bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 23
Proverbs 23
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 24 →
1
Bw'otuulanga ku lujjuliro n'omukungu, wekkaanye bulungi ebiri awo mu maaso go.
2
Teeka akambe ku mumiro gwo, oba oli muntu muluvu.
3
Tolulunkanira mmere ye ya kawoowo, kubanga eyo mmere ya bulimba.
4
Teweekooyanga ng'onoonya obugagga; baamu amagezi weefuge.
5
Situla amaaso otunuulire obugagga, buliba tebukyaliwo; kubanga bumera ebiwaawaatiro ne bubuuka ng'empungu nga bulaga waggulu.
6
Tolyanga mmere ya muntu muganiriza, tolulunkaniranga mmere ye ya kawoowo,
7
kubanga ye muntu aba abalirira buli kaseera. Eno akugamba nti: “Lya, nywa,” sso ng'emmeeme tekuliiko.
8
Onoosesema akatundu ke waakamira; ebigambo byo ebirungi birikufa busa.
9
Toyogereranga mu matu g'abasiru; bagenda kugaya amagezi g'ebigambo byo.
10
Tojjululanga bituuti eby'edda; toyingiriranga ttaka lya bamulekwa.
11
Kubanga omununuzi waabwe wa maanyi; agenda kuwoza naawe ku lwabwe.
12
Ssaako omwoyo ku kuyigirizibwa, n'amatu go gasse ku bigambo omuli okumanya.
13
Tolekanga kukoma ku mwana; bw'omukuba n'akaggo tagenda kufa.
14
Mubonereze n'akaggo, omuwonye amagombe.
15
Mwana wange, omutima gwo bwe guliba omutegeevu; nange omutima gwange gulisanyuka;
16
nzenna muli ndisagambiza, emimwa gyo bwe giryogera ebigambo ebituufu.
17
Mu mutima aboonoonyi tebakusaalizanga, wabula buli lunaku lumirwa okutya Omukama.
18
Kubanga essuubi mu maaso gyeriri, ate essuubi lyo teriribaako alikomya.
19
Wulira, mwana wange, obeere mugezi, kuumira omutima gwo mu kkubo ettuufu.
20
Teweegattanga n'abo abeekamirira omwenge; oba mu abo abaluvuubanira ennyama.
21
Kubanga abatamiivu n'abaluvu baavuwala, anti okubongoota kwambaza omuntu obuziina.
22
Owuliranga kitaawo eyakuzaala; tonyoomanga nnyoko ng'akaddiye.
23
Amazima ogagulanga, naye togatundanga; funa amagezi, okumanya n'okutegeera.
24
Kitaawe w'omwana omutuukirivu aba musanyufu ddala; azaala omwana omugezi amwesiimiramu.
25
Kitaawo ne nnyoko basanyuke; omukazi eyakuzaala asanyuke.
26
Mwana wange, mpa omutima gwo, amaaso go gasimbe ku makubo gange.
27
Omukazi omwenzi, bunnya bwa nnyanga; omukazi malaaya, buya bufunda.
28
Mazima aliimisa nga bw'olaba omutemu, ababi ayongera bangi mu bantu.
29
Ani alaba ennaku? Ani ali mu buyinike? Ani ataggwa nnyombo? Ani ataggwa kwemulugunya? Ani awulubalidde obwereere? Ani amaaso gwe gamyuse?
30
Be bo abeetalirira omwenge, abagenda bayigga emyenge emitabule.
31
Totunuulira mwenge nga gumyuse, nga gutemagana bulungi mu kikopo, nga guttulukuka bulungi.
32
Oluvannyuma guluma ng'omusota, gubojja ng'embalasaasa.
33
Amaaso go galiraba eby'engeri, n'omutima gwo gulyogera ebigambo ebibambaavu.
34
Oliba ng'eyeebase wakati ku nnyanja; ng'eyeebase waggulu ku mulongooti.
35
Oligamba: “Bankubye, sirumiddwamu; bamputtudde, siwuliddeemu kantu; nnaazuukuka ddi, nziremu ngunoonye buto?”
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31