bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 31
Proverbs 31
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
1
Ebigambo bya Lemweli kabaka w'e Massa nnyina bye yamuyigiriza:
2
Kiki, mutabani? Kiki, mwana w'enda yange? Kiki, mwana w'obweyamo bwange?
3
Amaanyi go gonna togamaliranga ku bakazi; endasi zo ku abo abazikiriza ne bakabaka.
4
Sikigwanira bakabaka, ggwe Lemweli; si kya bakabaka okunywa omwenge; si kya bakungu okwagala ebitamiiza;
5
sikulwa nga banywa ne beerabira etteeka kye liragira, ne bakyusakyusa ensonga z'abanaku.
6
Muwe omwenge omuntu anaatera okufa; muwe omwenge ow'omutima ogulimu ennyiike.
7
Muleke banywe, beerabire ennaku, nga tebakyajjukira bulumi bwabwe n'akamu.
8
Yogeranga ku lw'abatasobola kweyogerera, ne ku lw'ensonga za bonna abaavu.
9
Yasamya akamwa ko olamule mu butuufu; lwanirira omunaku n'oyo ali mu bwetaavu.
10
Omukazi omuzira anaamusanga ye ani? Wa muwendo okukira amakula gonna.
11
Bba amwesiga n'omutima gwe gwonna, talina kya muwendo ky'ajulirira.
12
Aleetera bba birungi, si bibi, ennaku zonna ez'obulamu bwe.
13
Yeenoonyeza wuulu n'obugoogwa n'aluka n'emikono emimanyirivu.
14
Ali ng'amaato amasuubuzi, asomba emmere ye ng'agiggya wala.
15
Azuukuka nga bukyakutte, n'awa ab'omu maka ge emmere, n'agabira bazaana be emirimu.
16
Yekkaanya ennimiro n'agigula; aggya ku bye yafuna n'emikono gye n'asimba ennimiro y'emizabbibu.
17
Yeesiba n'anywera akole n'amaanyi, n'emikono gye mikakafu ku mulimu.
18
Amanyi nga by'asuubula bya ttunzi; ekiro ettawaaza ye tezikira.
19
Omukono gwe agussa ku katanta, emikono gye ne gikwata akati akalanga ewuzi.
20
Ayaniriza abaavu; n'agabira abali mu bwetaavu.
21
Mu budde obw'omuzira teyeeraliikirira ba mu nnyumba ye, kubanga bonna ab'omu maka ge bambala ne baggumira.
22
Aluka ebibikka ebitanda bye; ayambala engoye mpeweevu eza kakobe.
23
Bba wa kitiibwa ku miryango gy'ekibuga bw'atuula wakati mu bakungu b'omu ggwanga.
24
Aluka engoye empeweevu n'azitunda, abasuubuzi n'abaguza enneebaggyo.
25
Ayambadde amaanyi n'ekitiibwa; ennaku eziri mu maaso azisekerera busekerezi.
26
Ayogeza magezi; ebibuuliriro eby'ekisa bye biri ku lulimi lwe.
27
Alabirira enneeyisa y'ab'omu maka ge; emmere talya ya bwereere.
28
Abaana be basituka ne bamutenda emikisa, ne bba naye n'amutenda nti:
29
“Abakazi bangi abakola eby'ettendo, naye ggwe bonna obasinga.”
30
Obuganzi bulimbalimba, n'obubalagavu temuli nsa; omukazi atya Omukama yekka y'atendebwa.
31
Mumuwe empeera y'emikono gye bye gikoze, n'emirimu gye gimuweese ekitiibwa ku miryango gy'ekibuga.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31