bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 27
Numbers 27
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 28 →
1
Ne weesowolayo abawala abayitibwa Maala, ne Noowa, Hogula, ne Milika, ne Tiruza, bawala ba Zelofehaadi mutabani wa Heferi, Heferi mutabani wa Gileyaadi, Gileyaadi mutabani wa Makiri, Makiri mutabani wa Manasse, Manasse mutabani wa Yosefu.
2
Ne bajja mu maaso ga Musa ne Eleyazaari kabona, n'abakulembeze, n'ekibiina kyonna, ku mulyango gwa Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, ne bagamba nti:
3
“Kitaffe yafiira mu ddungu nga tazadde baana ba bulenzi. Teyali mu kibiina ky'abo abeekuŋŋaanya ne beetaba ne Koora okuwakanya Mukama, wabula ye yafa lwa kibi kye kirala.
4
Kaakano erinnya lya kitaffe lisangulwe mu lulyo lw'asibukamu, olw'okuba nga teyazaala mwana wa bulenzi? Tusaba mutuwe obutaka mu baganda ba kitaffe.”
5
Musa n'ayanjula ensonga yaabwe eri Mukama.
6
Mukama n'agamba Musa nti:
7
“Bawala ba Zelofehaadi kye bagamba kituufu. Bawe obutaka obw'ensikirano mu baganda ba kitaabwe, basikire omugabo gwa kitaabwe.
8
Era gamba Abayisirayeli nti: ‘Omusajja bw'anaafanga nga tazadde mwana wa bulenzi, muwala we anaasikiranga ebintu bye.
9
Bw'anaabanga talina mwana wa buwala, munaawanga baganda be ebintu bye ne babisikira.
10
Bw'anaabanga talina baganda be, kale ebintu bye munaabiwanga baganda ba kitaawe ne babisikira.
11
Era bw'anaabanga talina na baganda ba kitaawe, olwo ebintu bye munaabiwanga oyo amulinako oluganda olusinga okuba olw'okumpi mu lulyo lwe, ne biba bibye. Lino linaabanga etteeka Abayisirayeli lye banaakuumanga, nga Nze Mukama bwe nkulagidde ggwe Musa.’ ”
12
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Yambuka ku lusozi luno Abiriimu, olengere ensi gye mpadde Abayisirayeli.
13
Bw'onoomala okugirengera, ojja kufa, weegatte ku bajjajjaabo nga muganda wo Arooni bwe yafa n'abeegattako,
14
kubanga mmwe mwembi mwajeemera ekiragiro kyange mu Ddungu ly'e Ziini. Ekibiina kyonna bwe kyanjeemera e Meriba ku mazzi, mwagaana okumpeesa ekitiibwa mu maaso gaabwe.” Ago ge mazzi g'e Meriba, e Kadesi mu Ddungu ly'e Ziini.
15
Musa n'asaba Mukama nti:
16
“Mukama, Katonda, ensibuko y'obulamu, nkusaba olonde omuntu, akulire abantu bano,
17
abakulemberenga, era abakumeekumenga, abantu bo bano baleme kuba nga ndiga ezitalina musumba.”
18
Mukama n'agamba Musa nti: “Twala Yoswa, mutabani wa Nuuni, omusajja alimu Mwoyo, omusseeko emikono gyo.
19
Omutwale ayimirire mu maaso ga Eleyazaari kabona, nga n'ekibiina ky'abantu kyonna weekiri, omukwase obukulu nga balaba.
20
Omwawulize ku buyinza bwo, ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli kimuwulirenga.
21
Anaagendanga eri Eleyazaari kabona, Eleyazaari n'akozesanga Wurimu n'amubuuliza kye njagala akole. Bw'atyo Eleyazaari ye anaawabulanga Yoswa, n'Abayisirayeli bonna mu byonna bye banaakolanga.”
22
Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira. N'atwala Yoswa, Yoswa n'ayimirira mu maaso ga Eleyazaari kabona, nga n'ekibiina ky'abantu kyonna weekiri.
23
Musa n'assa emikono gye ku Yoswa, n'amukwasa obukulu, nga Mukama bwe yamulagira.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36