bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 29
Proverbs 29
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 30 →
1
Gwe bakomako emirundi egiwera n'akakanyaza ensingo, mangu ajja kuzikirizibwa, tewaliba kuwona.
2
Abatuukirivu bwe beeyongera, abantu basanyuka, naye ababi bwe bafuga, abantu basinda.
3
Buli ayagala amagezi asanyusa kitaawe, naye ayita ne bamalaaya, aduubuuda ebibye.
4
Kabaka ensi aginyweza mu bwenkanya, naye alulunkanira okuvujjirirwa agizikiriza.
5
Oli aseemyaseemya munne, aba atega bigere bye kitimba.
6
Omubi ebisobyo bye bimutega, naye omutuukirivu asagambiza n'asanyuka.
7
Omutuukirivu amanyi ensonga z'abanaku, naye omubi ekyo takifaako.
8
Abanyoomi basasamaza ekibuga; naye abagezi bakkakkanya obusungu.
9
Omugezi bw'awoza n'omusiru, omusiru yeenyiiza n'okwesesa; tewaba mirembe.
10
Abantu abayiwa omusaayi bakyawa omutuufu; ababi banoonya obulamu bwe.
11
Omusiru bw'anyiiga, yeemalamu, naye omugezi yeefuga.
12
Omufuzi awuliriza eŋŋambo abaami be bonna bafuuka babi.
13
Omwavu n'omuntu anyigiriza bafaanana: Omukama y'atangaaza amaaso ga bombi.
14
Kabaka asalira abaavu emisango mu bwenkanya nnamulondo ye erinywera emirembe gyonna.
15
Omuggo n'okunenya bireeta amagezi, naye omwana atagambwako aswaza nnyina.
16
Ababi bwe beeyongera, emisango gyeyongera; kyokka abatuukirivu baliraba bwe basiguukulukuka.
17
Omwana wo mugolole, alikuwa emirembe; aliwa ebicepere omutima gwo.
18
Bwe wataba bulanzi abantu balaluka, naye beesiimye abakwata ebiragiro.
19
Omuweereza tagololwa na bigambo bugambo; ne bw'akitegeera, takifaako.
20
Walaba omuntu amala gafubutuka mu kwogera? Omusiru yandisuubirayo akantu, naye si oyo.
21
Atibula omuddu we okuva mu buvubuka, omuddu oyo alimujeemera oluvannyuma.
22
Ow'akasunguyira asiikuula nnyombo; atalwa kusunguwala akola ebisobyo bingi.
23
Amalala g'omuntu gamutuusa ku kutoowazibwa; naye eyeetoowaza alyefunira ekitiibwa.
24
Eyeetaba n'ababbi yeekolera kukyayibwa; awulira bye bamuvumirira naye tayogera kantu.
25
Okutya omuntu guba mutego, naye eyeesiga Omukama akuumibwa.
26
Bangi banoonya okukiika ew'omufuzi, naye ew'Omukama y'eva eddembe lya buli omu.
27
Abatuukirivu beenyinyala ababi, n'ababi beenyinyala ab'amakubo amaluŋŋamu.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31