bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 28
1 Samuel 28
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 29 →
1
Awo olwatuuka mu nnaku ezo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanya eggye lyabwe okulwana ne Isiraeri. Akisi n'agamba Dawudi nti, “Tegeerera ddala ggwe ne basajja nti munagenda nange mu lutalo.”
2
Dawudi n'agamba Akisi nti, “Onootegeerera ddala omuddu wo kyanaakola.” Akisi n'agamba Dawudi nti, “Kyennava nkufuula omukuumi wange ennaku zonna.”
3
Awo Samwiri yali afudde, ne Isiraeri yenna baali bamukaabidde, ne bamuziika mu Laama, mu kibuga kye ye. Era Sawulo yali agobye mu nsi ye abo bonna abaaliko emizimu n'abalaguzi.
4
Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaana ne bajja ne basiisira e Sunemu; ne Sawulo n'akuŋŋaanya Isiraeri yonna ne basiisira ku Girubowa.
5
Awo Sawulo bwe yalaba eggye ly'Abafirisuuti, n'atya, omwoyo gwe ne gukankana nnyo.
6
Awo Sawulo bwe yabuuza Mukama, Mukama n'atamwanukula newakubadde mu birooto newakubadde mu Ulimu newakubadde mu bannabbi.
7
Awo Sawulo n'alyoka agamba abaddu be nti, “Munnoonyeze omukazi aliko omuzimu ŋŋende gy'ali mubuuze.” Abaddu be ne bamugamba nti, “Laba, waliwo omukazi aliko omuzimu e Endoli.”
8
Sawulo ne yeefuula n'ayambala ebyambalo ebirala n'agenda wamu ne basajja babiri, eri omukazi oyo ekiro. Sawulo n'amugamba nti, “Nkwegayiridde ndagula nga weebuuza ku mizimu era onyimusize omuzimu gw'omuntu oyo gwe n'ayogera erinnya.”
9
Awo omukazi n'amugamba nti, “Laba, omanyi Sawulo bye yakola, bwe yazikiriza mu nsi abo abaliko emizimu n'abalaguzi; lwaki ontega ekyambika okunzisa?”
10
Sawulo n'alayirira Mukama ng'ayogera nti, “Nga Mukama bw'ali omulamu, tewali kabi konna kaalikutukako olw'ekigambo kino.”
11
Awo omukazi n'amugamba nti, “Oyagala nkuyimusiize ani?” Sawulo n'amugamba nti, “Nyimusizza Samwiri.”
12
Awo omukazi bwe yalaba Samwiri, n'akaaba n'eddoboozi ddene; omukazi n'agamba Sawulo nti, “Onnimbidde ki? Kubanga ggwe Sawulo.”
13
Kabaka n'amugamba nti, “Totya; naye olaba ki?” Omukazi n'agamba Sawulo nti, “Ndaba katonda ng'ava mu ttaka ng'ayambuka.”
14
Sawulo n'amubuuza nti, “Afaanana atya?” Omukazi n'addamu nti, “Omukadde ayambuka era nga yeesulidde omunagiro.” Sawulo n'ategeera nga ye Samwiri, n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza.
15
Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Lwaki ongolokosezza okuva emagombe?” Sawulo n'addamu nti, “ Nneeraliikiridde nnyo; kubanga Abafirisuuti balwana nange, era Katonda anvuddeko, so takyannyanukula newakubadde mu bannabbi newakubadde mu birooto; kyenvudde nkuyita ontegeeze bwe mba nkola.”
16
Awo Samwiri n'ayogera nti, “Ombuuliza ki nze nno, nga Mukama ng'akuvuddeko era ng'afuuse mulabe wo?
17
Mukama akoze kye yakugamba ng'ayita mu nze; okukuggyako obwakabaka bwo nabuuwa muliraanwa wo Dawudi.
18
Kubanga tewagondera ddoboozi lya Mukama n'ototuukiriza kiruyi kye ekingi ku Amaleki, Mukama kyavudde akukola ekigambo kino leero.
19
Era nate Mukama anaagabula Isiraeri wamu naawe mu mukono gw'Abafirisuuti; era enkya ggwe ne batabani bo banaaba nange. Mukama anaagabula n'eggye lya Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti.”
20
Awo Sawulo n'alyoka agwa ku ttaka ng'alambadde, n'atya nnyo, olw'ebigambo bya Samwiri; naggweeramu ddala amaanyi kubanga yali talina kyalidde ku lunnaku olwo emisana n'ekiro.
21
Omukazi n'asembera awali Sawulo, n'alaba nga Sawulo atidde nnyo. N'amugamba nti, “Nze omuzaana wo, nnawulidde ky'oŋŋamba ne nneewaayo, ne nkukolera kye wansabye.
22
Kale kaakano nkwegayiridde, naawe okole kye nkusaba. Kkiriza era nteeke akamere mu maaso go, olye lw'onoofuna amaanyi ag'okutambula ogende.”
23
Sawulo n'addamu nti, “Sijja kulya.” Naye abaddu be awamu n'omukazi ne bamuwaliriza; n'awulira eddoboozi lyabwe. Awo n'agolokoka okuva wansi n'atuula ku kitanda.
24
Era omukazi yalina ennyana eya ssava mu nnyumba; n'ayanguwa n'agitta; n'addira obutta n'abugoya n'abwokya okuba omugaati ogutazimbulukuswa,
25
n'aguleeta mu maaso ga Sawulo ne mu maaso g'abaddu be; ne balya. Awo ne basituka ne baddayo ekiro ekyo.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31