bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 3
Proverbs 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 4 →
1
Mwana wange, teweerabira bye nkuyigiriza, ebiragiro byange bikwate mu mutima gwo.
2
Biryongera ku nnaku zo n'emyaka gy'obulamu bwo, ne bikuwa eddembe.
3
Okusaasira n'amazima tebikubulangako; bisibire ddala mu bulago bwo, biwandiike ku bipande by'omutima gwo.
4
Lw'onoosanga ekisa n'erinnya eddungi, mu maaso ga Katonda n'abantu.
5
Weesige Omukama n'omutima gwo gwonna, teweemaliranga ku kumanya kwo kwokka.
6
Mu makubo go gonna mulowoozengako, aliruŋŋamya obukubo bwo.
7
Teweemanyanga magezi; tya Katonda, weewale ekibi.
8
Kino kireetera omubiri gwo obulamu, n'amagumba go ne kigawa okuvubirizibwa.
9
Wa Omukama ekitiibwa ng'otoola ku bintu byo; ng'omuwa ku bibala ebisooka eby'ebyo byonna by'obazizza.
10
Olwo amawanika go galijjula eŋŋano, n'amasogolero go ne gajjula evviini ne gabooga.
11
Togayanga ŋŋunjula ya Mukama, by'aba akukomyeko tobinyoomanga.
12
Kubanga Omukama akoma ku gw'ayagala, nga kitaawe w'omwana bw'akola omwana we gw'ayagala.
13
Omuntu agguse ku magezi, yeesiimye, eyeefunidde okutegeera.
14
Amagoba agalimu gakira agali mu ffeeza, ekigavaamu kikira ekiri mu zaabu omuyooyoote.
15
Ga muwendo okukira amakula gonna, tewali kye weegomba kya muwendo kigenkana.
16
Okuwangaala gakulina mu ddyo waago, ate mu kkono, obugagga n'ekitiibwa.
17
Amakubo gaago, makubo gasanyusa, n'obukubokubo bwago bwonna bwa ddembe.
18
Abagakutte gabafuukira muti gwa bulamu; beesiimye abagalina mu ngalo zaabwe.
19
Omukama ensi yagibangawo na magezi, n'eggulu yalinywezaayo na kutegeera.
20
N'amagezi ge yagabanyaamu obuziba, n'ebire ne bitonnyesa omusulo.
21
Mwana wange, kwata ebibuuliriro, goba obwegendereza; ebyo tebikuvanga ku maaso;
22
omwoyo gwo birigubeerera bulamu, n'eby'okuwoomya obulago bwo.
23
Olwo oligendanga mu ddembe, ekigere kyo tekigenda kwesittala.
24
Bw'oliba weebase, togenda kutya; bw'oligalamira, otulo tugenda kukunyumira.
25
Leka kutya kyekango kya mbagirawo, na kuzikirira kw'ababi nga kubadde kuzze.
26
Kubanga Omukama alikuwa okuguma; alikuuma ekigere kyo kireme kukwatibwa mutego.
27
Tommanga kirungi oyo gwe kiteekwa okukolerwa, bw'obanga osobola okukikola.
28
Munno tomugambanga nti: “Genda, onodda; ndikuwa jjo,” sso ng'okirina.
29
Teweekoberanga munno kumukolera bubi, sso ng'atuula naawe ntende.
30
Toyombanga na muntu watali nsonga, nga talina ky'akukoze.
31
Omuntu omukambwe takukwasanga buggya; tokwatanga na limu ku makubo ge,
32
kubanga Omukama yeenyinyala omuntu ayisa obubi; abayisa obulungi gye mikwano gye.
33
Omukama avumirira ennyumba y'omubi, naye amaka g'abatuukirivu gafuna omukisa.
34
Abanyooma naye abanyooma; kyokka abeetoowaze alibagirira ekisa.
35
Abagezi balisikira ekitiibwa; naye abasiru balifuna kuswazibwa.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31