bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 34
Numbers 34
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 35 →
1
Mukama n'agamba Musa
2
alagire Abayisirayeli abagambe nti: “Bwe mulituuka mu nsi y'e Kanaani, eyo y'ensi eriba obutaka bwammwe, ensalo zaayo zonna ziriba bwe ziti:
3
ensalo yammwe ey'omu bukiikaddyo eriva ku ddungu ly'e Ziini, n'eyita ku nsalo ya Edomu. Ebuvanjuba, ensalo yammwe eyo ey'ebukiikaddyo, eritandikira ku nkomerero y'Ennyanja ey'Omunnyo.
4
Ensalo yammwe erikyukira ebukiikaddyo okwolekera ekkubo eryambuka ku Akirabbiimu, ne yeeyongerayo n'etuuka e Ziini, n'etuukira ddala e Kadesi-Baruneya, mu bukiikaddyo. Olwo erikyukira e Hazari-Addari, ne yeeyongerayo mu Azimooni.
5
Ensalo erikyuka okuva mu Azimooni, n'eyolekera Akagga k'e Misiri, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati.
6
“Ensalo yammwe ey'ebugwanjuba, eriba Ennyanja Eyaawakati.
7
“Mulyerambira ensalo yammwe ey'ebukiikakkono, okuva ku Nnyanja Eyaawakati okutuuka ku Lusozi Hoori.
8
Okuva ku Lusozi Hoori, muliramba okutuuka awayingirirwa e Hamati, okukoma ku Zedadi.
9
Awo ensalo w'eriva n'etuuka e Zefirooni, n'ekoma e Hazari-Enaani. Eyo ye eriba ensalo yammwe ey'ebukiikakkono.
10
“Era muliramba ensalo yammwe ey'ebuvanjuba, okuva ku Hazari-Enaani, okutuuka ku Sefamu.
11
Ensalo eyo eriva ku Sefamu n'ekka e Ribula, ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Ayiini, n'ekkirira okutuuka ku lubalama olw'ebuvanjuba olw'ennyanja y'e Kinnereti.
12
Ensalo eryeyongera okukka, n'etuuka ku Mugga Yorudaani, n'ekoma ku Nnyanja Ey'Omunnyo. “Eyo ye eriba ensi yammwe n'ensalo zaayo ez'oku njuyi zonna.”
13
Musa n'alagira Abayisirayeli ng'agamba nti: “Eyo ye nsi gye muligabana nga mukuba akalulu, Mukama gy'alagidde okuwa ebika omwenda n'ekitundu,
14
kubanga ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekimu ekyokubiri eky'ab'Ekika kya Manasse, baamala dda okuweebwa obutaka obwabwe, nga bubaweebwa okusinziira ku nnyumba za bajjajjaabwe.
15
Ebika ebyo ebibiri n'ekitundu, byamala dda okuweebwa obutaka obwabyo emitala wa Yorudaani, ku ludda olw'ebuvanjuba, okwolekera Yeriko.”
16
Mukama n'agamba Musa nti:
17
“Gano ge mannya g'abantu abalibagabanyizaamu ensi eriba obutaka: Eleyazaari kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.
18
Era mulitwala omukulembeze omu okuva mu buli kika, okugabanyaamu ensi.
19
Gano ge mannya g'abantu abo: Mu Kika kya Yuda, Kalebu mutabani wa Yefunne;
20
mu Kika kya Simyoni, Semweli mutabani wa Ammihudi;
21
mu Kika kya Benyamiini, Elidaadi mutabani wa Kisulooni;
22
mu Kika kya Daani, Bukki omufuzi, mutabani wa Yoguli;
23
mu b'olulyo lwa Yosefu, mu Kika kya Manasse, Hanniyeeli mutabani wa Efodi;
24
mu Kika kya Efurayimu, Kamweli omufuzi, mutabani wa Sifutaani;
25
mu Kika kya Zebbulooni, Elizafani omufuzi, mutabani wa Parunaaki;
26
mu Kika kya Yissakaari, Pawulutiyeeli omufuzi, mutabani wa Azzaani;
27
mu Kika kya Aseri, Ahihudi omufuzi, mutabani wa Selomi.
28
Mu Kika kya Nafutaali, Pedaheeli omufuzi, mutabani wa Ammihudi.”
29
Abo be bantu Mukama be yalagira okugabanyizaamu Abayisirayeli obutaka mu nsi y'e Kanaani.
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 35 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36