bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 25
Proverbs 25
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 26 →
1
Na zino nazo ngero za Solomoni; abasajja ba Kezekiya kabaka wa Yuda be baaziwandiika:
2
Okukisa ekigambo kitiibwa kya Katonda; ate okukiwenja, kitiibwa kya bakabaka.
3
Eggulu nga bwe lyewanise waggulu n'ensi nga bw'ekka eyo ekkuzimu, n'emitima gya bakabaka bwe giteefumiitirizika.
4
Ffeeza muggyeeko essengere, olwo nga muvaamu omufukusi wa ffeeza ky'anaakolamu ekibya.
5
Ggya akola obubi mu maaso ga kabaka, entebe ye erinywera olw'obutuukirivu.
6
Teweejaakanga mu maaso ga kabaka, oba okweteeka abakungu we babeera.
7
Ekisinga ye kwe kukugamba nti: “Yambuka wano,” n'ototoowazibwa mu maaso ga mukungu.
8
Amaaso go kye galabyeko tokireetanga mangu mu mbuga, kale oluvannyuma olikola otya nga munno akuswazizza?
9
Woza ensonga zo ne munno, kyokka tobikkulanga kyama kya mulala.
10
Sikulwa ng'akiwulira n'akuvunaana; erinnya ebbi ly'olifuna teririkuvaako.
11
Ekigambo ekyogerere we kigwanira, kiri ng'amapeera aga zaabu agatobekeddwamu aga ffeeza;
12
Ng'empeta eya zaabu ey'oku matu oba ng'omukuufu ogwa zaabu omulungi, n'omugezi abuulirira awuliriza bw'aba.
13
Ng'obunnyogovu bw'omuzira mu budde obw'amakungula, n'omubaka omwesigwa bw'aba ku aba amutumye; azzaamu otwanyi omwoyo gwa mukama we.
14
Ng'ebire n'empewo omutali nkuba, n'eyeewaanawaana olw'ebirabo by'atawa bw'aba.
15
Mu kugumiikiriza omukungu asendebwasendebwa; olulimi olugonvu lwasa amagumba.
16
Bw'ogwikiriza omubisi gw'enjuki, lyako ogukumala, sikulwa ng'oguyitiriza n'ogusesema.
17
Ewa munno, leka kuseregganirayo, sikulwa ng'akwetamwa n'akukyawa.
18
Embuukuuli, ekitala, akasaale akoogi, ye muntu awa obujulizi obw'obulimba ku munne.
19
Erinnyo erivunze, okugulu okulema, ye muntu ateesigwa okumwesiga mu budde obw'akabi.
20
Ayimbira ennyimba omutima omunakuwavu, abeera ng'oli aggyamu ekkooti ye mu butiti, obanga ayiwa enkaatu mu luvu.
21
Omulabe wo nga muyala, muwe ekyokulya, nga muyonta, muwe ekyokunywa.
22
Olwo olituumira ku mutwe gwe amanda agengeredde, n'Omukama alikuweera.
23
Ng'embuyaga y'emambuka bw'ereeta enkuba; n'olulimi olugeyi bwe luleeta amaaso ageekapye.
24
Waakiri okusulanga waggulu mu kalikonda ka kasolya, okusinga okugatta ennyumba n'omukazi omuyombi.
25
Ng'amazzi amannyogovu ku muntu alakasidde, n'amawulire amalungi agava mu nsi ey'ewala bwe gabeera.
26
Ng'oluzzi olusiikuuliddwa, oba ensulo eyonoonese, n'omutuukirivu alekera omubi bw'aba.
27
Si kirungi kunuuna mubisi gwa njuki mungi, yadde okunoonya ekitiibwa kino na kiri.
28
Ng'ekibuga ekyabiziddwa, okutakyali bbugwe, n'omuntu atamanyi kwefuga bw'aba.
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31