bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 3
1 Samuel 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 4 →
1
Awo omwana Samwiri n'aweererezanga Mukama mu maaso ga Eri. Ekigambo kya Mukama kyali kya bbula mu nnaku ezo; era tewaalingawo kwolesebwa kwa lwatu.
2
Awo olwatuuka mu biro ebyo, amaaso ga Eri gaali gatandiise okuyimbaala, nga takyayinza kulaba, era yali nga agalamidde mu kisenge kye;
3
n'ettabaaza ya Katonda yali nga tennazikira, nga ne Samwiri agalamidde okwebaka mu Yeekaalu ya Mukama omuli essanduuko ya Katonda;
4
awo Mukama n'ayita, “Samwiri! Samwiri!” N'ayitaba nti “Nze nzuuno.”
5
Samwiri n'ayanguwa n'agenda eri Eri n'ayogera nti, “Nzuuno kubanga ompise.” Eri n'addamu nti, “Sinakuyita, ddayo weebake.” N'agenda, n'eyeebaka.
6
Mukama n'amuyita nate omulundi ogwokubiri nti, “Samwiri.” Samwiri n'agolokoka n'agenda eri Eri n'amugamba nti “Nzuuno kubanga ompise.” Eri n'addamu nti, “Sinakuyita ddayo weebake.”
7
Era Samwiri yali tannamanya Mukama, so n'ekigambo kya Mukama kyali tekinnamubikkulirwa.
8
Mukama n'ayita Samwiri nate omulundi ogwokusatu, Samwiri n'agolokoka n'agenda eri Eri n'ayogera nti “Nze nzuuno kubanga ompise.” Awo Eri n'ategeera nti Mukama ye yali ayita omwana.
9
Eri kyeyava agamba Samwiri nti, “Genda weebake.” Awo olunaatuuka bw'anaaba ng'akuyise onooyanukula nti, “Yogera Mukama wange, kubanga omuddu wo awulira.” Awo Samwiri n'agenda neyeebaka mu kifo kye.
10
Awo Mukama n'ajja n'ayita ng'olulala nti, “Samwiri, Samwiri.” Awo Samwiri n'addamu nti, “Yogera kubanga omuddu wo awulira.”
11
Awo Mukama n'agamba Samwiri nti, “Laba ndikola ekigambo mu Isiraeri ekiryanaamiriza amatu gombi aga buli muntu alikiwulira.
12
Ku lunaku olwo ndituukiriza ku Eri byonna bye nnaakoogera ku nnyumba ye, okuva ku lubereberye okutuusa ku nkomerero.
13
Ndisalira ennyumba ye omusango ogw'olubeerera olw'ekibi kye yamanya batabani be kye bayonoona ne beeretako ekikolimo naye n'atabaziyiza.
14
Kyenvudde ndayirira ennyumba ya Eri ng'obutali butuukirivu bw'ennyumba ye tebugenda kugibwawo na ssaddaaka newakubadde ebiweebwayo ennaku zonna.”
15
Samwiri neyeebaka okutuusa obudde bwe bwakya, n'aggulawo enzigi z'ennyumba ya Mukama naye naatya okubuulira Eri bye yali ayolesebwa.
16
Awo Eri n'ayita Samwiri n'ayogera nti, “Samwiri, mwana wange.” Samwiri n'addamu nti, “Nze nzuuno.”
17
Eri n'amubuuza nti, “Mukama y'akugambye ki? Nkwegayiridde mbuulira tonkisa, Katonda akubonereze n'obukambwe bw'onoonkisa ekigambo kyonna ku ebyo bye yakugambye.”
18
Awo Samwiri n'amubuulira buli kigambo n'atamukisa kigambo kyonna. Eri n'addamu nti, “Ye Mukama akole nga bw'asiima.”
19
Samwiri n'akula, Mukama n'aba naye, Mukama n'ataganya kigambo kye na kimu kugwa butaka.
20
Abaisiraeri bonna okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba ne bamanya nga Samwiri ateekeddwawo okuba nnabbi wa Mukama.
21
Awo Mukama n'ayongera nate okulabikira Samwiri mu Siiro, kubanga Mukama yeebikkulira Samwiri mu Siiro ng'ayita mu kigambo kya Mukama.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31