bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 1
1 Samuel 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 2 →
1
Awo waaliwo omusajja ow'e Lamasaimuzofimu, eky'omu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, erinnya lye Erukaana, mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Eriku, mutabani wa Toku, mutabani wa Zufu, Omwefulayimu.
2
Erukaana yalina abakazi babiri; omu erinnya lye nga ye Kaana, n'omulala erinnya lye nga ye Penina; era Penina yalina abaana, naye Kaana teyalina baana.
3
Awo omusajja oyo yavanga mu kyalo kye buli mwaka n'agenda e Siiro okusinza n'okuwaayo ssaddaaka eri Mukama ow'eggye. Ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi, bakabona eri Mukama, baali eyo.
4
Awo olunaku bwe lwatuuka Erukaana kwe yaweerangayo ssaddaaka, n'awa Penina mukazi we omugabo gumu, ne batabani be ne bawala be buli omu omugabo gumu gumu;
5
naye olw'okuba Kaana yamwagala nnyo yamuwanga emigabo ebiri (2), naye Mukama yali aggalidde olubuto lwe.
6
Naye Penina muggya we n'amusunguwazanga nnyo n'okumweraliikirizanga, olw'okubanga Mukama yali aggalidde olubuto lwe.
7
Bwe kityo bwe kyabanga buli mwaka. Bwe bagendanga mu nnyumba ya Mukama, Penina yasunguwazanga Kaana. Kaana kyeyavanga akaaba amaziga, n'alemwanga n'okulya.
8
Awo Erukaana bba n'amubuuza nti, “Kaana, okaabira ki? Kiki ekikugaana okulya? N'omutima gwo kiki ekigweraliikiriza? Nze sisinga baana kkumi (10) gy'oli obulungi?”
9
Bwe baamala okulya n'okunywa e Siiro, Kaana n'asituka. Mu kiseera ekyo, Eri kabona yali atudde ku ntebe okumpi n'omulyango gwa Yeekaalu ya Mukama.
10
Kaana omwoyo gwe gwali gumuluma nnyo, n'asaba Mukama, n'akaaba nnyo amaziga.
11
Ne yeeyama obweyamo n'ayogera nti, “Ayi Mukama ow'eggye, bw'oliba ng'otunuulidde ennaku omuzaana wo gyendabye, n'onjijukira n'otonerabira, naye n'ompa omwana ow'obulenzi, nange ndimuwa Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwe, so ne nviiri ze tezimwebwengako.”
12
Awo bwe yeeyongera okusaba mu maaso ga Mukama, Eri ne yekkaanya emimwa gye.
13
Kaana yasabira mu mutima gwe; emimwa gye, gye gyenyenya naye ebigambo bye tebyawulikika; Eri kyeyava alowooza nti atamidde.
14
Eri n'amubuuza nti, “Olituusa wa okutamiiranga? Weggyeeko ettamiiro.”
15
Kaana n'addamu n'ayogera nti, “Nedda, mukama wange, nze ndi mukazi alina omwoyo ogunakuwadde; sinywedde mwenge newakubadde ekitamiiza, naye mbadde nyanjulira Mukama enaku eri ku mutima gwange.
16
Tolowooza nti ndi mukazi ataliimu nsa, naye mu kwemulugunya kwange okusukkiridde ne mu kunyiiga kwange mwe nsizide okwogera okutuusa kaakano.”
17
Awo Eri n'addamu Kaana nti, “Genda mirembe, era Katonda wa Isiraeri akuwe ebyo by'omusabye.”
18
Kaana n'amuddamu nti, “Weebale kunjagaliza mukisa nze omuzaana wo.” Awo Kaana n'addayo n'alya n'ataddayo kunakuwala nate.
19
Erukaana n'ab'omu nnyumba ye ne bazuukuka enkya ku makya, ne basinza mu maaso ga Mukama ne baddayo eka, ne bayingira mu nnyumba yaabwe mu Laama. Erukaana ne yegatta ne mukazi we Kaana; Mukama n'amujjukira.
20
Awo olwatuuka ebiro bwe byatuuka Kaana n'aba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi; n'amutuuma Samwiri, eritegeeza nti, “Nnamusaba eri Mukama.”
21
Awo omusajja Erukaana n'ab'omunnyumba ye bonna ne bagenda nate okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka eri Mukama n'okutuukiriza obweyamo bwe.
22
Naye Kaana ye n'atagenda kubanga yagamba nti, “Sijja kugendayo okutuusa omwana lw'aliva ku mabeere, ne ndyoka mmutwala mu maaso ga Mukama, abeerenga eyo ennaku zonna.”
23
Erukaana bba n'amugamba nti, “Kola nga bw'oyagala; beera wano okutuusa lw'olimala okuggya omwana ku mabeere era Mukama atuukirize byeweyama.” Awo omukazi n'abeera awo n'ayonsa omwana okutuusa lwe yamuggya ku mabeere.
24
Awo bwe yamuggya ku mabeere, n'amutwala ng'alina ente ssatu, ne efa emu n'ensawo ey'eddiba ejjudde omwenge, n'amutuusa mu nnyumba ya Mukama mu Siiro; naye omwana yali akyali muto.
25
Ne batta ente ne baleetera Eri omwana.
26
N'amugamba nti, “Ayi mukama wange, nga bw'oli omulamu, nze mukazi oyo eyayimirira w'oli wano, nga nsaba Mukama.
27
Omwana ono gwe nnasaba; era Mukama yampa ebyo bye nnamusaba;
28
nange kyenvudde mmuwaayo eri Mukama; ng'akyali mulamu.” Kaana n'asinziza eyo Mukama.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31