bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 20
1 Samuel 20
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 21 →
1
Awo Dawudi n'adduka okuva e Nayosi mu Laama, n'agenda eri Yonasaani n'amugamba nti, “Nkoze ki? Obutali butuukirivu bwange buliwa? Era kibi ki kye nkoze mu maaso ga kitaawo alyoke anoonye okunzita?”
2
Yonasaani n'amuddamu nti “Kikafuuwe tojja kufa, kubanga kitange tabaako ky'akola oba kikulu oba kitono nga tasoose kumbulirako. Era kitange yandinkwekedde ki ekigambo ekyo? Si bwe kiri.”
3
Dawudi n'alayira n'agamba nti, “Kitaawo amanyi bulungi ng'onjagala, kyavudde asalawo obutakumanyisa kino ng'agamba nti, ‘Yonasaani kino takimanye, aleme okunakuwala.’ Naye mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, wakati wange n'okufa wasigadde kata buta.”
4
Awo Yonasaani n'alyoka agamba Dawudi nti, “Buli kintu kyonna emmeeme yo ky'eyagala okukikukolera nzijja kukikukolera.”
5
Awo Dawudi n'agamba Yonasaani nti, “Laba, enkya omwezi gunaaboneka, nange ssaliremye kutuula ne kabaka ng'alya; naye ka ŋŋende nneekweke mu nsiko okutuusa ku lunaku olwokusatu akawungeezi.”
6
Dawudi n'agamba Yonasaani nti, “Kitaawo bw'anaambuuza, onoomugamba nti, ‘Dawudi yansabye nga anneegayirira nnyo muleke agende e Besirekemu mu kibuga ky'ewaabwe kubanga eriyo ssaddaaka eya buli mwaka ey'ennyumba ye yonna.’
7
Awo bw'anaayogera nti, ‘Kirungi’ omuddu wo anaaba mirembe naye bw'anaasunguwala, onoomanya nga alina akabi kantegekedde.
8
Kale nze omuddu wo nkwatirwa ekisa kubanga twakola endagaano naawe mu maaso ga Mukama; naye oba nga waliwo obutali butuukirivu mu nze, ggwe wennyini nzita kubanga tewali nsonga ekuntwazisa eri kitaawo.”
9
Awo Yonasaani n'agamba Dawudi nti, “Ekyo tokirowooza n'akatono, kubanga mbeera kukimanyako nga kitange alina akabi k'ategese okukukolako, sandikubuulidde?”
10
Awo Dawudi n'agamba Yonasaani nti, “Kitaawo bw'anaaba akuzzeemu n'obukambwe ani anaambuulira?”
11
Yonasaani n'agamba Dawudi nti, “Jjangu tufulume tugende mu nsiko.” Ne bafuluma bombi ne bagenda mu nsiko.
12
Awo Yonasaani n'agamba Dawudi nti, “Mukama, Katonda wa Isiraeri, abeere mujulirwa. Enkya mu budde nga buno, oba ku lunaku olunaddirira, nja kukemekkereza kitange. Bwe nnalaba ng'akwogerako bulungi ggwe Dawudi, nja kukutumira nkumanyise.
13
Kitange bw'anaaba ayagala okukulako akabi, ne sikikumanyisa, era na sikutolosa ogende mirembe, nze Yonasaani, Mukama ambonereze n'obukambwe. Mukama abeere naawe nga bwe yabanga ne kitange!
14
Nange bwe n'aba nkyali mulamu onoondaga ekisa kya Mukama nga nkyali mulamu, nneme kufa;
15
so si kukoma ku kw'ekyo kyokka; naye n'ennaku zonna onoolaganga ekisa ennyumba yange; n'okutuusa Mukama nga amaze okumalawo abalabe ba Dawudi bonna ku nsi.”
16
Awo Yonasaani n'alagaana endagaano n'ennyumba ya Dawudi nti, “Era Mukama aligivunaana ku balabe ba Dawudi.”
17
Yonasaani n'alayiza Dawudi nate; kubanga yamwagala nga bwe yeeyagala ye yennyini.
18
Awo Yonasaani n'alyoka amugamba nti, “Enkya omwezi gunaaboneka; era banaakumagamaga, kubanga entebe yo eneeba njereere.
19
Ku lunaku oluddirira olw'enkya ojja kugenda mu kifo gye weekweka ku mulundi guli, obeere eyo, emabega w'ejjinja Ezeri.
20
Nange ndirasa obusaale busatu ku mabbali gaalyo, nga nteeba sabbaawa.
21
Kale, laba, ndituma omwana ne mugamba nti, ‘Genda onoonye obusaale,’ bwe ndigamba omwana nti, ‘Laba, obusaale buli ku luuyi eno gye ndi;’ kale n'obulonda n'ojja kubanga olwo nga waliwo emirembe gy'oli so tewali kabi, nga Mukama bw'ali omulamu.
