bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 20
Proverbs 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 21 →
1
Omwenge guleeta okunyooma, n'ebitamiiza bireeta ennyombo; buli gwe biwabya taliba mugezi.
2
Obusungu bwa kabaka buli ng'okuwuluguma kw'empologoma, amusosonkereza okunyiiga yetta yekka.
3
Kya kitiibwa omuntu okwewala ennyombo, naye buli musiru yeetaba mu kulasana.
4
Omugayaavu tasambula mu budde; mu makungula alinoonya, naye talibaako ky'azuula.
5
Ebigendererwa by'omutima gw'omuntu mazzi mawanvu, naye omutegeevu abisenayo.
6
Bangi abeebalira mu b'ekisa; naye omuntu omwesigwa ddala ani anaamuzuula?
7
Omutuukirivu atambulira mu bulungi bwe; abaana be abalimuddirira beesiimye.
8
Kabaka atudde ku ntebe y'obulamuzi, awewera eri buli kibi n'amaaso ge.
9
Ani ayinza okugamba nti: “Nnongoosezza omutima gwange? Ntukudde, sikyaliko kibi?”
10
Obuzito n'ebipimo ebitatuukana, byombi Omukama abyenyinyala.
11
Mu by'akola omwana mw'alabirwa oba ebikolwa bye birungi, bituufu.
12
Okutu okuwulira n'eriiso eriraba, byombi Omukama ye yabikola.
13
Leka kwagala tulo, sikulwa ng'oyavuwala; eriiso kaza, olwo oliba n'emmere nnyingi.
14
“Ekyo kibi; ekyo kibi!” omuguzi bw'agamba; naye bw'agenda, nga yeewaana.
15
Zaabu gy'ali n'amayinja g'omuwendo nkuyanja, naye emimwa egyogera n'obutegeevu, jjinja lya kkula.
16
Ekyambalo ky'omuntu kitwale, ky'asinzeeyo okweyimirira omuyise; kitwale ng'omusingo bwe yeeyimirira omugwira.
17
Omuntu awoomerwa omugaati omubbirire, naye oluvannyuma akamwa ke kajjula enkokoto.
18
Enteekateeka zo zikole nga bwe weebuuza; olutalo lutabaale ng'obuuliriddwa bulungi.
19
Ow'olugambo abikkula ebyama, teweetabikanga na njogeziyogezi.
20
Avumirira kitaawe oba nnyina ettawaaza ye baligizikiza mu nzikiza wakati.
21
Obusika obwanguyire okufuna mu kusooka, oluvannyuma tebuliba na mukisa.
22
Togambanga nti: “Nzija kukukola nga bwe wankoze.” Lindirira Omukama; ajja kukudduukirira.
23
Omukama yeenyinyala obuzito obutatuukana; minzaani ebbirira si nnungi mu maaso ge.
24
Omukama y'alambika entambula y'omuntu; awo nno omuntu asobola atya okutegeera amakubo ge?
25
Okumala gawongayo kintu kubeera kwesuula mu mutego, ate oluvannyuma oli n'adda ku bweyamo bwe.
26
Kabaka ow'amagezi awewera eri ababi, abavugirako namuziga ey'enso.
27
Omwoyo gw'omuntu ye ttawaaza y'Omukama; egenda yeekenneenya munda muli.
28
Okusaasira n'amazima biwonya kabaka, nnamulondo ye ewanirirwa butuukirivu.
29
Amaanyi g'abavubuka lye ttendo lyabwe; envi kye kitiibwa ky'abakadde.
30
Obuswanyu n'ebinuubule binaabulawo ebibi; embooko zitukuza okutuukira ddala munda.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31