bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 19
Numbers 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 20 →
1
Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti:
2
“Kino kye kiragiro ekiri mu tteeka, Nze Mukama lye nteekawo. Ŋŋamba bwe nti: Gamba Abayisirayeli bakuleetere ente eya lukunyu eteriiko kamogo, era eteteekebwangako kikoligo.
3
Mugiwe Eleyazaari kabona, agitwale ebweru w'olusiisira, bagitte ng'alaba.
4
Awo Eleyazaari kabona annyike olugalo lwe mu musaayi gwayo, agumansire emirundi musanvu okwolekera obwenyi bw'Eweema Ey'Okunsisinkanirangamu Nze Mukama.
5
Ente eyo yonna, okutwaliramu eddiba, n'ennyama, n'omusaayi, n'ebyenda byayo, eyokebwe, nga Eleyazaari kabona, alaba.
6
Kabona oyo akwate omuti omwerezi, n'akati aka yisopu, n'ekiwuzi ky'olugoye olumyufu, abisuule mu muliro, ente eyo mw'eyokerwa.
7
Olwo Eleyazaari ayoze engoye ze, anaabe omubiri, alyoke ayingire mu lusiisira, wabula asigale nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
8
N'omuntu ayokezza ente eyo, ayoze engoye ze, anaabe omubiri, wabula naye asigale nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
9
Omuntu omulongoofu ayoole evvu ly'ente eyo, alitereke ebweru w'olusiisira mu kifo ekirongoofu, gye liba likuumirwa. Evvu eryo linaakozesebwanga ekibiina ky'Abayisirayeli, okutegeka amazzi agakozesebwa mu mukolo ogw'okwetukuza, ogukolebwa okuggyawo ebibi.
10
Omuntu ayodde evvu ly'ente eyo, ayoze engoye ze, wabula abe atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Etteeka lino linaabanga lya lubeerera ku Bayisirayeli ne ku bagwira ababeera mu bo.
11
“Buli anaakoonanga ku mulambo gw'omuntu, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu.
12
Ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw'omusanvu, anaanaabanga amazzi ag'okwetukuza, n'alyoka aba omulongoofu. Kyokka ku lunaku olwo olwokusatu ne ku lunaku olw'omusanvu bw'ateetukuzenga, anaasigalanga nga si mulongoofu.
13
Buli akoona ku mulambo gw'omuntu n'ateetukuza, avumaganya Eweema ya Mukama, era anaaboolebwanga mu Bayisirayeli. Anaasigalanga nga si mulongoofu, kubanga tamansiddwako mazzi ag'okwetukuza.
14
“Omuntu bw'afiira mu weema, lino lye tteeka: buli ayingira mu weema eyo, na buli aba asangiddwamu, aba atali mulongoofu okumala ennaku musanvu.
15
Buli kintu mu weema eyo ekyasaamiridde, ekitabikiddwako kisaanikira, tekiba kirongoofu.
16
Era ebweru, buli akoona ku gwe basse obussi, oba ku afudde yekka, oba akoona ku ggumba ly'omufu, oba ku malaalo, taba mulongoofu okumala ennaku musanvu.
17
“Olw'okuggyawo obutali bulongoofu, banaatoolanga ku vvu ery'ekitone ky'ente eya lukunyu ekyayokebwa olw'okutukuza, ne baliteeka mu kibya, ne baliyiwamu amazzi agaggyiddwa mu mugga ogukulukuta.
18
Omuntu omulongoofu anaakwatanga akati aka yisopu, n'akannyika mu mazzi ago, n'agamansira ku weema, ne ku bintu byamu byonna, ne ku bantu abaagirimu, ne ku oyo eyakoona ku ggumba oba ku gwe basse obussi oba ku afudde yekka oba ku malaalo.
19
Ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw'omusanvu, omuntu omulongoofu anaamansiranga ku atali mulongoofu. Ku lunaku olw'omusanvu, anaamutukuzanga. Olwo omuntu oyo atannaba mulongoofu, anaayozanga engoye ze, n'anaaba, n'aba omulongoofu akawungeezi.
20
“Omuntu atali mulongoofu bw'ateetukuza, asigala nga si mulongoofu, kubanga amazzi ag'okwetukuza gaba tegamumansiddwako. Era olw'obutaba mulongoofu, avumaganya Weema ya Mukama, era anaaboolebwanga n'ava mu kibiina ky'abantu ba Katonda.
21
Etteeka lino munaalikuumanga ennaku zonna. Omuntu amansira amazzi agakozesebwa okutukuza, naye anaayozanga engoye ze. N'oyo anaakoonanga ku mazzi agakozesebwa okutukuza, taabenga mulongoofu okutuuka akawungeezi.
22
Buli kintu atali mulongoofu ky'anaakoonangako, kinaafuukanga ekitali kirongoofu, ne buli anaakikoonangako, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.”
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36