bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 10
Proverbs 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 11 →
1
Engero za Solomoni: Omwana omugezi asanyusa kitaawe, naye omwana omusiru ye nnaku ya nnyina.
2
Obugagga obufune obubi tebugasa kantu, naye obutuukirivu buwonya mu kufa.
3
Omukama taleka mutuukirivu kulumwa njala, kyokka agootaanya okwegomba kw'ababi.
4
Emikono eminafu gireeta bwavu, naye emikono gy'abanyikiivu gireeta bugagga.
5
Akuŋŋaanya mu kyeya, mwana mugezi, naye eyeebaka obwebasi mu kusambula, akuba ensonyi.
6
Emikisa giba ku mutwe gw'omutuukirivu, naye akamwa k'ababi kabikka bukambwe.
7
Okujjukira abatuukirivu kya mukisa, naye erinnya ly'ababi livunda buvunzi.
8
Ow'omutima omugezi agondera ebibuuliriro, naye omusiru nakamwantette alizikirira.
9
Omwesimbu mu mpisa atambula mirembe, naye oyo ow'amakubo amakyamu talirwa kumanyika.
10
Atta ku liiso, aleeta nnaku, naye aguma n'akomako aleeta mirembe.
11
Akamwa k'omutuukirivu y'ensulo y'obulamu, naye akamwa k'ababi kabikka bukambwe.
12
Okukyawa kusiikuula nnyombo, naye okwagala kubikkako ebisobyo byonna.
13
Ku mimwa gy'omutegeevu kwe kusangibwa amagezi, naye akaggo ka butuuliro bw'oyo ateegendereza.
14
Abagezi batereka okumanya; naye akamwa k'omusiru kasembeza kuzikirira.
15
Obugagga bw'omugagga kye kigo kye, naye obwavu bw'abanaku kwe kuzikirira kwabwe.
16
Empeera y'abatuukirivu ebaleetera bulamu, naye amagoba g'ababi gabatwala mu kibi.
17
Awulira ebimuyigirizibwa aba akutte kkubo lya bulamu, naye atafa ku bye bamunenyaamu, awaba.
18
Abikkirira ku bukyayi aba n'emimwa egirimba; agenda awaayiriza aba musiru.
19
Ebigambo bwe biyinga temubula nsobi; atangira emimwa gye aba mwegendereza.
20
Olulimi lw'omutuukirivu, ffeeza mulondobe; naye omutima gw'ababi temuli kantu.
21
Emimwa gy'omutuukirivu giriisa bangi, naye abasiru bafa lwa bwavu bwa mutima.
22
Omukisa gw'Omukama guleeta bugagga; tayongerezaako nnaku.
23
Omusiru asanyukira mu kukola bubi, naye omutegeevu essanyu limuli mu magezi.
24
Omubi kye yeekengera kye kirimugwira; ye omutuukirivu kye yeegomba kirimuweebwa.
25
Omuyaga oluyita guti, ababi nga tebakyaliwo, naye abatuukirivu olubeerera banywevu.
26
Ng'enkaatu ku mannyo, n'omukka ku maaso, n'omugayaavu bw'ali ku bamutumye.
27
Okutya Omukama kiwanvuya ku bulamu, naye emyaka gy'ababi girisalwako.
28
Essuubi ly'abatuukirivu, ssanyu ssa, naye okwesunga kw'ababi temuba kantu.
29
Ekkubo ly'Omukama kye kigo ky'abatuukirivu naye abakola obubi, kwe kuzikirira kwabwe.
30
Abatuukirivu tebalisigulibwawo n'akamu, n'ababi tebalisigala mu nsi.
31
Akamwa k'omutuukirivu kavaamu magezi; naye olulimi olubambaavu lulisalwako.
32
Emimwa gy'omutuukirivu gimanyi ekisanyusa, naye akamwa k'ababi kabuulire bubambaavu.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31