bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 4
Proverbs 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 5 →
1
Baana bange, muwulire okubuulirira kwa kitammwe, mutegereze, mufune okutegeera.
2
Kubanga nzija kubawa okumanya okwa nnamaddala; temubuukanga ku bye njigiriza.
3
Bwe nali omwana, mu nnyumba ya kitange, nga nkyali muto, nga nzekka nze mwana wa nnyabo,
4
kitange yanjigiriza, n'aŋŋamba nti: “Ebigambo byange obinywezanga n'omutima gwo gwonna; okwatanga bye nkulagira, lw'olirama.
5
Weefunire amagezi, weefunire okutegeera; teweerabiranga bigambo byange, era tobibuukangako.
6
Tovanga ku magezi, gagenda kukukuuma, ogaagalanga, gagenda kukulabirira.
7
Amagezi gasooka gati: weefunire amagezi; waayo byonna by'olina weefunire okutegeera.
8
Gasuusuute, galikusukkulumya; gawambaatire, galikutuusa ku kitiibwa.
9
Omutwe gwo galigussaako engule ennungi, galikussaako omuge ogw'ekitiibwa.”
10
Wulira, mwana wange, kkiriza bye ŋŋamba, emyaka gy'obulamu gyeyongere obungi.
11
Nkulaze ekkubo ery'amagezi ne nkuluŋŋamya mu makubo amaluŋŋamu.
12
Bw'olitambula, ebigere byo tebirisikattira, ne bw'olidduka emisinde, togenda kwesittala.
13
Nywerera ku by'oyigirizibwa, tobita; bikwate, kubanga byo bwe bulamu bwo.
14
Toyisanga bigere byo mu bukubo bw'ababi; totambuliranga mu kkubo ly'aboonoonyi.
15
Oliddukanga, tolisalanga; lidde ebbali, okwate gago.
16
Kubanga tebeebaka wabula nga bamaze kukolawo kabi, babulwa otulo okutuusa nga waliwo gwe basudde.
17
Okukola obubi ye mmere gye balya; obukambwe gwe mwenge gwe banywa.
18
Naye ekkubo ly'abatuukirivu liri ng'ekitangaala kya mmambya: kigenda kikanya okwaka okutuusa mu ttuntu.
19
Lyo ekkubo ly'ababi, nzikiza ekutte, tebamanyi na kwe beesittala.
20
Mwana wange, tegereza bye ŋŋamba; bye njogera, bitegere amatu.
21
Tebikuvanga ku maaso; bikwate munda mu mutima gwo.
22
Abizuula, bimufuukira bulamu; biwonya omubiri gwe gwonna.
23
Omutima gwo gukuumire ddala butiribiri, mu gwo mwe muva obulamu.
24
Weegobeeko akamwa akoogera ebikyamu, weewalire ddala emimwa egirebula.
25
Tunulanga butereevu mu maaso; amaaso go gasimbenga mulambika.
26
Wekkaanye akakubo k'ebigere byo, kwata amakubo ago gokka amaluŋŋamu.
27
Totaganga kudda ku ddyo oba ku kkono; ekigere kyo okiggyanga awali ekibi.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31