bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 4
1 Samuel 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 5 →
1
Ekigambo kya Samwiri ne kijja eri Isiraeri yenna. Awo Abaisiraeri ne basituka okulwana n'Abafirisuuti ne basiisira okumpi ne Ebenezeri naye Abafirisuuti ne basiisira mu Afeki.
2
Abafirisuuti ne balumba Abaisiraeri, bwe basisinkana Abafirisuuti ne bakuba Abaisiraeri ne babattamu abasajja ng'enkumi nnya (4,000).
3
Awo abantu bwe baddayo mu lusiisira, abakadde ba Isiraeri ne beebuuza nti, “Lwaki leero Mukama akkirizza Abafirisuuti okutuwangula? Tukime essanduuko ey'endagaano ya Mukama tugiggye e Siiro tugireete wano etulokole mu mikono gy'abalabe baffe.”
4
Awo abantu ne batuma e Siiro, ne baggyayo essanduuko ey'endagaano eya Mukama ow'eggye, atuula mu bakerubi; ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi baali eyo awali essanduuko ey'endagaano ya Katonda.
5
Awo essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe yatuuka mu lusiisira, Abaisiraeri bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'okuwuuma ensi n'ewuumira ddala.
6
Awo Abafirisuuti bwe baawulira oluyoogaano mu lusiisira lw'Abaebbulaniya ne bagamba nti, “Oluyoogaano olwo lutegeeza ki?” Nebategeera nti essanduuko ya Mukama etuuse mu lusiisira.
7
Awo Abafirisuuti ne batya ne bagamba nti, “Katonda atuuse mu lusiisira lwabwe.” Ne bagamba nti, “‘Zitusanze! kubanga ekyo ekigambo ekifaanana bwe kityo tekibangawo.’”
8
“ ‘Zitusanze! ani anaatulokola mu mukono ogw'abakatonda abo ab'amaanyi abaabonyaabonya Abamisiri mu ddungu n'ebibonyoobonyo ebya buli ngeri.’”
9
Awo Abafirisuuti ne bagambagana nti, “Muddemu amaanyi, mulwane masajja muleme okuba abaddu b'Abaebbulaniya nga bo bwe baabanga abammwe. Mugume mulwane masajja.”
10
Awo Abafirisuuti ne balwana ne bakuba Abaisiraeri, Abaisiraeri ne baddukira buli muntu mu weema ye. Abantu bangi ne battibwa Abaisiraeri ne baffaamu abasserikale abatambula n'ebigere emitwalo esatu (30,000).
11
Essanduuko ya Mukama n'enyagibwa ne batabani ba Eri bombi Kofuni ne Finekaasi ne battibwa.
12
Awo omusajja ow'omu kika kya Benyamini n'ava mu ddwaniro ku lunaku olwo, n'adduka n'atuuka e Siiro nga ayuzizza engoye ze nga yeesiize n'ettaka ku mutwe okulaga obunakuwavu.
13
Awo bwe yatuuka, Eri yali ng'atudde ku ntebe ye ku mabbali g'ekkubo ng'alindirira, kubanga yali nga yeeraliikirira olw'essanduuko ya Katonda. Awo omusajja bwe yatuuka mu kibuga, naawa abantu amawulire, ekibuga kyonna ne kireekaanira waggulu.
14
Awo Eri bwe yawulira oluyoogaano, n'abuuza nti, “Oluyoogaano olwo lutegeeza ki?” Omusajja n'ayanguwa n'amubuulira.
15
Eri yali awezezza emyaka kyenda mu munaana (98), n'amaaso ge gaali gayimbadde, nga takyayinza kulaba.
16
Omusajja n'agamba Eri nti, “Nze nvudde mu ddwaniro.” Eri n'amubuuza nti, “Bibadde bitya, mwana wange?”
17
Awo eyaleeta amawulire n'addamu nti, “Abaisiraeri bawanguddwa Abafirisuuti. Era abantu bangi nnyo abattiddwa, ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi bafudde, ne ssanduuko ya Katonda enyagiddwa.”
18
Awo olwatuuka, bwe yayogera ku ssanduuko ya Katonda, Eri n'awanuka ku ntebe ye n'agwa bugazi kumpi n'omulyango, ensingo ye ne kutukako n'afa; kubanga yali mukadde nnyo ate nga muzito. Era yali alamulidde Isiraeri emyaka ana (40).
19
Awo mukaamwana wa Eri, muka Finekaasi, yali lubuto lukulu ng'anaatera okuzaala. Bwe yawulira nti essanduuko ya Katonda enyagiddwa, era nga ssezaala we ne bba bafudde, najjirwa okulumwa okuzaala n'afukamira n'azaala.
20
Bwe yali ng'anaatera okufa, abakyala abaali bamulabirira ne bamugamba nti, “Totya, kubanga ozadde omwana wa bulenzi.” Kyokka ye teyabaddamu era teyafaayo.
21
N'atuuma omwana erinnya Ikabodi ng'ayogera nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri kubanga essanduuko ya Katonda enyagiddwa, ne ssezaala we ne bba bafudde.”
22
Awo n'agamba nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri; kubanga essanduuko ya Katonda enyagiddwa.”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31