bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 6
Numbers 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 7 →
1
Mukama n'agamba Musa
2
ayogere n'Abayisirayeli, abagambe nti: “Omusajja oba omukazi bw'aneeyamanga ku lulwe okwewongera Mukama, amweweere ddala okumala ekiseera,
3
anaayawukananga n'okunywa omwenge n'ebyokunywa ebirala ebitamiiza. Taanywenga ku kyakunywa na kimu ekikoleddwa mu mizabbibu, era taalyenga mizabbibu mibisi wadde egikaziddwa.
4
Ennaku zonna z'alimala nga yeewongedde Mukama, taalyenga kintu na kimu ekiva ku muzabbibu newaakubadde ensigo wadde ebikuta.
5
“Ennaku zonna z'alibeera mu bweyamo bw'okwewongera Mukama, taasalenga ku nviiri ze era taazimwengako. Anaasibwanga obweyamo bwe ebbanga lyonna ly'alimala nga yeewongedde Mukama, era anaalekanga enviiri ze n'ebirevu bye ne bikula.
6
Ennaku zonna ze yeewongeramu Mukama, taasembererenga mulambo
7
kwefuula atali mulongoofu, ne bwe guba gwa kitaawe, oba gwa nnyina, oba gwa muganda we, oba gwa mwannyina, kubanga aba muwonge eri Katonda.
8
Ennaku zonna ez'okwewonga kwe, aba ayawuliddwa n'aba wa Mukama mu ngeri ey'enjawulo.
9
“Singa omutwe gw'omuwonge gufuuka ogutali mulongoofu olw'omuntu afiiridde okumpi naye embagirawo, omuwonge oyo anaalindanga ne wayitawo ennaku musanvu, n'alyoka amwa omutwe gwe, n'addamu okuba omulongoofu.
10
Ku lunaku olw'omunaana, anaaleetanga eri kabona enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, ku mulyango gw'Eweema Ey'Okunsisinkanirangamu.
11
Awo kabona anaawangayo akamu ku bunyonyi obwo, kabe ekiweebwayo olw'ebibi, n'akookubiri kabe ekiweebwayo ekyokebwa, n'amusabira ekisonyiwo olw'ekisobyo kye yakola eky'okuliraana omufu. Omuntu oyo anaddangamu okuwonga omutwe gwe ku lunaku olwo lwennyini.
12
Era anaawongeranga Mukama ebbanga eggere ly'alimala nga amwewongedde, n'aleeta endiga ento ennume ey'omwaka ogumu, ebe ekiweebwayo olw'omusango. Naye ebbanga eryasooka linaabanga lifudde, kubanga okwewonga kwe kwayonooneka.
13
“Lino lye tteeka erifuga omuwonge, ebbanga ery'okwewonga kwe bwe linaggwangako: ku lunaku lwe linaggwangako, anaaleetebwanga ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama,
14
n'awaayo ekitone kye eri Mukama kya nsolo ssatu ezitaliiko kamogo: endiga ento ennume ey'omwaka ogumu, ebe ekiweebwayo ekyokebwa; n'endiga ento enduusi ey'omwaka ogumu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi; era n'endiga ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'okutabagana.
15
Era n'awaayo ekibbo eky'emigaati egitazimbulukusiddwa, n'obugaati obukoleddwa mu buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti, era n'emigaati egy'empewere egitazimbulukusiddwa, egifukiddwako omuzigo ogw'emizayiti, era n'ebiweebwayo ebigenderako: eky'emmere ey'empeke, n'eky'ebyokunywa.
16
“Kabona anaabyanjulanga eri Mukama, n'awaayo ekiweebwayo olw'ebibi, n'ekiweebwayo ekyokebwa.
17
N'atambira endiga ennume, ebe ekiweebwayo eri Mukama olw'okutabagana, n'akiwaayo awamu n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukusiddwa. Kabona era anaawangayo ebiweebwayo ebigenderako: eky'emmere ey'empeke, n'eky'ebyokunywa.
18
Olwo omuwonge anaamweranga omutwe gwe ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, n'addira enviiri ze, akabonero akalaga okwewonga kwe, n'aziteeka mu muliro oguliko ekitambiro eky'ekiweebwayo olw'okutabagana.
19
“Kabona anaatwalanga omukono ogw'endiga ennume ogumaze okufumbibwa, era n'aggya mu kibbo akagaati kamu akatazimbulukusiddwa, n'omugaati ogw'empewere gumu ogutazimbulukusiddwa, byonna n'abiteeka mu ngalo z'omuwonge amaze okwemwako enviiri eziraga okwewonga kwe.
20
Kabona anaabiwuubanga bibe ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. Ebyo, awamu n'ekifuba ekiwuubibwa era n'ekisambi ekisitulibwa, byayawulirwa kabona. Ebyo bwe biggwa, omuwonge n'alyoka ayinza okunywa omwenge.
21
Eryo lye tteeka erinaafuganga omuntu eyeeyama okwewongera Mukama amweweere ddala okumala ekiseera, era lye linaafuganga ekitone ky'anaawangayo eri Mukama. Naye omuwonge bw'aneeyamanga okuwaayo eri Mukama ebisingawo, anaabiwangayo nga bw'anaabanga yeeyamye.”
22
Mukama n'agamba Musa
23
ategeeze Arooni ne batabani be nti bwe banaabanga basabira Abayisirayeli omukisa, banaagambanga bwe bati nti:
24
“Mukama akuwe omukisa akukuume,
25
Mukama akusanyukire, akukwatirwe ekisa;
26
Mukama akutunuulize amaaso ag'ekisa, akuwe emirembe.”
27
Mukama n'agamba nti: “Bwe batyo bwe banaakoowooleranga erinnya lyange ku Bayisirayeli, ne mpa Abayisirayeli omukisa.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36