bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 14
Proverbs 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 15 →
1
Amagezi gazimba ennyumba yaago, naye obusiru bugyabya n'emikono gyabwo.
2
Atambulira mu buluŋŋamu atya Omukama, naye atambulira mu makubo amakyamu amunyooma.
3
Akamwa k'omusiru kamuleetera kaggo ku butuuliro, naye emimwa gy'abagezi gibataasa.
4
Bwe wataba nte, emmanvu eba nkalu; amakungula amangi gava mu nte ya maanyi.
5
Omujulirwa omwesigwa talimba, naye omujulirwa omulimba afukumula bya bulimba.
6
Omunyoomi bw'anoonya amagezi tagasanga, naye okumanya kwanguyira omutegeevu.
7
Weewale omusiru, kubanga tolisanga magezi ku mimwa gye.
8
Amagezi g'omwegendereza kwe kumanya amakubo ge, naye obusiru bw'abasiru buwubisa.
9
Ababi basekerera okuddaabiriza olw'ekibi, naye mu batuufu, ssanyu ssa.
10
Omutima gumanyi ennyiike yaagwo, n'ow'ebweru tasobola kwetabika mu ssanyu lyagwo.
11
Ennyumba y'ababi erizikirizibwa, naye weema z'abatuufu ziritinta.
12
Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi, naye ku nkomerero yalyo makubo ga lumbe.
13
Nandibadde mu nseko omutima gwandilumwa, eribadde essanyu ne lifuuka nnaku.
14
Omubi alijjula ebibala by'amakubo ge, n'omulungi naye alisiimibwa olw'agage.
15
Omubuyabuya akkiriza buli kimu; naye omwegendereza yekkaanya ekigere ky'asitula.
16
Omuntu omugezi atya n'adduka ekibi, naye omusiru yeesunguusula, amala googera.
17
Ow'akasunguyira akola eby'obusiru, naye omwegendereza akwata mpola.
18
Ababuyabuya basikira busiru, naye abeegendereza engule bafuna ya kumanya.
19
Abakola obubi balyeyala mu maaso g'abalungi, n'ababi ku miryango gy'abatuukirivu.
20
Omwavu ne muliraanwa we amukyawa, naye abagagga balina emikwano mingi.
21
Anyooma munne akola kibi; naye asaasira adooba yeesiimye.
22
Abalowoolereza okukola obubi baba tebawabye? Naye abessa ku kukola obulungi beefunira ekisa n'obwesigwa.
23
Okukola ennyo muvaamu amagoba, naye okwogera obwogezi kuleeta bbula.
24
Obugagga bw'abagezi ye ngule yaabwe, naye obusiru gwe muge gw'abasiru.
25
Omujulirwa ow'amazima awonya obulamu, naye omujulirwa afukumula obulimba wa nkwe.
26
Mu kutya Omukama mwe muli ekigo ekinywevu; bwe buddukiro bw'abaana be.
27
Okutya Omukama ye nsulo y'obulamu, okuwonya omuntu emitego gy'olumbe.
28
Obungi bw'abantu kye kitiibwa kya kabaka, naye obutono bw'abatwalibwa kwe kuzikirira kw'omufuzi.
29
Omugumiikiriza aba n'okutegeera kungi, naye ow'akasunguyira busiru bw'agulumiza.
30
Omutima omukakkamu bwe bulamu bw'omubiri, naye obuggya buvunza amagumba.
31
Ajooga omwavu, avuma Oyo Ayamukola, naye asaasira omunaku assaamu Katonda ekitiibwa.
32
Omubi obugwenyufu bwe bwe bumusuula, naye omutuukirivu asanga obuddukiro mu bulungi bwe.
33
Amagezi gabukala mu mutima mutegeevu, naye tegamanyiddwa mu mutima gw'abasiru.
34
Obutuukirivu butumbula eggwanga, naye ekibi kisonyiwaza abantu.
35
Essanyu lya kabaka liri mu muweereza mugezi, naye obusungu bwe bujjira oyo akola ebiswaza.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31