bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 22
Proverbs 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 23 →
1
Erinnya eddungi lyegombesa okukira obugagga enkumu, n'obuganzi bukira zaabu oba ffeeza.
2
Omugagga n'omwavu bafaanana; bonna Omukama ye yabakola.
3
Omuntu omwegendereza alaba akabi ne yeewogoma, naye omubuyabuya agenda bugenzi, ne yettattana.
4
Empeera y'obwetoowaze n'okutya Omukama, bugagga, kitiibwa na bulamu.
5
Amaggwa n'ebitimba bijjudde ekkubo ly'omubi; akuuma omwoyo gwe agabeera wala.
6
Omwana mugunjule mu kkubo erimusaanira, ng'akuze talirivaako.
7
Omugagga akajjala ku baavu; eyeewola muddu wa muwozi.
8
Asiga obubi akungula nnaku, n'omuggo gw'obusungu bwe gulisaanyizibwawo.
9
Omuntu omugabi aliba n'omukisa, kubanga emmere ye agirya wamu n'omwavu.
10
Bw'ogoba omunyoomi, n'endasano nga zigenda; emisango n'ebivumo nga biwedde.
11
Oli ayagala omutima omutukuvu, oyo ow'emimwa egisikiriza, kabaka aliba mukwano gwe.
12
Amaaso g'Omukama gakuuma okutegeera, naye atabula ebigambo by'omubi.
13
Omunafu awoza: “Ebweru eriyo empologoma,” oba nti: “Nzija kuttirwa mu luguudo.”
14
Omumwa gw'omukazi omwenzi, bunnya buwanvu; oyo Omukama gw'asunguwalidde alibugwamu.
15
Obusiru buba buzaale mu mwana, naye akaggo k'okugunjula kalibugobera wala ne w'ali.
16
Onyigiriza omwavu? Ajja kweyongera bwavu; Owa omugagga? Ajja kwavuwala.
17
Wunzika okutu kwo owulire ebigambo by'abagezi; omutima gwo guteeke ku bye njigiriza.
18
Kubanga kisanyusa bw'olibikuuma mu mutima gwo, nga biri bulindaala ku mimwa gyo.
19
Okusobola okwesiganga Omukama, olwa leero mbikuyigirizza, naawe wennyini.
20
Nkuwandiikidde engero amakumi asatu, eziwa okubuulirira n'okutegeera,
21
zikuyigirize ebigambo eby'amazima era ebituufu, osobole okwanukula mu butuufu oli eyakutuma.
22
Tonyuunyuntanga mwavu lwa bwavu bwe, n'omuseege tomulinnyiriranga ku mulyango.
23
Kubanga Omukama awolereza ensonga zaabwe; alinyagulula abo abanyagulula.
24
Tokwananga wa kasunguyira; ow'ekkayu toyitanga naye.
25
Sikulwa ng'olabira ku ye, ne weesuula mu mitego.
26
Tobalirwanga mu beeyimirira, oba mu bassizaawo amabanja akabega.
27
Bw'olibulwa agabisasula, ekitanda kyo kirikuboyebwako.
28
Tojjululanga ebituuti eby'edda bajjajjaabo bye baasimba.
29
Olaba omuntu omumanyirivu ku mulimu gwe? Aliweereza bakabaka, si kikye okuweereza abantu abatategeerekeka.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31