bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 25
1 Samuel 25
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 26 →
1
Awo Samwiri n'afa; Abaisiraeri bonna ne bakuŋŋaana ne bamukaabira, ne bamuziika mu nnyumba ye e Laama. Dawudi n'asituka n'aserengeta mu ddungu lya Palani.
2
Awo yaliyo omusajja e Mawoni nga eby'obugagga bwe biri e Kalumeeri; omusajja oyo yali mugagga nnyo, yalina endiga enkumi ssatu (3,000) n'embuzi lukumi (1,000), yali ng'asala ebyoya by'endiga ze e Kalumeeri.
3
Erinnya ly'omusajja oyo nga ye Nabali; n'erya mukazi we nga ye Abbigayiri, Omukazi yali mutegeevu era nga mulungi mu ndabika ye. Naye bba, eyali ow'omu nnyumba ya Kalebu ye yali wa kkabyo, era nga mubi mu bikolwa bye.
4
Awo Dawudi bwe yali mu ddungu n'awulira nga Nabali yali asala ebyoya by'endiga ze.
5
Awo Dawudi n'atuma abalenzi kkumi (10), n'abagamba nti, “Mugende e Kalumeeri eri Nabali mumunnamusize,
6
era mukumulamusa mumuŋŋambire nti, ‘Emirembe gibeere gy'oli, ne ku nnyumba yo, era ne ku byonna by'olina.
7
Mpulidde ng'olina abasala ebyoya by'endiga; abasumba bo balinga naffe era tetwabakola kabi konna, so tewaali yabulwako kintu kyonna, ebiseera byonna bye bamala e Kalumeeri.
8
Buuza abalenzi bo, banaakubuulira, kale abalenzi bange balabe ekisa mu maaso go; kubanga tujjidde ku lunaku olw'embaga; waayo nkwegayiridde waayo kyonna kyonoosobola eri abaddu bo n'eri mutabani wo Dawudi.’ ”
9
Awo abalenzi ba Dawudi bwe batuuka ne bategeeza Nabali ebigambo byonna Dawudi byeyabatuma, ne basirika.
10
Awo Nabali n'addamu abaddu ba Dawudi ng'agamba nti, “Dawudi ye ani? Ne mutabani wa Yese ye ani? Mu biro bino waliwo abaddu bangi abajeemera bakama babwe.
11
Kale nno ntole emigaati gyange n'amazzi gange n'ennyama yange gye nzitidde abasajja bange abasala ebyoya, mbiwe abasajja be ssimanyiiko gye bavudde?”
12
Awo abalenzi ba Dawudi ne bakyuka ne bakwata ekkubo ne baddayo ne bamubuulira ebigambo ebyo byonna nga bwe bibadde.
13
Awo Dawudi n'agamba abasajja be nti Mwesibe buli muntu ekitala kye. Ne beesiba buli muntu ekitala kye; ne Dawudi naye ne yeesiba ekitala kye: ne wayambuka okugoberera Dawudi abasajja nga bina (400) ne bagoberera Dawudi; ebibiri (200) ne basigala ku bintu.
14
Naye omu ku balenzi n'abuulira Abbigayiri mukazi wa Nabali ng'ayogera nti, “Laba, Dawudi yatuma ababaka ng'ayima mu ddungu okulamusa mukama waffe; naye ye n'abavuma.
15
Naye abasajja abo baatukolanga bulungi nnyo, so tetukolwanga bubi, so tetubulwanga kintu kyonna ebbanga lyonna lye twabeera nabo mu nsiko;
16
baabanga bbugwe gyetuli emisana n'ekiro ekiseera kyonna kye twamala nabo nga tulunda endiga.
17
Kale nno kaakano tegeera, olowooze ky'onookola; kubanga abantu bali bamaliridde okukola mukama waffe ne nnyumba ye yonna akabi, kubanga omuntu owe kkabyo bwatyo nga mukama waffe, tayinza kuwuliriza muntu yenna.”
18
Awo Abbigayiri n'alyoka ayanguwa n'addira emigaati bibiri (200), n'ensawo bbiri (2), ez'amaliba ez'omwenge n'endiga ttaano (5) enfumbire ddala, n'ebigero bitaano (5), eby'eŋŋaano ensiike, n'ebirimba kikumi (100) eby'ezabbibu enkalu, n'ebitole bibiri (200) eby'ettiini, n'abitikka endogoyi.
19
Abbigayiri n'agamba abalenzi be nti, “Munkulembere mugende; nange kambagoberere.” Naye n'atabuulirako bba Nabali.
20
Awo Abbigayiri bwe yali nga yeebagadde endogoyi, aserengeta ng'aweta ku nsonda y'olusozi, amangwago Dawudi ne basajja be ne baserengeta okumwolekera, n'asisinkana nabo.
21
Era Dawudi yali ayogedde nti, “Mazima nnakuumira bwereere ebintu byonna olusajja luno bye lulina mu ddungu, ne watabula kintu kyonna, kyokka kati mu bulungi lunsasuddemu obubi.
22
Nze Dawudi, Mukama ambonereze n'obukambwe, singa we bunaakeerera, nnaaba ndeseewo omusajja, wadde omwana ow'obulenzi mu bantu be bonna b'alina.”
