bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 6
Proverbs 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 7 →
1
Mwana wange, bwe weeyimiriranga munno, obanga owaddeyo akakalu olw'omugwira,
2
nga by'oyogedde bikusibye, ebigambo byo byennyini nga bikukwasizza mu mutego,
3
kale nno, mwana wange, okolanga oti okwewonya, anti kati oli mu buyinza bwa munno: Genda, yanguwako, omupeekereze ekisonyiwo;
4
tokkiriza maaso go kulaba ku tulo, yadde ebikowe byo okuwujjaalako n'akatono.
5
Weewonye ng'ennangaazi, nga bwe yeggya mu mikono gy'omuyizzi, oba ng'ekinyonyi mu mikono gy'omutezi.
6
Genda eri enkuyege, ggwe omugayaavu, wekkaanye bw'ekola, naawe oyige amagezi.
7
Terina aduumira, nnampala oba omwami,
8
naye mu kyeya, yeetegekera emmere, mu bw'amakungula ekuŋŋaanya ky'erirya.
9
Oneebakiriza kutuusa wa ggwe omugayaavu? Onoozuukuka ddi mu tulo two?
10
Weebakamu katono, obba ku tulo, ozinga mikono owummulemu,
11
olwo obwavu bujja kukujjira ng'emmomboze, n'okuwamma, ng'omusabiriza.
12
Nnantaganyula, omuntu omutali nsa, agenda ayita n'akamwa akoogera ebikyamu;
13
atta ku liiso, abagulizaako n'ebigere bye n'awenyaako n'engalo;
14
ateekateeka nkwe mu mutima gwe omubambaavu, buli kadde asiikuula nnyombo.
15
Oyo okuzikirira kwe kulimugwira mbagirawo; mu kabanga katono alisaanawo; tewaliba kuwona.
16
Waliwo ebintu mukaaga Omukama bye yakyawa, musanvu omwoyo gwe bye gwetamwa:
17
Amaaso ag'amalala, olulimi olulimba, emikono egiyiwa omusaayi ogutaliiko musango,
18
omutima ogulowoolereza entegeka embi, n'ebigere ebyanguyira eri ekibi,
19
omujulirwa omulimba afukumula eby'obulimba, n'oyo aleeta ennyombo mu b'oluganda.
20
Mwana wange, kwata ebiragiro bya kitaawo, etteeka lya nnyoko tolibuukangako.
21
Bulijjo obisibanga mu mutima gwo, bisibe mu bulago bwo.
22
Bw'onootambulanga, binaakulambikanga; bw'oneebakanga, binaakukuumanga; bw'onoosisimukanga, binaanyumyanga naawe.
23
Kubanga ebiragiro bino ttawaaza, etteeka lino kitangaala, n'okukukomako oli yeefuge, lye kkubo ly'obulamu.
24
Bino bya kukuwonya omukazi omugwenyufu, n'akamwa akagonvu ak'omukazi malaaya.
25
Obulungi bwe tebukwasanga mutima gwo maddu; entunula ye tekumalangamu mwoyo.
26
Ebbeeyi y'omukazi malaaya guba mugaati gumu guti ogw'oluwewere; mukoomusajja omuwendo gw'obulamu bwonna gw'atwala.
27
Omuntu ayinza okusenera omuliro mu kikondoolo kye engoye ze ne zitaggya?
28
Oba okutambulira ku manda, ebigere bye ne bitasiriira?
29
Bw'atyo n'ayingira eri muka munne bw'abeera; teri amukwatako atalibonerezebwa.
30
Abantu tebanyooma omubbi, enjala olw'okumuluma bw'abba atte enjala ye?
31
Bw'akwatibwa, agatta mirundi musanvu, na byonna by'alina awaka n'abiwaayo.
32
Omwenzi si muntu mulabufu; akikola aba yeezikirizza yekka.
33
Yeesombera miggo na kusekererwa, obuswavu bwe tebulisangulwawo,
34
kubanga obuggya bukoleeza obusungu bwa bba; lw'aliwoolera eggwanga taliba na kisa.
35
Talikkiriza kuliyirirwa; enguzi ne bw'eriba nnene etya, talikkiriza.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31