bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 28
Numbers 28
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 29 →
1
Mukama n'agamba Musa
2
alagire Abayisirayeli nti: “Ebiweebwayo eby'emmere eteekwa okutonerwa Mukama, nga bye biweebwayo ebyokebwa ebyakawoowo akamusanyusa, munassangayo omwoyo okubiwaayo gy'ali mu biseera byabyo ebyalagirwa.”
3
Era abagambe nti: “Kino kye kiweebwayo ekyokebwa kye munaawangayo eri Mukama: endiga ento ennume bbiri ez'omwaka ogumu ogumu era ezitaliiko kamogo, zibenga ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku.
4
Endiga ento emu, munaagitambiranga ku makya, endiga ento endala ne mugitambira akawungeezi,
5
nga kugenderako ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekya kilo emu ey'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu lita emu ey'omuzigo ogw'emizayiti, omulungi.
6
Kino kye kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, ekyasooka okuweerwayo ku Lusozi Sinaayi, nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekiwunyira Mukama akawoowo.
7
Ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigendera ku buli ndiga ento emu, kinaabanga kya lita emu. Ekiweebwayo ekyo eky'ebyokunywa ekika, kye mutonera Mukama, munaakiyiwanga mu Kifo Ekitukuvu.
8
Akawungeezi munaatambiranga endiga ento eyookubiri, nga bwe munaabanga mutambidde ey'oku makya, nga kuliko ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako, ne kiba ekiweebwayo ekyokebwa ekiwunyira Mukama akawoowo.
9
“Ku lunaku olwa Sabbaato, munaawangayo endiga ento ennume bbiri, ezitannaweza myaka ebiri, era ezitaliiko kamogo. Era munaawangayo kilo bbiri ez'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, era ne mwongerako n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako.
10
Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli Sabbaato, ekyongerwa ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako.
11
“Ekiweebwayo ku buli ntandikwa ya mwezi, munaawangayo eri Mukama ekitambiro ekyokebwa nga kiramba: ente envubuka bbiri, n'endiga enkulu ennume emu, endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, era ezitaliiko kamogo.
12
Olw'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, munaawangayo obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti: kilo ssatu ez'obuwunga obwo olwa buli nte, kilo bbiri olwa buli ndiga enkulu ennume,
13
ne kilo emu olwa buli ndiga ento ennume. Ekiweebwayo ekyo ekyokebwa nga kiramba, kye kiweebwayo ekyokebwa, ekiwunyira Mukama akawoowo.
14
N'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, binaabanga lita bbiri ez'omwenge ogw'emizabbibu, olwa buli nte ennume, lita emu n'ekitundu, olwa buli ndiga nkulu ennume, ne lita emu, olwa buli ndiga ento. Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli mwezi, okumalako omwaka.
15
Okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako, munaawangayo eri Mukama embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi.
16
“Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako eneekolerwanga Mukama, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogusooka mu mwaka.
17
Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo, embaga emala ennaku omusanvu, era eriirwako emigaati egitazimbulukusiddwa eneetandikanga.
18
Ku lunaku lw'embaga eyo olusooka, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu.
19
Munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa, ne kyokebwa nga kiramba: ente envubuka bbiri, n'endiga enkulu ennume emu, n'endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, era ezitaliiko kamogo.
20
Olw'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, munaawangayo olwa buli nte ennume, kilo ssatu ez'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti, ne kilo bbiri, olw'endiga enkulu ennume,
21
ne kilo emu, olwa buli ndiga ento, ku ndiga ento omusanvu.
22
Era munaawangayo embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi, okubasabira ekisonyiwo.
23
Munaawangayo ebyo, okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, ekya buli nkya.
24
Bwe mutyo bwe munaawangayo buli lunaku okumala ennaku omusanvu, ekiweebwayo ekyokebwa, ekiwunyira Mukama akawoowo. Munaakiwangayo okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako.
25
Ku lunaku olw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu.
26
“Ku lunaku olusooka olw'Embaga ey'Amakungula, era eyitibwa Embaga eya Wiiki Omusanvu, nga muwaayo eri Mukama eŋŋaano eyaakakungulwa, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu.
27
Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekiwunyira Mukama akawoowo: ente envubuka bbiri, endiga enkulu ennume emu, n'endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu.
28
Era olw'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, munaawangayo olwa buli nte ennume kilo ssatu ez'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti, ne kilo bbiri olw'endiga enkulu ennume emu,
29
ne kilo emu olwa buli ndiga ento ennume, ku ndiga ento ennume omusanvu.
30
Era munaawangayo embuzi ennume emu olw'okubasonyiyisa ebibi.
31
Munaawangayo ebyo wamu n'ebiweebwayo byabyo eby'ebyokunywa ebigenderako, okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako. Era mwekkaanyenga nti bye muwaayo, tebiriiko kamogo.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36