bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 8
Proverbs 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 9 →
1
Amagezi tegakoowoola? N'okutegeera tekusitudde eddoboozi?
2
Ku ntikko y'obusozi ku kkubo, mu masaŋŋanzira we gayimirira,
3
ku miryango egiyingira mu kibuga, ku wankaaki we galeekaanira nti:
4
“Mmwe abasajja, mbakoowoola; Mpita mmwe abaana b'abantu.
5
Mmwe ababuyabuya muyige obwegendereza; abasiru mufune okutegeera.
6
Muwulirize, kubanga bye ŋŋenda okwogerako bikulu; nzija kwasamya akamwa, njogere ebituufu.
7
Akamwa kange koogera mazima; emimwa gyange gyekanasa obugwenyufu.
8
Ebigambo by'akamwa kange byonna bituufu; mpaamu kikyamu, mpaamu kibi.
9
Ku bategeera, byonna biruŋŋamu, ku bamanyi, biba bituufu.
10
Mulondeewo enjigiriza yange okusinga ffeeza; okumanya, okusinga zaabu omulondobe.
11
Anti amagezi ga muwendo okukira amakula gonna; tewali kye weegomba kya muwendo kigenkana.
12
“Nze Amagezi nsula wamu n'okutegeera, nze nnannyini kumanya n'obulabufu.
13
Okutya Omukama kwe kukyawa ekibi; nkyawa okwekuza, olunkulu, empisa embi n'akamwa akabambaavu.
14
Nze nnannyini kubuulirira n'obwegendereza; nnina okutegeera n'obuyinza.
15
Olw'okubeera nze, bakabaka bafuga, n'abakungu balagira ekituufu.
16
Olw'okubeera nze, abaami bafuga, n'abakungu abalamula wonna mu nsi.
17
“Abanjagala nange mbaagala, abannoonya, bansanga.
18
Obugagga n'ekitiibwa biri nange, obugagga obutagooka n'okuba obulungi.
19
Ebibala byange bisinga zaabu omukuŋŋunte; bye ndeeta bikira ffeeza omulondobe.
20
Ntambulira mu kkubo ery'obutuukirivu; mu bukubo obw'ennamula entuufu,
21
nga ngaggawaza abo abanjagala; amawanika gaabwe ne ngajjuza.
22
“Omukama yanzaala mu masooka g'emirimu gye; ekibereberye mu bye yatonda eby'edda.
23
Yanteekawo okuva edda lyonna, mu kusooka, ku matandika g'ensi.
24
Obuziba bwonna nga tebunnabaawo, nze nga nazaalibwa dda, n'ensulo ezijjudde amazzi nga tezinnasooka;
25
ensozi nga tezinnatereera we ziri; nze nasooka obusozi okuzaalibwa;
26
nga tannakola nsi na ttale lyayo, yadde enfuufu eyasooka ey'oku nsi.
27
Naliwo lwe yabangawo olubaale; ne lwe yassaawo enkingi z'eggulu ku nnyanja,
28
lwe yawagika ebire waggulu awo, ne lwe yanyweza ensulo z'ennyanga;
29
lwe yabibira ennyanja, amazzi galeme kubuuka kkomo lyago, ne lwe yalamba emyaliiro gy'ensi.
30
Nali ffundi ku lusegere lwe; nali ssanyu lye buli lunaku, nga neeyagalira awo mu maaso ge obudde bwonna,
31
nga neeyagalira wonna mu nsi; nga nsanyukira mu baana b'abantu.
32
“Kale nno kati, baana bange, mumpulire; beesiimye abakwata amakubo gange.
33
Muwulire enjigiriza yange mubeere bagezi; temugigaya.
34
Yeesiimye ampulira, ankuumirira ku nzigi zange buli lunaku, annindirira ku miryango gyange.
35
Anti ansanga, aba asanze obulamu, alisanga okuganja ew'Omukama.
36
Naye ansubwa alyekolera bubi; bonna abankyawa baagala kufa.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31