bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 30
Proverbs 30
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 31 →
1
Ebigambo bya Aguri mutabani wa Yake ow'e Massa. Omusajja ono yagamba Yitiyeli, Yitiyeli ne Wukali nti:
2
Mu bantu bonna nze sirina kye mmanyi; okutegeera okw'obuntu nze sikulina.
3
Saayiga magezi, n'Oyo Omutuukirivu simumanyi.
4
Ani yali ayambuse mu ggulu n'akka? Ani yali akuŋŋaanyizza empewo n'agikwatira mu kikonde? Ani yali azingidde amazzi mu munagiro gwe? Ani yali ataddewo enkingi z'ensi? Erinnya lye ye ani, n'erya mutabani we, bw'oba omanyi?
5
Buli kigambo kya Katonda, kikakafu; yennyini ye ngabo y'abantu abaddukira gy'ali.
6
Ebigambo bye tobikubirangako kirala, sikulwa ng'akuvunaana n'akulaga bw'oli omulimba.
7
Bino bibiri bye nkusaba, tobinnyima nga sinnafa:
8
Tonsembereza bukuusa na bigambo bya bulimba; tompa bwavu yadde obugagga; mpa kyokka, emmere emmala,
9
sikulwa nga mu kuyagaayagana nkwegaana; ne mpoza: “Ate Omukama ye ani?” Oba ate njavuwala, ne nziba, ne nvuma erinnya lya Katonda wange.
10
Towaayirizanga muweereza wa mukama we, sikulwa ng'akuvumirira n'obonerezebwa.
11
Waliyo nno abavumirira bajjajjaabwe, n'abatasabira mukisa bannyaabwe.
12
Waliyo nno abeemanyi obutukuvu, sso ng'obujama tebubanaazibwangako.
13
Waliyo nno ab'amaaso ameekuza; abatunuza obunyoomi.
14
Waliyo abo amannyo gaabwe nga bitala; amagego gaabwe, bwambe, okukavvula abaavu babamale ku nsi, n'abanaku babamale mu bantu.
15
Ekinoso kirina bawala baakyo babiri: bigamba “Mpa, mpa.” Waliwo bisatu ebitakkuta; bina ebitalikugamba nti: “Kimala”:
16
Amagombe, olubuto olugumba, ettaka eritakkuta mazzi n'omuliro ogutaligamba nti: “Kimala.”
17
Eriiso erinyooma omuzadde omusajja, n'eritafa ku kuyamba muzadde mukazi, binnamuŋŋoona by'omu kiwonvu biriritungulamu, obwana bw'ensega ne bulirya.
18
Waliwo bisatu ebinneewuunyisa, bina bye sitegeerera ddala:
19
Ekkubo ly'empungu mu bbanga; ekkubo ly'omusota ku lwazi; ekkubo ly'eryato ku nnyanja wakati; n'ekkubo ly'omusajja ali n'omuwala.
20
Omukazi omwenzi akola bw'ati: Alya, bw'amala ne yeesiimuula emimwa, ng'agamba nti: “Tewali bubi bwe nkoze.”
21
Bisatu bino bye binyeenya ensi; bina by'eteyinza kugumiikiriza:
22
Omuddu bw'afuuka kabaka; omusiru akkuse emmere;
23
omukazi omukyawe ate n'afumbirwa, n'omuzaana bw'adda mu kifo kya mugole we.
24
Ku nsi kuliko ebitonde bina ebitono, sso mu bugezi bye bisinga:
25
Enkuyege, eggwanga eritalina maanyi, naye mu kyeya zeeterekera emmere;
26
buwakayima, buntu bukateyamba, naye bukola ebisulo byabwo mu njazi;
27
enzige, tezirina kabaka, naye zonna zisenguka ng'eggye eritaze okulwana;
28
omunya, osobola okugukwata n'engalo, naye gusangibwa ne mu mbiri za bakabaka.
29
Bisatu bino ebyeyisa ekikungu: bina ebitambuza ekikungu:
30
Empologoma esinga ebisolo byonna amaanyi, mpaawo ky'esanga n'edda ennyuma;
31
enkoko empanga egaaga, sseddume w'embuzi ne kabaka ali n'eggye lye.
32
Obanga mu busiru weekuza, omala weddamu, ddira omukono gwo okwate ku mumwa.
33
Ng'okusunda amata bwe kuggyamu omuzigo, ng'okukaka ennyindo bwe kugireeta omusaayi, n'okusiikuula obusungu bwe kuleeta ennyombo.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31