bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 26
Numbers 26
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 27 →
1
Awo kawumpuli bwe yaggwa, Mukama n'agamba Musa ne Eleyazaari, mutabani wa Arooni kabona, nti:
2
“Mubale Abayisirayeli bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, abayinza okugenda okutabaala. Mubabale nga mugoberera ennyumba za bajjajjaabwe.”
3
Awo Musa ne Eleyazaari kabona, ne bategeeza abantu nga bali mu nsenyi z'e Mowaabu, ku Yorudaani okwolekera Yeriko, ne babagamba nti:
4
“Mubale abantu abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, nga Mukama bwe yalagira Musa.” Bano be Bayisirayeli abaava mu nsi y'e Misiri:
5
Ekika kya Rewubeeni omwana omuggulanda wa Yisirayeli, kyalimu Amasiga: erya Hanoki n'erya Pallu,
6
n'erya Hezirooni n'erya Karumi.
7
Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Rewubeeni, era abaabalibwa ku bo, baali emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu asatu.
8
Ab'olulyo lwa Pallu baali Eliyaabu
9
ne batabani be, Semweli, ne Datani, ne Abiraamu. Datani ne Abiraamu abo be baalondebwa ekibiina ky'abantu, ne bawakanya Musa ne Arooni, era be beetaba ne Koora lwe baawakanya Mukama.
10
Ettaka lyayasama ne libamira wamu ne Koora, bwe kityo ekibinja ekyo ne kifa, omuliro lwe gwazikiriza abasajja ebikumi ebibiri mu ataano, ne bafuuka akabonero akalabula abalala.
11
Naye batabani ba Koora tebaafa.
12
Ekika kya Simyoni kyalimu Amasiga: erya Nemweli, n'erya Yamini, n'erya Yakini;
13
erya Zera, n'erya Sawuuli.
14
Ago ge Masiga g'Ab'Ekika kya Simyoni. Gaalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu bibiri.
15
Ekika kya Gaadi kyalimu Amasiga: erya Zefoni, n'erya Haggi, n'erya Suni;
16
erya Ozini, n'erya Eri;
17
erya Aroodi, n'erya Areli.
18
Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Gaadi, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo ena mu bitaano.
19
Batabani ba Yuda, Eri ne Onani, baafiira mu nsi ye Kanaani.
20
Ekika kya Yuda kyalimu Amasiga: erya Seela, n'erya Pereezi, n'erya Zera.
21
Essiga lya Pereezi lyalimu ennyiriri: olwa Hezirooni, n'olwa Hamuli.
22
Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Yuda, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo musanvu mu kakaaga mu bitaano.
23
Ekika kya Yissakaari kyalimu Amasiga: erya Toola, n'erya Puva;
24
erya Yasuubu, n'erya Simurooni.
25
Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Yissakaari, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya.
26
Ekika kya Zebbulooni kyalimu Amasiga: erya Seredi, n'erya Eloni, n'erya Yaleeli.
27
Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Zebbulooni, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo mukaaga mu bitaano.
28
Yosefu yalina batabani be Manasse, ne Efurayimu.
29
Mu Kika kya Manasse, Makiri mutabani wa Manasse oyo, ye kitaawe wa Gileyaadi, era gano ge Masiga g'abo abasibuka mu Gileyaadi:
30
erya Yezeri, n'erya Heleki;
31
erya Asiriyeeli n'erya Sekemu;
32
erya Semida, n'erya Heferi.
33
Zelofehaadi mutabani wa Heferi teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala era amannya gaabwe ge gano: Maala ne Noowa, Hogula, Milika ne Tiruza.
34
Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Manasse, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu.
35
Ekika kya Efurayimu kyalimu Amasiga: erya Sutela, n'erya Bekeri, n'erya Tahani.
36
Ab'omu lulyo lwa Erani basibuka mu Sutela, ye jjajjaabwe.
