bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 18
Proverbs 18
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 19 →
1
Eyeewagudde anoonya kya kwesanyusa; buli kibuuliriro akinyooma.
2
Omusiru tayagala kutegeera, wabula afa ku kulaga ky'alowooza.
3
Obugwenyufu bwe bujja nga n'okunyoomebwa kuzze; n'obuswavu bujja n'okuweebuuka.
4
Ebigambo ebiva mu kamwa k'omuntu, mazzi mawanvu; ensulo y'amagezi, mugga gwa ttumbiizi.
5
Okuzibira omubi si kirungi, oba okulamula n'ofiiriza omutuukirivu.
6
Emimwa gy'omusiru gimusuula mu nnyombo, n'akamwa kamuleetera kukubibwa.
7
Akamwa k'omusiru kwe kuzikirira kwe; n'emimwa gye gwe mutego ogutta obulamu bwe.
8
Ebigambo by'ow'olugambo, nnoga ewooma, bikkiririra ddala munda mu lubuto.
9
Omuntu agayaala okukola wa mukago n'oli azikiriza.
10
Erinnya ly'Omukama, munaala gwa maanyi; omutuukirivu addukira omwo, akuumibwa.
11
Obugagga bw'omugagga kye kigo kye; abwefaanaanyiriza ng'ekisenge ekimukuuma.
12
Okuzikirira nga tekunnatuuka, omutima gw'omuntu gwegulumiza; sso nno obwetoowaze bwe bukulembera ekitiibwa.
13
Ayanukula nga tannawulira, obwo buba busiru bwe na kuswala.
14
Omutima gw'omuntu gumugumya mu bulwadde, naye omutima ogwennyise ani ayinza okugugumira?
15
Omutima gw'omutegeevu gufuna okumanya, n'okutu kw'abagezi kunoonya okumanya.
16
Ekirabo ky'omuntu kimutemera ekkubo; kimutuusa ne mu bakungu.
17
Asooka okuwoza gw'oyita omutuufu, okutuusa omulala lw'ajja n'amulumiriza.
18
Akalulu ke kasalawo enkaayana; katawulula bakirimaanyi.
19
Ow'oluganda anyiiziddwa, muzibu okusinga ekibuga ekinywevu, n'empaka ziri ng'omuyingo ku kigo.
20
Olubuto lw'omuntu lukkuta bibala bya kamwa ke; emimwa gye bye gireeta bye bimukkusa.
21
Okufa n'obulamu biri mu buyinza bwa lulimi; abalwagala balya ku bibala ebiruvaamu.
22
Azuula omukazi aba azudde kirungi; asanga okuganja ew'Omukama.
23
Omwavu awanjaga, naye omugagga ayanukuza bboggo.
24
Emikwano egimu gyanditwala mu kuzikirira, sso wabaawo ow'omukwano anywera okukira ow'oluganda.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31