bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 7
Numbers 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 8 →
1
Ku lunaku Musa lwe yamalirako okusimba Eweema Entukuvu, yagifukako omuzigo, n'agiwongera Mukama, awamu n'ebintu byonna ebikozesebwa mu yo. Era ne alutaari yagifukako omuzigo, n'agiwongera Mukama, awamu n'ebintu byonna ebikozesebwa ku yo.
2
Awo abakulembeze ba Yisirayeli abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, ne batona. Be baali abakulu b'ebika, era be baakulira okubala abantu.
3
Ne baleeta ekitone kyabwe mu maaso ga Mukama. Baaleeta amagaali mukaaga amabikkeko, nga buli bakulembeze babiri baleese eggaali limu ate nga buli mukulembeze aleese ente emu. Ne babyanjula mu maaso g'Eweema Entukuvu.
4
Mukama n'agamba Musa nti:
5
“Baggyeeko bye batonye, bikozesebwenga emirimu egy'okuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu. Era onoobikwasa Abaleevi, okusinziira ku ebyo buli bamu bye beetaaga okukozesa.”
6
Musa n'addira amagaali n'ente, n'abikwasa Abaleevi.
7
Amagaali abiri n'ente nnya, n'abikwasa Abagerusooni, ng'asinziira ku mulimu gwe baalina okukola.
8
N'amagaali ana n'ente munaana n'abikwasa Abamerari, ng'asinziira ku mulimu gwe baalina okukola, nga bonna balabirirwa Yitamaari mutabani wa Arooni kabona.
9
Naye bo Abakohati teyabawa, kubanga ebintu ebitukuvu bye baaweebwa okulabiriranga, baabisituliranga ku bibegabega byabwe.
10
Abakulembeze era ne baleeta ebitone olw'okuwonga alutaari ku lunaku lwe yafukibwako omuzigo, ne babiwaayo mu maaso ga alutaari.
11
Mukama n'agamba Musa nti: “Olw'okuwonga alutaari, baleete ebitone byabwe buli mukulembeze ku lunaku lulwe.”
12
Eyaleeta ekitone kye ku lunaku olusooka yali Nahusooni mutabani wa Amminadabu ow'omu Kika kya Yuda.
13
Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke;
14
ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane;
15
ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa,
16
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi;
17
n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Nahusooni mutabani wa Amminadabu kye yawaayo.
18
Ku lunaku olwokubiri, Netaneeli mutabani wa Zuwari era omukulu w'Ekika kya Yissakaari, n'awaayo.
19
Bye yawaayo okuba ekitone kye byali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke;
20
ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane;
21
ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
22
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi,
23
n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Netaneeli mutabani wa Zuwari kye yawaayo.
24
Ku lunaku olwokusatu, Eliyaabu mutabani wa Heloni era omukulu w'Ekika kya Zebbulooni, n'awaayo.
25
Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke;
26
ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane;
27
ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
28
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi;
29
n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Eliyaabu mutabani wa Heloni kye yawaayo.
30
Ku lunaku olwokuna, Elizuuri mutabani wa Sedewuri era omukulu w'Ekika kya Rewubeeni, n'awaayo.
31
Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke;
32
ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane;
33
ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
34
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi;
35
n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Elizuuri mutabani wa Sedewuri kye yawaayo.
36
Ku lunaku olwokutaano, Selumiyeeli mutabani wa Zurisaddayi era omukulu w'Ekika kya Simyoni, n'awaayo.
37
Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke;
38
ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane;
39
ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
40
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi;
41
n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Selumiyeeli mutabani wa Zurisaddayi kye yawaayo.
42
Ku lunaku olw'omukaaga, Eliyasaafu mutabani wa Deweli, era omukulu w'Ekika kya Gaadi, n'awaayo.
43
Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke;
44
ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane;
45
ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
46
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi;
47
n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Eliyasaafu mutabani wa Deweli kye yawaayo.
