bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 17
Proverbs 17
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 18 →
1
Ofunda n'akagaati akakalu ng'oli mu ddembe, okukira ennyumba omuli embaga n'okutotoogana.
2
Omuddu omulabalaba alifuga omwana w'aboowo omubi; aligabana obusika ng'omu ku b'oluganda.
3
Ogutamu gwa ffeeza, n'akabiga ka zaabu, naye Omukama y'ageza emitima.
4
Omubi ategereza emimwa emibi bye gyogera; n'omulimba awuliriza olulimi olw'ettima.
5
Akudaalira omwavu, avuma Oyo Eyamukola, asanyukira akabi, taliwona kibonerezo.
6
Abazzukulu y'engule y'abakadde, n'abazadde kye kitiibwa ky'abaana baabwe.
7
Ebigambo ebirungi tebisaanira musiru, naye ekisinga obutajja bye bigambo by'obulimba okuva mu mukungu.
8
Enguzi eri nga jjembe ku oyo agiwa; buli w'adda aba wa mukisa.
9
Abikka ku nsobi aleeta kwagalana, naye ayeeyereza ekigambo, akyawaganya ab'omukwano.
10
Omuntumulamu okukomwako kumutuuka wala, okusinga enga ekikumi bwe zikola omusiru.
11
Omuntu omubi anoonya nnyombo, omubaka omukambwe kyaliva amutumirwa.
12
Okusisinkana eddubu erinyagiddwako abaana baalyo, kyandisinga okusisinkana omusiru mu busiru bwe.
13
Akolera obubi amukoledde obulungi, mu nnyumba ye temuliggwa bubenje.
14
Okutanula oluyombo kiri nga kuta bbibiro ly'amazzi, olwetegulanga terunnatandika.
15
Okweggyereza alina omusango n'okugusingisa atagulina, byombi Omukama tabyagalira ddala.
16
Omusiru, ssente ez'okugula amagezi zaalina mu ngalo, zimugasa ki nga talina na mutima gwa kugafuna?
17
Mukwano gwo aba munno ebbanga lyonna; muganda wo akuzaalirwa lwa buyinike.
18
Omubuyabuya awaayo engassi, n'awaayo omusingo okweyimirira munne.
19
Ayagala ebisobyo, anoonya nnyombo; agulumiza omulyango gwe, anoonya kuzikirira.
20
Ow'omutima omwonoonefu tasanga kirungi, n'ow'olulimi olukupya agwa mu kabi.
21
Azaala omusiru yeezaalira nnaku; kitaawe w'omusiru tamanya ssanyu gye liddira.
22
Omutima omusanyufu ddagala lyennyini, naye omutima ogwennyise gukaza amagumba.
23
Omubi akkiriza enguzi okuva mu kikondoolo, agootaanye ensala y'omusango.
24
Omuntu omutegeevu amaaso ge agasimba ku magezi, naye ag'omubuyabuya agatunuza eri ku nkingi z'ensi.
25
Omwana omusiru aba nnaku nsa eri kitaawe, era buyinike eri nnyina.
26
Okutanza omutuukirivu si kirungi, n'okuweweenyula abakungu si kituufu.
27
Omuntu atangira olulimi lwe aba mugezi; n'omutegeevu aba mukkakkamu mu njogera.
28
N'omusiru bw'asirika, bamuyita mugezi; bw'atangira emimwa gye, bamuyita mutegeevu.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31