23
Awo Abbigayiri bwe yalaba Dawudi, n'ayanguwa n'ava ku ndogoyi ye n'avuunama mu maaso ga Dawudi, n'akutama okutukira ddala ku ttaka.
24
N'agwa ku bigere bye n'ayogera nti, “Obutali butuukirivu obwo bubeere ku nze, kkiriza muzaana wo ayogere gyoli, nkwegayiridde owulirize ebigambo by'omuzaana wo.
25
Nkwegayiridde mukama wange, tofa ku Nabali omuntu omubi, kubanga ng'erinnya lye bwe liri, naye bw'ali. Nga bw'ayitibwa Nabali, era ddala musiru. Naye nze omuweereza wo, saalaba balenzi ggwe mukama wange be watuma.
26
Kale nno kaakano, mukama wange, nga Mukama bw'ali omulamu naawe nga bw'oli omulamu, kubanga Mukama akuziyizza okuyiwa omusaayi olwo kuwoolera eggwanga, kale nno abalabe bo n'abo abagala okukolako akabi mukama wange babonerezebwe nga Nabali.
27
Kale nno ekirabo kino omuzaana wo ky'akuleetedde kiweebwe abalenzi abakugoberera mukama wange.
28
Nkwegayiridde, sonyiwa ekyonoono ky'omuzaana wo; kubanga Mukama talirema kukolera nnyumba ey'enkalakkalira, kubanga Mukama wange alwana entalo za Mukama; so n'akabi tekalirabika ku ggwe ennaku zo zonna.
29
Era singa abantu bagolokoka okukuyigganya n'okwagala okukutta, obulamu bwa mukama wange bulisibirwa mu muganda gw'obulamu wamu ne Mukama Katonda wo; era obulamu bw'abalabe bo alibukasuka wala ng'envuumuulo bwe kasuka amayinja.
30
Awo olulituuka Mukama bw'aliba ng'atuukiriza byonna ebirungi byeyayogera ku mukama wange, era nga akutaddewo okuba omukulu wa Isiraeri;
31
kale mukama wange, tolibaako kikweraliikiriza wadde kikulumya mwoyo, olw'okuyiwa omusaayi awatali nsonga, oba mukama wange, olw'okuwoolera eggwanga. Era mukama wange, Mukama bw'aliba ng'akuwadde omukisa, kale onzijukiranga nze omuzaana wo.”
32
Era Dawudi n'agamba Abbigayiri nti, “Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, akutumye leero okusisinkana nange;
33
era gatenderezebwe n'amagezi go, naawe otenderezebwe anziyiza leero okuyiwa omusaayi n'obuteewalanira ggwanga n'omukono gwange.
34
Kubanga mazima ddala, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bw'ali omulamu, anziyizza okukola obubi, singa toyanguye n'ojja okusisinkana nange webwandikeredde wandibadde tewasigadde musajja wadde omwana ow'obulenzi mu bantu ba Nabali.”
35
Awo Dawudi n'akkiriza Abbigayiri by'amuleetedde, n'amugamba nti, “Ddayo mirembe mu nnyumba yo. Mpulidde by'oŋŋambye, era mbikkirizza.”
36
Awo Abbigayiri n'addayo eri Nabali; Nabali yali afumbye embaga mu nnyumba ye, eyali nga eya kabaka. Yali ng'atamidde nnyo era nga musanyufu, Abbigayiri kyeyava tabaako ky'amubuulira okutuusa enkeera.
37
Awo olwatuuka enkya, Nabali omwenge bwe gwali gumuweddeko, Abbigayiri n'amubuulira ebigambo byonna, omutima gwe ne gutyemuka munda ye n'akalambala ng'ejjinja.
38
Ennaku nga ziyiseewo nga kkumi (10), Mukama n'akuba Nabali; Nabali n'afa
39
Dawudi bwe yawulira nga Nabali afudde, n'agamba nti, “Mukama atenderezebwe, awooledde eggwanga ku Nabali eyanvuma, era aziyizza nze omuweereza we okukola ekibi. Mukama abonerezza Nabali olw'ekibi kye.” Awo Dawudi n'atumira Abbigayiri ng'amusaba amuwase.
40
Awo abaddu ba Dawudi bwe baatuuka eri Abbigayiri e Kalumeeri, ne bamugamba nti, “Dawudi yatutumye gy'oli ng'ayagala okukuwasa.”
41
Awo Abbigayiri n'asituka n'avuunama ku ttaka, n'agamba nti, “Nzuuno omuzaana wo, nneetegese okunaazanga ebigere by'abaweereza ba mukama wange.”
42
Awo Abbigayiri n'ayanguwa n'asituka ne yeebagala endogoyi wamu ne bawala be bataano (5) abaamuweerezanga; n'agoberera ababaka Dawudi be yatuma, n'aba mukazi we.
43
Dawudi n'awasa ne Akinoamu ow'e Yezuleeri; bombi ne baba bakazi be.
44
Sawulo yali agabye muwala we Mikali, eyali muka Dawudi, ng'amuwadde Paluti mutabani wa Layisi, ow'e Galimu.
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31