bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 5
1 Samuel 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 6 →
1
Abafirisuuti bwe banyaga essanduuko ya Katonda, ne bagiggya Ebenezeri ne bagitwala e Asudodi.
2
Abafirisuuti ne baddira essanduuko ya Katonda ne bagitwala mu ssabo lya Dagoni ne bagiteeka ku mabbali ga Dagoni.
3
Abasudodi bwe baagolokoka enkya ku makya, laba, nga Dagoni agudde wansi nga yevunise mu maaso g'essanduuko ya Mukama ne bamusitula ne bamuzza mu kifo kye.
4
Awo ku lunaku olwokubiri bwe bagolokoka ku makya era ne basanga nga Dagoni agudde wansi nga yevunise mu maaso g'essanduuko ya Mukama; omutwe gwa Dagoni ne bibatu byombi eby'emikono gye nga bikutuseeko nga bigudde ku mulyango; nga ekiwuduwudu kya Dagoni kye kiri awo kyokka.
5
Bakabona ba Dagoni ne bonna abaayingira mu Ssabo lye, kyebaava balema okulinnya mu mulyango gwe mu Asudodi n'okutuusa kati.
6
Naye omukono gwa Mukama ne guzitoowerera nnyo Abasudodi, n'ebitundu ebiriraanyeewo. N'ababonereza n'abalwaza ebizimba.
7
Awo Abasudodi bwe baalaba ebibatuuseko, ne boogera nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isiraeri tejja kubeera mu ffe, kubanga atubonerezza nnyo ffe wamu ne Katonda waffe Dagoni.”
8
Kyebaava batuma ababaka okukuŋŋaanya abaami bonna ab'Abafirisuuti ne babuuza nti, “Tukole tutya essanduuko ya Katonda wa Isiraeri?” Ne baddamu nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isiraeri eweerezebwe e Gaasi.” Awo ne baweereza essanduuko ya Katonda wa Isiraeri.
9
Awo olwatuuka bwe bagittusaayo, Mukama n'abonereza n'ab'omukibuga ekyo ne batya nnyo n'abalwaza ebizimba ebyafutuuka ku bonna abato n'abakulu.
10
Nabano ne baweereza essanduuko ya Katonda e Ekuloni. Awo olwatuuka, essanduuko ya Katonda bwe yamala okutuuka e Ekuloni, Abaekuloni bonna ne balekana nti, “Batuletedde essanduuko ya Katonda wa Isiraeri okututta ffenna.”
11
Awo ne batuma ne bakuŋŋaanya abaami bonna ab'Abafirisuuti ne bagamba nti, “Muzzeeyo essanduuko ya Katonda wa Isiraeri gy'ebeera ereme okututta ffenna;” kubanga entiisa y'okufa yabuna ekibuga kyonna; olw'okubonerezebwa okungi okwali kubatuuseko.
12
N'abo abataafa ne balwala ebizimba, okukaaba kw'ekibuga ne kulinnya mu ggulu.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31