bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Proverbs 28
Proverbs 28
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 29 →
1
Omubi adduka nga tewali n'amugoba, naye omutuukirivu aba muzira ng'empologoma.
2
Ensi bw'eba mu bujeemu, eba n'abafuzi bangi; naye omutegeevu alimu okumanya azzaawo obutebenkevu.
3
Omwavu anyigiriza abaavu, ali nga nnamuttikwa w'enkuba atalekaawo mmere.
4
Abaabulira etteeka bawaanawaana ababi, naye abalikwata babalwanyisa.
5
Abantu ababi tebategeera butuufu; naye abanoonya Omukama babutegeera mu bujjuvu.
6
Waakiri omwavu atambulira mu bulungi bwe, okusinga omugagga ow'amakubo amabi.
7
Akwata etteeka, oyo mwana mugezi; naye ayita n'abaluvu aswaza kitaawe.
8
Ow'ebintu gwe byalira olw'okuliika n'okuseera, akuŋŋaanyiza mulala alijuna abaavu.
9
Akyusiza eri okutu aleme kuwulira tteeka, okwegayirira kwe kwenyinyalwa.
10
Alaza abatuufu mu kkubo ebbi, yennyini aligwa mu bunnya bwe, naye abataliiko musango balifuna omusera gw'obusika.
11
Omugagga yandyeraba ng'omugezi, naye omwavu omwegendereza amwekkaanya.
12
Abatuukirivu bwe bawangula, wabaawo okusanyuka kunene, naye ababi bwe bajja mu buyinza, abantu nga beekweka.
13
Abikkirira ebisobyo bye, tafuna mukisa, naye azeenenya n'azireka, alisaasirwa.
14
Yeesiimye omuntu bulijjo atya Katonda, naye agugubya omutima gwe agwa mu kabi.
15
Ng'empologoma ewuluguma oba eddubu erirumwa enjala, ye mufuzi omubi atwala abantu abanaku.
16
Omukulembeze abulamu okutegeera atulugunya nnyo, naye akyawa obulyake alyongera ku nnaku z'obulamu bwe.
17
Avunaanibwa okuyiwa omusaayi gw'omulala, aliba mudduse obulamu bwe bwonna; wabulewo amuyamba.
18
Atambulira mu bulungi aliwona, naye akwata amakubo amakyamu aligwa mangu.
19
Eyeerimira ettaka lye alikkuta emmere, naye adda mu bitaliimu alikkuta obwavu.
20
Omuntu omwesigwa alifa emikisa obungi, naye awaalirira okugaggawala amangu taliwona kibonerezo.
21
Okugwa olubege si kirungi, naye olw'akatundu k'omugaati kati omuntu asobya.
22
Omuganiriza awaalirira obugagga, n'atamanya nti obwavu bujja kumugwira.
23
Akomako munne, oluvannyuma alizuula obuganzi okukira ow'akalimi akaseemyaseemya.
24
Abba kitaawe ne nnyina n'awoza nti: “Si musango,” wa mukwano n'omutemu.
25
Ow'omululu asiikuula nnyombo; naye eyeesiga Omukama aliba n'omukisa.
26
Eyessa obwesige mu ye yekka, musiru, naye atambulira mu magezi aliwona.
27
Agabira abaavu talijula kantu, naye abazibira amaaso alifuna ebikolimo bingi.
28
Ababi bwe bajja mu buyinza, abantu nga beekweka, naye bwe bazikirira, abatuukirivu nga baala.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31