22
Naye bwenagamba omwana nti, ‘Obusaale buli eri mu maaso, ng'odduka kubanga nga Mukama anaaba akulagidde okugenda.’
23
Ku kigambo ekyo kye twogeddeko, nze naawe, Mukama oyo, ye mujulirwa wakati wo nange ennaku zonna.”
24
Awo Dawudi ne yeekweka mu nsiko, omwezi bwe gwaboneka, kabaka n'atuula okulya ku mmere.
25
Kabaka n'atuula ku ntebe ye eriraanye ekisenge nga bulijjo, Yonasaani n'ayimirira. Abuneeri n'atuula okuliraana Sawulo, naye ng'entebe ya Dawudi njereere.
26
Naye Sawulo teyaliiko kye yayogera ku lunaku olwo; kubanga yalowooza nti, “Aliko ky'abadde, si mulongoofu; mu mazima nga si mulongoofu.”
27
Awo olwatuuka ku lunaku olwaddirira ng'omwezi gumaze okuboneka era entebe ya Dawudi n'eba njereere, Sawulo kwe kubuuza mutabani we Yonasaani nti, “Kiki ekirobedde mutabani wa Yese okujja ku mmere jjo ne leero?”
28
Yonasaani n'addamu Sawulo nti, “Dawudi yanneegayirira nnyo mukkirize agende e Besirekemu;
29
ng'ayogera nti, ‘Nkwegayiridde ndeka ŋŋende; kubanga ab'ennyumba yaffe balina okuwaayo ssaddaaka mu kyalo; ne muganda wange yandagira okubaawo. Kale nno oba nga onkwatiddwa ekisa ndeka ŋŋende ne baganda bange.’ Kyavudde alema okujja ku mmeeza ya kabaka.”
30
Awo Sawulo n'asunguwalira Yonasaani n'amugamba nti, “Ggwe omwana w'omukazi omukakanyavu omujeemu, ggwe olowooza simanyi ng'oli ku ludda lwa mutabani wa Yese okweswaza era n'okukwasa nnyoko ensonyi?”
31
“Manya nti mutabani wa Yese ng'akyali mulamu ku nsi, tolibaako w'onyweredde ggwe, wadde obwakabaka bwo. Kale kaakano mutumye omundeetere, kubanga ateekwa okufa.”
32
Yonasaani n'addamu Sawulo kitaawe n'amugamba nti, “Kiki ekimussa? Akoze ki?”
33
Sawulo n'akasuka effumu lye okumufumita; Yonasaani kwe yategeerera kitaawe ng'amaliridde okutta Dawudi.
34
Awo Yonasaani n'asituka ku mmeeza nga asunguwadde nnyo n'atalya ku mmere ku lunaku olw'okuboneka kw'omwezi kubanga yanakuwala olwa kitaawe okuwemukira Dawudi.
35
Awo olwatuuka enkya Yonasaani n'afuluma n'agenda mu nsiko mu kiseera kye yalagaana ne Dawudi, n'omulenzi omuto ng'ali naye.
36
N'agamba omulenzi we nti, “Dduka onoonye obusaale bwe ndasa.” Omulenzi ng'adduka n'alasa akasaale ne kasukka omulenzi ne kaggwa mu maaso ge.
37
Omulenzi bwe yatuuka mu kifo akasaale Yonasaani ke yalasa we kaagwa, Yonasaani n'akoowoola omulenzi nti, “Akasaale tekali eri mu maaso go?”
38
Yonasaani n'akoowoola omulenzi nti, “Dduka, yanguwa, tolwawo.” Omulenzi wa Yonasaani n'alonda obusaale, n'akomawo eri mukama we.
39
Naye omulenzi teyaliiko kye yategeera; Yonasaani ne Dawudi bokka be baamanya ekyama.
40
Yonasaani n'akwasa omulenzi oyo eby'okulwanyisa bye, n'amugamba nti, “Bitwale mu kibuga.”
41
Awo omulenzi ng'agenze Dawudi n'ava mu kifo ekyali ku luuyi olw'obukiikaddyo, n'avuunama amaaso ge ku ttaka, n'akutama emirundi esatu (3) ne banywegeragana bombi ne bakaaba nnyo amaziga, naye Dawudi yasingako okukaaba.
42
Yonasaani n'agamba Dawudi nti, “Genda mirembe kubanga tulayidde ffembi mu linnya lya Mukama nga twogera nti, ‘Mukama anaabanga wakati wange naawe era wakati w'ezzadde lyange n'ezzadde lyo, ennaku zonna.’ ” Dawudi n'asituka n'agenda ne Yonasaani n'addayo mu kibuga.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31