bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 12
1 Samuel 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 13 →
1
Awo Samwiri n'agamba Isiraeri yenna nti, “Laba; mpulidde eddoboozi lyammwe mu byonna bye mwaŋŋamba, era ntaddewo kabaka okubafuga.
2
Era, laba, kaakano kabaka atambulira mu maaso gammwe; nange ndi mukadde, mmeze n'envi; era, laba, batabani bange bali nammwe, era n'atambulira mu maaso gammwe okuva mu buto bwange ne leero.
3
Nzuuno: munnumiririze mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'oyo gwe yafukako amafuta, ani gwe nnanyagako ente ye? Oba ani gwe nnanyagako endogoyi ye? Oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? Ani gwe nnali njooze? Oba ani gwennajjako enguzi okunziba amaaso? Munnumirize nange nnabasasula.”
4
Ne baddamu nti “Totulyazaamaanyangako, totujoogangako, so tolyanga nguzi ku muntu yenna.”
5
N'abagamba nti, “Mukama ye mujulirwa gye muli n'oyo gwe yafukako amafuta ye mujulirwa leero kubanga temulabye kibi kyonna kye nali nkoze.” Ne baddamu nti, “Ye mujulirwa.”
6
Samwiri n'agamba abantu nti, “Mukama ye mujulirwa eyassaawo Musa ne Alooni era eyaggya bajjajjammwe mu nsi y'e Misiri.
7
Kale nno kaakano muyimirire buyimirizi mbalumirize era mbajjukize ebikolwa byonna eby'obutuukirivu Mukama byeyabakolera mmwe ne bajjajjammwe.
8
Yakobo bwe yali mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabira Mukama, awo Mukama n'atuma Musa ne Alooni ne baggyayo bajjajjammwe mu Misiri, Mukama n'abatuuza mu kifo kino.
9
Naye ne beerabira Mukama Katonda waabwe, n'abawaayo mu mukono gwa Sisera, omwami w'eggye lya Kazoli ne mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, ne balwana nabo.
10
Awo ne bakaabira Mukama ne boogera nti, ‘Twayonoona kubanga twaleka Mukama ne tuweereza Babaali ne Baasutaloosi; naye kaakano tulokole mu mukono gw'abalabe baffe, tulyoke tukuweereze.’
11
Awo Mukama n'atuma Yerubbaali, Bedani, Yefusa ne Samwiri, n'abalokola mu mukono gw'abalabe bammwe enjuyi zonna, ne mutuula mirembe.
12
Awo bwe mwalaba nga Nakkasi kabaka w'abaana ba Amoni ng'abatabadde, ne muŋŋamba nti, ‘Nedda, naye kabaka ye alitufuga,’ so nga Mukama Katonda wammwe ye kabaka wammwe.
13
Kale nno kaakano mulabe kabaka gwe mulonze era gwe mwasaba, Mukama amutaddewo okubafuga.
14
Bwe munaatyanga Mukama ne mumuweerezanga ne mugonderanga eddoboozi lye ne mutajeemeranga kiragiro kye ne mugobereranga Mukama Katonda wammwe, mmwe ne kabaka wammwe abafuga; kale munaabanga ne mirembe;
15
naye bwe mutaawulirenga ddoboozi lya Mukama, naye ne mujeemera ekiragiro kye, awo omukono gwa Mukama gunaalwananga nammwe nga bwe gwalwananga ne bajjajjammwe.
16
Kale nno kaakano muyimirire buyimirizi mulabe ekigambo kino ekikulu Mukama ky'anaakolera mu maaso gammwe.
17
Ekiseera kino si kye ky'amakungula g'eŋŋaano? Naye nja kusaba Mukama aweereze okubwatuka era attonyese enkuba, mulyoke mulabe era mumanye nga mwakola obubi bunene okwesabira kabaka.”
18
Awo Samwiri n'asaba Mukama; Mukama n'aweereza okubwatuka n'enkuba ku lunaku olwo; abantu bonna ne batya nnyo Mukama ne Samwiri.
19
Abantu bonna ne bagamba Samwiri nti, “Sabira abaddu bo eri Mukama Katonda wo tuleme okufa; kubanga twongedde ku bibi byaffe byonna n'ekibi kino, eky'okwesabira kabaka.”
20
Samwiri n'agamba abantu nti, “Temutya, okukola mwakola ekibi kino kyonna, naye temukyamanga obutagobereranga Mukama, naye muweerezenga Mukama n'omutima gwammwe gwonna;
21
Era temukyamanga ne mugoberera ebitaliimu nsa, ebitayinza kugasa, wadde kuwonya, kubanga tebiriimu nsa.
22
Kubanga Mukama taayabulirenga bantu be olw'erinnya lye ekkulu; kubanga yasiima mmwe okubafula eggwanga lye.
23
Naye kikafuuwe nze okusobya ku Mukama okulekayo okubasabira, n'okubayigiriza ekkubo eddungi eggolokofu.
24
Kyokka mutyenga Mukama mumuweererezenga mu mazima n'omutima gwammwe gwonna; kubanga mulowooze ebigambo bye yabakolera bwe byenkana obukulu.
25
Naye bwe muneeyongeranga okukola ebibi, mulizikirira mmwe era ne kabaka wammwe.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31