bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 19
Proverbs 19
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 20 →
1
Ofunda n'omwavu atambulira mu bulungi bwe, n'otoba na musiru ow'emimwa egyogera ebikyamu.
2
Si kirungi kubeera na bujjumbize awatali magezi; yadde okwanguyirira ate n'obulwa ekkubo.
3
Obusiru bw'omuntu bwe butta ekkubo lye, ate omutima gwe ne gunyiigira Omukama.
4
Obugagga bwongera emikwano, naye omwavu mikwano gye gimwabulira.
5
Omujulirwa ow'obulimba taliwona kibonerezo; n'oyo afukumula eby'obulimba taligendera awo.
6
Bangi beesaanyiriza ewa nnagagga; buli omu aba mukwano gw'oyo agaba.
7
Omwavu, ne baganda be bonna bamukyawa, ne mikwano gye bamwesamba. Ababembereza n'ebigambo, naye tebalabikako.
8
Ayagala amagezi aba ayagadde bulamu bwe, n'alina okutegeera aligguka ku birungi.
9
Omujulirwa omulimba taliwona kibonerezo; n'oyo afukumula eby'obulimba alizikirira.
10
Omusiru tagwana kwesiima; ekisingawo n'obubi ye muddu okufuga abakungu.
11
Obuntubulamu buwa omuntu okugumiikiriza; okubikka ku bisobyo kimuweesa ekitiibwa.
12
Obusungu bwa kabaka buli ng'okuwuluguma kw'empologoma, naye okuganja ewuwe kuli nga ssuulwe ku muddo.
13
Omwana omusiru, kwe kuzikirira kwa kitaawe, n'omukazi omuyombi, kutonnya kwa nnyumba okutaggwa.
14
Ennyumba n'obugagga bisikirwa ku bazadde, naye omukazi omwegendereza ava wa Mukama.
15
Obugayaavu buleeta otulo tungi; ataliiko ky'akola tawona njala.
16
Akwata ekiragiro aba akuumye bulamu bwe, naye agayaalirira ekkubo lye, alifa.
17
Asaasira omwavu aba awoze Mukama; alimusasula olw'ekyo ky'akoze.
18
Kangavvula omwana wo, kubanga kino kiwa essuubi; tewessanga ku kya kumutta.
19
Omuntu ow'obusungu obungi alisasula n'ekibonerezo, ne bw'omuwonya era olidda omuwonye.
20
Wuliriza ekibuuliriro, kkiriza okuluŋŋamizibwa, oluvannyuma oliba omugezi.
21
Bingi omutima gw'omuntu bye gutetenkanya, naye Omukama ky'ateesa kye kiribaawo.
22
Abantu kye beegomba mu muntu, kisa; ofunda n'omwavu n'otoba na mulimba.
23
Okutya Omukama kiwa obulamu: amutya alisulanga ntende, awatali kabi kamutawaanya.
24
Omunafu omukono agukweka mu kibya, tasobola na kuguzza eri kamwa ke.
25
Weweenyula omunyoomi, olwo ababuyabuya bajja kuyiga obwegendereza; koma ku mutegeevu, ajja kweyongera mu kumanya.
26
Anyaga kitaawe n'agoba nnyina, aba mwana asonyiwaza n'okuweebuula.
27
Mwana wange, koma okuwulira ebikuyigirizibwa, oliwaba mu by'amagezi ebikugambibwa.
28
Omujulirwa omubi anyooma ennamula ey'obwenkanya; omumwa gw'ababi gumira bugobo obugwenyufu.
29
Enzo, z'abo abanyoomi, n'okuweweenyula obutuuliro kw'abo abasiru.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31