bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Numbers 35
Numbers 35
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 36 →
1
Mu nsenyi z'e Mowaabu ku Yorudaani okwolekera Yeriko, Mukama gye yagambira Musa nti:
2
“Lagira Abayisirayeli, bawe Abaleevi ebibuga eby'okubeerangamu, nga batoola ku ebyo Abayisirayeli abo bye baagabana okuba obutaka bwabwe, era babawe n'ettaka eryetoolodde ebibuga ebyo.
3
Ebibuga ebyo binaabanga bya Baleevi babibeerengamu. N'ettale lyakwo linaabanga lyabwe okulundirangamu amagana gaabwe ag'ente, n'ag'endiga n'embuzi, n'ensolo zaabwe endala zonna.
4
“Ettale eryetoolodde ebibuga bye muliwa Abaleevi, liriba lya mita ebikumi bina mu ataano okuva ku kisenge ky'ekibuga, okwetooloola enjuyi zonna.
5
Era muligera ebweru w'ekibuga mita lwenda ku ludda olw'ebuvanjuba, ne mita lwenda ku ludda olw'ebukiikaddyo, mita lwenda ku ludda olw'ebugwanjuba, mita lwenda ku ludda olw'ebukiikakkono ekibuga nga kye kiri wakati. Eryo lye liriba ettale ery'okulundiramu, eryetoolodde ebibuga byabwe.
6
“Ebibuga mukaaga ku ebyo bye muliwa Abaleevi, biriba bibuga bya buddukiro ebiyinza okuddukirwangamu buli anaabanga asse omuntu nga tagenderedde. Ku ebyo, mulibongerako ebibuga ebirala amakumi ana mu bibiri.
7
Ebibuga byonna bye muliwa Abaleevi, biriba amakumi ana mu munaana, nga biriko ettale lyakwo.
8
Ebibuga bye muliggya ku butaka bw'Abayisirayeli okubigaba, abangi mulibaggyako bingi, n'abatono mulibaggyako bitono. Buli kika kiriwa Abaleevi ebibuga, okusinziira ku bungi bw'ebibuga bye kyagabana.”
9
Mukama n'agamba Musa
10
ayogere n'Abayisirayeli abagambe nti: “Bwe mulisomoka Omugga Yorudaani ne muyingira ensi y'e Kanaani,
11
mulyerondera ebibuga eby'obuddukiro ebiyinza okuddukirwangamu buli anaabanga asse omuntu nga tagenderedde.
12
Ebibuga ebyo bye munaddukirangamu okuwona omuwoolezi w'eggwanga, buli anaabanga asse omuntu alemenga kuttibwa nga tannawozesebwa mu lujjudde lw'abantu.
13
Ebibuga bye muliwaayo okuba eby'obuddukiro, biriba mukaaga.
14
Muliwaayo ebibuga bisatu ku ludda luno olwa Yorudaani, n'ebirala bisatu mu nsi y'e Kanaani, bibenga bibuga bya buddukiro.
15
Ebibuga ebyo omukaaga, binaabanga bya buddukiro bwa Bayisirayeli, n'omugwira azze obugenyi, n'oyo abeerera ddala mu bo. Buli anattanga omuntu nga tagenderedde, anaayinzanga okuddukira mu kimu ku byo.
16
“Naye oyo anaakubisanga omuntu ekyuma n'amutta, oyo mutemu, era omutemu oyo, taalemenga kuttibwa.
17
Era oyo anaakwatanga ekissi eky'ejjinja n'akikubisa omuntu, omuntu oyo n'afa, oyo akoze ekyo mutemu, era omutemu oyo, taalemenga kuttibwa.
18
Era oyo anaakwatanga ekissi eky'omuti n'akikubisa omuntu, omuntu oyo n'afa, oyo akoze ekyo mutemu, era omutemu oyo, taalemenga kuttibwa.
19
Owooluganda olw'okumpi olw'omuntu attiddwa, yennyini ye anattanga omutemu oyo. Bw'anaamusisinkananga, anaamuttanga.
20
“Singa oli akyawa omuntu n'amusindika n'agwa, oba singa amwekwekerera n'amukasuukirira ekintu, omuntu oyo n'afa,
21
oba singa amukuba oluyi, oba ekikonde, olw'obulabe, omuntu oyo n'afa, oyo amukubye, mutemu, era taalemenga kuttibwa. Owooluganda olw'okumpi olw'omuntu oyo attiddwa, anattanga omutemu oyo ng'amusisinkanye.
22
“Naye bw'aba nga yamusindika mu butanwa, awatali bulabe, n'agwa, oba nga yabaako ky'amukasuukirira nga tamuteeze,
23
era oba nga yaddira ejjinja eriyinza okutta omuntu, n'alimusuulako nga tamulabye, omuntu oyo n'afa, sso nga tabangako mulabe we, era nga teyagenderera kumukolako kabi,
24
kale ekibiina ky'abantu kinaasalangawo mu lujjudde, wakati w'oyo eyakuba, n'owooluganda olw'okumpi olw'omufu, nga bagoberera amateeka gano.
25
Ekibiina ky'abantu kinaawonyanga oyo eyatta nga tagenderedde, ne kimuggya mu mikono gy'owooluganda awoolera eggwanga olw'omufu, ne kimuzzaayo mu kibuga eky'obuddukiro kye yali addukiddemu, n'abeera omwo, okutuusa Ssaabakabona aliko lw'anaafanga.
26
Naye eyatta omuntu bw'anaavanga mu kibuga eky'obuddukiro kye yaddukiramu,
27
owooluganda omuwoolezi w'eggwanga n'amusanga ebweru waakyo, n'amutta, oyo amusse taabengako musango gwa butemu,
28
kubanga oyo eyatta omuntu, yandibadde abeerera ddala mu kibuga ekyo eky'obuddukiro kye yaddukiramu, okutuusa nga Ssaabakabona amaze okufa. Ssaabakabona ng'amaze okufa, olwo eyatta omuntu anaddangayo ku butaka bwe.
29
Ago ge ganaabanga amateeka ge munaakuumanga mmwe, n'abalibaddirira bonna, buli we munaabeeranga.
30
“Anaabanga asse omuntu, anattibwanga nga waliwo abajulizi waakiri babiri abamulumiriza ogw'obutemu. Bwe wanaabangawo omujulizi omu yekka amulumiriza, omuntu oyo tattibwenga.
31
Temukkirizenga kintu na kimu kusasulwa olw'okununula obulamu bw'omutemu asaliddwa ogw'okufa, wabula taalemenga kuttibwa.
32
Era oyo eyaddukira mu kibuga eky'obuddukiro, temuumukkirizenga kubaako ky'asasula asobole okudda ewaabwe, nga Ssaabakabona tannafa.
33
Bwe mulikola ekyo, muliba mwonoonye ensi gye mubeeramu, kubanga obutemu bwonoona ensi. Tewali kiyinza kufunira nsi kisonyiwo olw'obutemu obwakolebwa mu yo, okuggyako okutta oyo eyatemula.
34
Kale temwonoonanga nsi gye mubeeramu, era nange gye mbeeramu, kubanga Nze Mukama, mbeera wamu n'Abayisirayeli.”
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 36 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36