bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 16
Proverbs 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 17 →
1
Enteekateeka y'omutima ya muntu, kyokka olulimi kye lwanukula kiva wa Mukama.
2
Amakubo g'omuntu ku lulwe alaba nga malungi, kyokka Omukama y'apima omwoyo.
3
Byonna by'okola bikwase Omukama, olwo n'entegeka zo zijja kulama.
4
Omukama buli kintu yakikola ng'aliko ky'agenderera; n'omubi yamutondera olunaku olw'akabenje.
5
Omukama yeenyinyala bonna abeekuza mu mutima; kino kikakase: tebayinza butabonerezebwa.
6
Ekisa n'obwesigwa biddaabiriza olw'ekibi; mu kutya Omukama omuntu mwe yeewalira ekibi.
7
Amakubo g'omuntu bwe gasanyusa Omukama, n'abalabe be amuwa ne babeera naye mu ddembe.
8
Waakiri okubeera n'ebitono naye mu butuukirivu, okusinga okufuna ebingi ebitavudde mu bwenkanya.
9
Mu mutima gwe omuntu atetenkanya amakubo ge, naye Omukama y'aluŋŋamya ebigere bye.
10
Emimwa gya kabaka giwa bubaka; akamwa ke tekandikoze nsobi mu kusala musango.
11
Amayinja ne minzaani ebituufu bya Mukama; ebipimo byonna mu nsawo y'abikola.
12
Bakabaka beenyinyala okukola obubi, kubanga nnamulondo essibwawo mu butuukirivu.
13
Essanyu lya kabaka gy'emimwa emyesimbu; ayagala oyo ayogera bintu bituukirivu.
14
Obusungu bwa kabaka, mubaka wa lumbe, naye omugezi abukkakkanya.
15
Kabaka bw'asanyuka, obwo bulamu; okuganja gy'ali kiba ng'ekire ky'enkuba mu Ttoggo.
16
Okufuna amagezi nga kikirira wala okufuna zaabu; okuba n'okutegeera kyegombebwa okusinga okuba ne ffeeza.
17
Ekkubo ly'abatuufu lyewala ekibi; akuuma ekkubo lye aba akuumye obulamu bwe.
18
Okwekuza kwe kukulembera okuzikirira, n'omwoyo omwepansi gwe gukulembera okugwa.
19
Waakiri okuba omwavu mu banaku, okusinga okugabana omunyago n'abeekuza.
20
Awuliriza ebimuyigirizibwa yeeyagala, n'eyeesiga Omukama yeesiimye.
21
Alina omutima omugezi bamuyita mutegeevu, n'obuwoomi bw'enjogera bwongera ku kusikiriza.
22
Alina amagezi alina luzzi lwa bulamu, naye obusiru buleetera basiru kibonerezo.
23
Omutima gw'omugezi guluŋŋamya akamwa ke, ne gwongera emimwa gye obwogezi.
24
Ebigambo ebisanyusa, kisassalala kya mubisi gwa njuki; biwoomera omwoyo, bwe bulamu bw'amagumba.
25
Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi, naye ku nkomerero yalyo makubo ga lumbe.
26
Omwoyo gw'omukozi gwe gumuteganira, kubanga akamwa ke ke kamuwaliriza.
27
Omuntu endalagge alowoolereza bulabe, ne by'ayogera biri ng'omuliro ogusiiyiika.
28
Omuntu omubambaavu asiikuula nnyombo; ow'olugambo ayawukanya ab'omukwano.
29
Omuntu omukambwe alimbalimba munne, n'amukwasa ekkubo eritali ddungi.
30
Atta ku liiso aba ategeka bya bubambaavu, n'oyo aluma emimwa aba anoonya kukola kabi.
31
Envi, ngule ya kitiibwa, etukiibwako abo ab'empisa entuukirivu.
32
Omuntu omukkakkamu akira nalukalala; amanyi okwefuga akira awangula ekibuga.
33
Akalulu bakakasuka mu kikondoolo, naye okusalawo kwonna kwa Mukama.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31