bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 29
Numbers 29
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 30 →
1
“Ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu. Ku lunaku olwo, munaafuuwanga amakondeere.
2
Munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, kiwunyire Mukama akawoowo: ente ennume envubuka emu, endiga enkulu ennume emu, n'endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo.
3
Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, eky'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti: kilo ssatu olw'ente, kilo bbiri, olw'endiga enkulu ennume,
4
ne kilo emu, olwa buli ndiga ento, ku ndiga ento ennume omusanvu.
5
Era munaawangayo n'embuzi ennume emu ebe ekiweebwayo olw'ebibi, okubasabira ekisonyiwo.
6
Ebyo munaabiwangayo, okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba eky'olunaku olusooka mu mwezi, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, era n'ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, okuli n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ebigenderako, nga bwe byalagirwa. Ebiweebwayo ebyo ebyokebwa biwunyira Mukama akawoowo.
7
“Ne ku lunaku olw'ekkumi, olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza, ne mwebonereza, era temuukolenga mulimu na gumu.
8
Munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, ekiwunya akawoowo: ente envubuka emu, endiga enkulu ennume emu, endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, era nga zonna teziriiko kamogo.
9
Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, eky'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti: kilo ssatu olw'ente, kilo bbiri olw'endiga enkulu ennume,
10
ne kilo emu olwa buli ndiga ento, ku ndiga ento ennume omusanvu.
11
Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi, okwongereza ku kiweebwayo olw'ebibi olw'okusaba ekisonyiwo, n'ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako.”
12
“Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu. Munaakolanga embaga okumala ennaku musanvu, okussaamu Mukama ekitiibwa.
13
Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ne mukyokya nga kiramba, kiwunyire Mukama akawoowo: ente envubuka kkumi na ssatu, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo.
14
Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, eky'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti: kilo ssatu, olwa buli nte, ku nte ekkumi n'essatu, ne kilo bbiri, olwa buli ndiga, ku ndiga zombi enkulu ennume,
15
ne kilo emu, olwa buli ndiga, ku ndiga ento ekkumi n'ennya.
16
Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ekyo munaakiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako.
17
“Ku lunaku olwokubiri, munaawangayo ente envubuka kkumi na bbiri, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo.
18
Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira.
19
Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako.
20
“Ku lunaku olwokusatu, munaawangayo ente kkumi n'emu, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo.
21
Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira.
22
Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako.
23
“Ku lunaku olwokuna, munaawangayo ente kkumi, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya, nga zonna teziriiko kamogo.
24
Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira.
25
Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako.
26
“Ku lunaku olwokutaano, munaawangayo ente mwenda, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya, nga zonna teziriiko kamogo.
27
Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira.
28
Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako.
29
“Ku lunaku olw'omukaaga, munaawangayo ente munaana, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo.
30
Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira.
31
Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako.
32
“Ku lunaku olw'omusanvu, munaawangayo ente musanvu, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo.
33
Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira.
34
Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako.
35
“Ku lunaku olw'omunaana, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu.
36
Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ne mukyokya nga kiramba, kiwunyire Mukama akawoowo: ente emu, endiga enkulu ennume emu, n'endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo.
37
Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira.
38
Era munaawangayo n'embuzi emu ennume, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako.
39
“Ebyo bye munaawangayo eri Mukama ku mbaga zammwe ezaateekebwawo, bibe ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa, era ne bye muwaayo olw'okutabagana. Munaabiwangayo, nga mwongereza ku ebyo bye muwaayo okutuukiriza obweyamo bwammwe, ne ku ebyo bye muwaayo nga mweyagalidde.”
40
Musa n'ategeeza Abayisirayeli byonna Mukama bye yamulagira.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36