu lita y'omuzigo ogw'emizayiti, nga kye kiweebwayo eky'emmere ey'empeke.
5
Anaawangayo ne lita y'omwenge gw'emizabbibu, nga kye kiweebwayo eky'ebyokunywa. Ebyo bye munaategekanga bigendere wamu na buli kiweebwayo ekyokebwa, oba ekitambiro eky'endiga ento.
6
“Oba nga endiga ennume ye eweebwayo, munaategekanga kilo bbiri ez'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, nga butabuddwamu lita emu n'ekitundu ey'omuzigo ogw'emizayiti, ebyo ne biba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke.
7
Era munaawangayo lita emu n'ekitundu ey'omwenge ogw'emizabbibu, nga kye kiweebwayo eky'ebyokunywa. Akawoowo kaakyo kansanyusa Nze Mukama.
8
“Bwe munaategekanga okuntonera, Nze Mukama, ente ebe ekiweebwayo ekyokebwa oba ekitambiro, okutuukiriza obweyamo, oba ebe ekiweebwayo olw'okutabagana,
9
omuntu anaagiweerangayo wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, kya kilo ssatu ez'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu lita bbiri ez'omuzigo ogw'emizayiti.
10
Era munaawangayo n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa kya lita bbiri ez'omwenge ogw'emizabbibu. Akawoowo k'ekitambiro ekyo kansanyusa Nze Mukama.
11
“Ebyo bye binaaweebwangayo nga muwaayo buli nte ennume, oba buli ndiga ennume, oba buli ndiga ento, oba embuzi.
12
Obungi bw'ebintu ebyo ebigenderako buneeyongeranga okusinziira ku bungi bw'ensolo ze munaategekanga okuwaayo.
13
Bannansi bonna banaakolanga ebyo bwe batyo, bwe banaabanga bawaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'akawoowo akansanyusa Nze Mukama.
14
N'omugwira abeera mu mmwe okumala akabanga oba ebbanga lyonna, bw'anaabanga ayagadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'akawoowo akansanyusa Nze Mukama, anaakoleranga ddala nga mmwe bwe mukola.
15
Mu kibiina munaabangamu amateeka ge gamu agafuga mmwe, n'abagwira ababeera mu mmwe, era amateeka ago tegaakyukenga ennaku zonna. Mmwe, n'abagwira abo, munaayisibwanga bumu mu maaso ga Mukama.
16
Amateeka n'obulombolombo binaabanga bye bimu ebibafuga mmwe, n'abagwira ababeera mu mmwe.”
17
Mukama era n'agamba Musa
18
ayogere n'Abayisirayeli, abagambe nti: “Bwe mulituuka mu nsi gye mbatwalamu,
19
ekiseera ne kituuka ne mulya ku mmere erimiddwa mu nsi eyo, mulyawuzaako ekitundu, kibe ekitone ekyenjawulo kye muntonera, Nze Mukama.
20
Ku ŋŋaano gye musooka okukanda, munaggyangako omugaati ne muguwaayo, gube ekitone ekyenjawulo.
21
Mu biseera byammwe byonna eby'omu maaso, ku ŋŋaano yammwe gye musooka okukanda, munaggyangako ekiweebwayo ekyenjawulo ne mukintonera, Nze Mukama.
22
“Naye oboolyawo munaayinzanga okusobya mu butali bugenderevu, ne mutatuukiriza biragiro bino byonna, Nze Mukama bye ntegeezezza Musa.
23
Era oboolyawo gye bujja, munaayinzanga okulemwa okukola byonna, Nze Mukama bye nalagira nga mpita mu Musa.
24
Bwe munaabanga mukikoze nga temugenderedde, olw'okuba ng'ekibiina kibadde tekimanyi kiteekwa kukolebwa, ekibiina kyonna kinaawangayo ente ennume emu envubuka, n'eba ekiweebwayo ekyokebwa eky'akawoowo akansanyusa Nze Mukama, wamu n'ekiweebwayo kyakwo eky'emmere ey'empeke, n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako ng'etteeka bwe liragira, era n'embuzi emu ennume, ebe ekiweebwayo olw'ebibi.
25
Kabona anaasabiranga ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ekisonyiwo, era banaasonyiyibwanga, kubanga ekisobyo ekyo tekyali kigenderere, era banaabanga bandeetedde Nze Mukama ekitone kyabwe eky'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo olw'ebibi olw'ekisobyo ekyo.
26
Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli n'abagwira ababeera mu bo, kinaasonyiyibwanga, kubanga bonna banaabanga bakoze ensobi eyo nga si ŋŋenderere.
27
“Omuntu bw'anaakolanga ekibi nga tagenderedde, anaawangayo embuzi enduusi ey'omwaka ogumu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi.
28
Omuntu oyo akoze ekibi nga tagenderedde, kabona anaamusabiranga ekisonyiwo gye ndi Nze Mukama, n'asonyiyibwa.
29
Munaabeeranga n'amateeka ge gamu agafuga buli akola ekibi nga tagenderedde, k'abe omuzaaliranwa Omuyisirayeli, oba omugwira abeera mu Bayisirayeli.
30
“Naye buli anaakolanga ekibi ng'agenderedde, k'abe omuzaaliranwa oba omugwira, oyo anaabanga anyoomodde Mukama, era anaaboolebwanga mu bantu be,
31
kubanga anaabanga anyoomye ekigambo kyange Nze Mukama, era ng'amenye ekiragiro kyange, ne yeesingisa yekka omusango, n'aboolebwa.”
32
Lwali lumu Abayisirayeli nga bakyali mu ddungu, ne wabaawo omuntu eyasangibwa ng'alonderera obuku ku lunaku lwa Sabbaato.
33
Abo abaamusanga ne bamuleeta eri Musa ne Arooni n'ekibiina kyonna,
34
n'akuumibwa nga musibe, kubanga baali tebannamanya kya kumukolera.
35
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Omuntu oyo ateekwa okuttibwa. Ekibiina kyonna kinaamukubira amayinja ebweru w'olusiisira.”
36
Ekibiina kyonna ne kimufulumya ebweru w'olusiisira, ne kimukuba amayinja n'afa, nga Mukama bwe yalagira Musa.
37
Mukama n'agamba Musa
38
ayogere n'Abayisirayeli, abalagire nti: “Mutungenga bulijjo ebijwenge ku mikugiro gy'ebyambalo byammwe, era ku bijwenge ebiri ku buli mukugiro, muteekengako akawuzi aka bbululu.
39
Ebijwenge ebyo bibabeererenga akabonero akabajjukiza: buli lwe munaabirabanga, mujjukirenga ebiragiro byange byonna, mutuukirizenga kye biragira, mulemenga okunvaako okugoberera ebyo emitima gyammwe n'amaaso gammwe bye bibaleetera okwegomba.
40
Olwo mujjukirenga ebiragiro byange byonna, era mutuukirizenga kye biragira, mulyoke mubeererenga ddala bange.
41
Nze Mukama, Nze Katonda wammwe. Nabaggya mu nsi y'e Misiri, ndyoke mbe Katonda wammwe. Nze Mukama, Nze Katonda wammwe.”
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36