48
Ku lunaku olw'omusanvu, Elisaama mutabani wa Ammihudi, era omukulu w'Ekika kya Efurayimu, n'awaayo.
49
Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu, ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke;
50
ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi ekijjudde obubaane;
51
ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
52
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi;
53
n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Elisaama mutabani wa Ammihudi kye yawaayo.
54
Ku lunaku olw'omunaana, Gamaliyeeli mutabani wa Pedazuuri, era omukulu w'Ekika kya Manasse, n'awaayo.
55
Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke;
56
ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane;
57
ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
58
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi;
59
n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Gamaliyeeli mutabani wa Pedazuuri kye yawaayo.
60
Ku lunaku olw'omwenda, Abidaani mutabani wa Gidiyoni, era omukulu w'Ekika kya Benyamiini, n'awaayo.
61
Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke;
62
ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane;
63
ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
64
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi;
65
n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Abidaani mutabani wa Gidiyoni kye yawaayo.
66
Ku lunaku olw'ekkumi, Ahiyezeri mutabani wa Ammisaddayi, era omukulu w'Ekika kya Daani, n'awaayo.
67
Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke;
68
ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane;
69
ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
70
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi;
71
n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Ahiyezeri mutabani wa Ammisaddayi kye yawaayo.
72
Ku lunaku olw'ekkumi n'olumu, Pagiyeeli mutabani wa Okuraani, era omukulu w'Ekika kya Aseri, n'awaayo.
73
Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke;
74
ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane;
75
ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
76
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi;
77
n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Pagiyeeli mutabani wa Okuraani kye yawaayo.
78
Ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri, Ahira mutabani wa Enani, era omukulu w'Ekika kya Nafutaali, n'awaayo.
79
Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke;
80
ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane;
81
ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
82
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi;
83
n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Ahira mutabani wa Enani kye yawaayo.
84
Bino bye bitone ebyaweebwayo abakulembeze ba Yisirayeli olw'okuwonga alutaari, ku lunaku lwe yafukibwako omuzigo: ensaniya kkumi na bbiri eza ffeeza; ebbakuli kkumi na bbiri eza ffeeza ezikozesebwa mu kumansira; n'ebijiiko ebinene kkumi na bibiri ebya zaabu.
85
Buli lusaniya olwa ffeeza nga luzitowa kilo ng'emu n'ekitundu, na buli bbakuli ng'ezitowa gulaamu nga lunaana. Ebintu byonna ebya ffeeza byaweza obuzito bwa kilo amakumi abiri mu musanvu ne gulaamu nga lukaaga, mu kipimo eky'omu Kifo Ekitukuvu.
86
Ebijiiko ebinene byali kkumi na bibiri ebya zaabu ebijjudde obubaane, nga buli kimu kya gulaamu nga kikumi mu kkumi, mu kipimo eky'omu Kifo Ekitukuvu. Ebijiiko byonna ebinene ebya zaabu, byaweza obuzito bwa kilo emu ne gulaamu nga bisatu mu abiri.
87
Ensolo zonna ez'ekiweebwayo ekyokebwa, zaali ente ennume kkumi na bbiri, endiga ennume kkumi na bbiri, endiga ento ennume ez'omwaka ogumu kkumi na bbiri, awamu n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke ebigenderako; era n'embuzi ennume kkumi na bbiri ez'ekiweebwayo olw'ebibi.
88
Ate ensolo zonna ez'ekiweebwayo olw'okutabagana, zaali ente amakumi abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga, n'endiga ento ennume ez'omwaka ogumu, nkaaga. Ebyo bye bitone bye baawaayo okuwonga alutaari ng'emaze okufukibwako omuzigo.
89
Musa bwe yayingira mu Weema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama okwogera ne Mukama, n'awulira eddoboozi ery'oyo ayogera naye ng'asinziira waggulu w'entebe ey'obusaasizi eyali ku Ssanduuko ey'Endagaano, wakati wa bakerubi bombi. N'ayogera naye.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36