bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 6
1 Samuel 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 7 →
1
Essanduuko ya Mukama yamala emyezi musanvu (7) ng'eri mu nsi ey'Abafirisuuti.
2
Awo Abafirisuuti ne bayita bakabona n'abalaguzi, ne babuuza nti, “Tukole tutya essanduuko ya Mukama? Mututegeeze tunagiweereza naki okugizaayo mu kifo kyayo.”
3
Ne babaddamu nti, “Bwe munaaba muweerezaayo essanduuko ya Katonda wa Isiraeri, temujja kugiweerezaayo yokka. Mujja kumuweererezaako ekiweebwayo olw'omusango, lwe munaawona, era ne mutegeera ensonga Mukama kw'abadde asinziira okubabonereza.”
4
Ne babuuza nti, “Kiki kyetunaweereza olw'omusango?” Ne baddamu nti, “Munaweererezaako ebibumbe ebya zaabu bitaano (5), ebibumbiddwa ng'ebizimba, n'ebibumbe ebya zaabu ebirala bitaano (5) ebibumbiddwa ng'emmese, ng'omuwendo gwa buli kika kya bibumbe gwenkana n'omuwendo gw'abaami b'Abafirisuuti kubanga ekibonerezo kyali ku mmwe mwenna ne ku baami bammwe.
5
Muteekwa okukola ebibumbe by'ebizimba byammwe n'ebibumbe bye mmese zammwe ezoonoona ensi; era muteekwa okuwa ekitiibwa Katonda wa Isiraeri, oboolyawo anaabaggyako okubonerezebwa; mmwe ne ku bakatonda bammwe ne ku nsi yammwe.
6
Kale mukakanyaliza ki emitima gyammwe, nga Abamisiri ne Falaawo bwe baakakanyaza emitima gyabwe? Bwe yamala okubabonereza teebaleka bantu kugenda ne bagenda?
7
Kale nno kaakano muddire ekigaali ekimpya mukiteeketeeke, mukisibeeko ente bbiri (2) ezikamwa ezitasibwangako kikoligo, muzigyeko ennyana zaazo muzizeeyo eka,
8
muddire essanduuko ya Mukama, mugiteeke ku kigaali; muteeke ebintu ebya zaabu, bye mumuweereza okuba ekiweebwayo olw'omusango, mu ssanduuko endala ku mabbali gaayo; mugisindike egende.
9
Mutunule bweneyambukira mu kkubo eriraga e Besusemesi mu nsi yaayo gye beera, awo munategeera nga Katonda wa Isiraeri yeyatubonereza. Naye bwe kitaabe bwe kityo, munategeera nti ebibonerezo ebyatutukako; byatugwira bugwizi.”
10
Abasajja ne bakola bwe batyo; ne baddira ente bbiri (2) ezikamwa, ne bazisiba ku kigaali, ne bazzayo ennyana zaazo eka.
11
Awo ne bateeka essanduuko ya Mukama ku kigaali, ne ssanduuko endala erimu ebibumbe ebya zaabu ebifaanana emmese n'ebyo ebifaanana ebizimba byabwe.
12
Awo ente ne zikwata ekkubo eggolokofu eridda e Besusemesi; zaayita mu luguudo, nga zikaaba nga zigenda, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono; abaami b'Abafirisuuti ne bazigoberera okutuusa ku nsalo ey'e Besusemesi.
13
N'Ababesusemesi baali nga bakungula eŋŋaano yaabwe mu kiwonvu, ne bayimusa amaaso gaabwe ne balaba essanduuko ne basanyuka okugiraba.
14
Ekigaali n'ekituuka mu nnimiro ya Yoswa Omubesusemesi n'eyimirira eyo, awaali ejjinja eddene; ne baasa emiti gy'ekigaali, ne bawaayo ente ezo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
15
Awo Abaleevi ne bassa essanduuko ya Mukama n'essanduuko endala eyali nayo omwali ebintu ebya zaabu, ne babiteeka ku jjinja eryo eddene; Ababesusemesi ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ne basala ssaddaaka ku lunaku olwo eri Mukama.
16
N'abaami abataano (5), ab'Abafirisuuti bwe baakiraba, ne baddayo e Ekuloni ku lunaku olwo.
17
Ebibumbe ebya zaabu ebifaanana ebizimba, Abafirisuuti bye baaweereza Mukama okuba ekiweebwayo olw'omusango bye bino; ekya Asudodi kimu, ekya Gaza kimu, ekya Asukulooni kimu, ekya Gaasi kimu, ekya Ekuloni kimu;
18
Era ne baweereza n'ebibumbe ebya zaabu ebifaanana ng'emmese, ebyenkana obungi bw'ebibuga byonna ebyafugibwanga abaami b'Abafirisuuti abataano (5), ebyali byetooloddwa ebigo, n'ebyalo ebitaaliko bigo. Ejjinja eddene kwe baateeka Ssanduuko ya Mukama mu nnimiro ya Yoswa Omubesusemesi, likyaliwo ne leero okukakasa ebyo ebyaliwo.
19
Awo Mukama n'atta ku Babesusemesi abantu nsanvu (70), kubanga balingiza mu ssanduuko ya Mukama; abantu ne banakuwala kubanga Mukama yabatta mu abantu bangi nnyo.
20
Ababesusemesi ne boogera nti, “Ani ayinza okuyimirira mu maaso ga Mukama, Katonda ono omutukuvu? Era anaagenda waani nga atuvuddeko?”
21
Ne batumira abo abaatuula mu Kiriyasuyalimu ababaka, nga boogera nti, “Abafirisuuti bakomezzaawo essanduuko ya Mukama; mujje mmwe mugiddukire ebeere gye muli.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31