37
Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Efurayimu, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bitaano. Abo bonna basibuka mu Yosefu.
38
Ekika kya Benyamiini kyalimu Amasiga: erya Bela, n'erya Asubeeli, n'erya Ahiraamu;
39
erya Sefufaamu, n'erya Hufaamu.
40
Ab'ennyiriri: olwa Arudi n'olwa Naamani basibuka mu Bela, ye jjajjaabwe.
41
Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Benyamiini, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga.
42
Ekika kya Daani kyalimu abasibuka mu Suhaamu,
43
era abaabalibwa ku Basuhamu abo baali abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bina.
44
Ekika kya Aseri kyalimu Amasiga: erya Yimuna, n'erya Yisuvi, n'erya Beriya.
45
Ab'olulyo olwa Heberi n'olwa Malukiyeeli basibuka mu Beriya, ye jjajjaabwe.
46
Aseri yalina muwala we erinnya lye Seera.
47
Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Aseri, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina.
48
Ekika kya Nafutaali kyalimu Amasiga: erya Yahuzeeli, n'erya Guuni;
49
erya Yezeri, n'erya Sillemu.
50
Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Nafutaali, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu ebikumi bina.
51
Abasajja bonna Abayisirayeli abaabalibwa, baali emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu asatu.
52
Mukama n'agamba Musa nti:
53
“Abo be baligabirwa ensi ebe obutaka bwabwe, okusinziira ku bungi bwabwe.
54
Ekika ekirina abantu abangi, olikiwa ettaka ddene, n'ekika ekirina abantu abatono, olikiwa ettaka ttono. Buli kika kiriweebwa ettaka okuba obutaka bwakyo, okusinziira ku bungi bw'abantu baakyo abaabalibwa.
55
Naye ettaka lirigabibwa nga likubirwa kalulu. Balirigabana nga bagoberera mannya ga bika bya bajjajjaabwe.
56
Buli kika kiriweebwa ettaka lyakyo ery'ensikirano, nga likubirwa kalulu, era buli kika kirifuna ettaka, okusinziira ku bungi bw'abantu baakyo.”
57
Bano be Baleevi abaabalibwa okusinziira ku nsibuko zaabwe: abasibuka mu Gerusooni, n'abasibuka ku Kohati, era n'abasibuka mu Merari.
58
Era mu Baleevi abo, mwe musibuka Abalibuni, Abaheburooni, Abamahuli, Abamuusi, n'Abakoora. Kohati ye kitaawe wa Amuraamu.
59
Muka Amuraamu yali ayitibwa Yokebedi muwala wa Leevi. Yokebedi oyo baamuzaala bali Misiri. Yokebedi ye yazaalira Amuraamu abaana Arooni ne Musa, ne Miriyamu mwannyinaabwe.
60
Arooni ye kitaawe wa Nadabu ne Abihu, ne Eleyazaari ne Yitamaari.
61
Kyokka Nadabu ne Abihu baafa, bwe baawaayo eri Mukama omuliro Mukama gw'atabalagidde.
62
Abasajja Abaleevi bonna abaabalibwa, okuva ku mwana ow'obulenzi awezezza omwezi ogumu n'okusingawo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu. Bo tebaabalibwa wamu n'Abayisirayeli bannaabwe, kubanga Abaleevi tebaaweebwa ttaka lya nsikirano nga Bayisirayeli balala.
63
Abo be basajja Abayisirayeli abaabalibwa Musa ne Eleyazaari kabona, ku lubalama lw'Omugga Yorudaani, okwolekera Yeriko.
64
Mu abo temwali n'omu ku bali abaabalibwa Musa ne Arooni kabona, lwe baabala Abayisirayeli mu Ddungu ly'e Sinaayi,
65
kubanga Mukama yali agambye nti bonna baali ba kufiira mu ddungu. N'olwekyo, tewaali n'omu ku bo eyasigalawo, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefunne, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36