bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 21
Proverbs 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 22 →
1
Ng'omwala gw'amazzi, n'omutima gwa kabaka bwe guli mu mikono gy'Omukama, agulaza gy'aba ayagadde.
2
Amakubo gonna ag'omuntu ku ye gaba maluŋŋamu; kyokka Omukama y'apima emitima.
3
Okukola ebikolwa eby'obutuukirivu n'obutuufu kisanyusa Omukama okukira ebitambiro.
4
Amaaso ameepansi n'omutima omwekuza, ttawaaza ya bugwenyufu, kibi.
5
Enteekateeka z'omunyiikivu, kituufu, zituusa ku magoba, n'okwanguyiriza, kikakafu, kuvaamu bbula.
6
Obugagga obufune n'olulimi olulimba, mukka ogufuumuuka era mitego gya lumbe.
7
Ababi, obukambwe bwabwe bulibamalawo, kubanga baagaana okukola ebituufu.
8
Ekkubo ly'azzizza omusango lyenyooleza, wabula empisa z'omutuufu nnuŋŋamu.
9
Waakiri okusulanga waggulu mu kalikonda ka kasolya, okusinga okugatta ennyumba n'omukazi omuyombi.
10
Omwoyo gw'omubi guyaayaanira ekibi; munne tamusangako kisa ku maaso ge.
11
Omunyoomi bw'atanzibwa, ababuyabuya bafuna amagezi; omugezi bw'ayigirizibwa, yeeyongera okumanya.
12
Omutuukirivu yekkaanya ennyumba y'omubi; ababi abalaza mu kuzikirira.
13
Azibiikiriza amatu eri omulanga gw'omwavu, bw'alikuba omulanga naye taliyanukulwa.
14
Ekirabo ekyeweere mu nkiso kikkakkanya obusungu; n'enguzi enkweke mu kikondoolo eweweeza obusungu obw'ettumbiizi.
15
Obwenkanya bwe bugobererwa, kisanyusa omutuukirivu, naye kireetera aboonoonyi okutekemuka.
16
Awaba n'ava mu kkubo ly'okutegeera, aliwummulira mu kinywi ky'emizimu.
17
Ayagala amasanyu aliba mu kuwamma; ayagala omwenge n'ebyassava taligaggawala.
18
Omubi gwe mutango gw'abatuukirivu, n'abatali batuufu gwe musingo ogw'abaluŋŋamu.
19
Waakiri okubeera eyo mu ddungu, okusinga okubeera n'omukazi omuyombi ow'obusungu.
20
Mu nnyumba y'omugezi musigalamu eby'obugagga amakula bingi, naye omusiru alya buli ky'alina.
21
Oyo agoberera obutuukirivu n'ekisa agguka ku bulamu n'ekitiibwa.
22
Omugezi awalampa ekibuga ky'ab'amaanyi, n'amenyawo ekigo kye babadde beesiga.
23
Atangira emimwa gye n'olulimi lwe yeewonya emitawaana mingi.
24
Omwekuza era omwepansi bamuyita 'Munyoomi'; ebintu abikoza lwetumbu na kwekuza.
25
Okwegomba kw'omugayaavu kwe kulimutta, kubanga emikono gye gigaana okukola.
26
Olunaku lwonna yeegomba kino na kiri; ye omutuukirivu awa nga tasikattira.
27
Ebitambiro by'omubi byenyinyalwa; alabisa nno ng'abireese n'ekigendererwa ekikyamu.
28
Ajulira eby'obulimba alizikirira, naye ebigambo by'omuntu awuliriza birisigalawo.
29
Omubi yeekaza, naye omuntu omwesimbu yekkaanya amakubo ge.
30
Teri magezi, kutegeera na bibuuliriro bisobola kusinza Mukama maanyi.
31
Embalaasi etegekerwa lunaku lwa lutalo, naye obuwanguzi buli mu Mukama.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31