bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 30
1 Samuel 30
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 31 →
1
Awo olwatuuka, Dawudi n'abasajja be bwe baatuuka e Zikulagi ku lunaku olwokusatu, Abamaleki baali bamaze okukwekweta obukiikaddyo ne Zikulagi, era nga bamaze okuwangula Zikulagi n'okukyokya omuliro;
2
era nga banyaze abakazi ne bonna abaali omwo, abato era n'abakulu; tebatta n'omu, naye baabanyaga ne babatwala ne bagenda.
3
Awo Dawudi n'abasajja be bwe baatuuka ku kibuga, laba nga bakyokezza omuliro; ne bakazi baabwe ne batabani baabwe ne bawala baabwe nga babanyaze.
4
Awo Dawudi n'abantu abaali naye ne balyoka bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba amaziga okutuusa lwe baggwaamu endasi ezikaaba.
5
Ne bakazi ba Dawudi bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri, baali babanyaze.
6
Dawudi n'anakuwala nnyo; kubanga abantu baayogera ku kumukasuukirira amayinja, kubanga abantu bonna omwoyo gwabaluma, buli muntu ng'alumirwa batabani be ne bawala be, naye Dawudi ne yeenywereza mu Mukama Katonda we.
7
Awo Dawudi n'agamba Abiyasaali kabona, mutabani wa Akimereki, nti, “Nkwegayiridde ndeetera wano ekkanzu ey'obwakabona.” Abiyasaali n'aleetera Dawudi ekkanzu ey'obwakabona.
8
Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti, “Bwe nnaagoberera ekibiina kino, ndibatuukako?” N'amuddamu nti, “Goberera; kubanga tolirema kubatuukako, era tolirema kubibasuuza byonna.”
9
Naye Dawudi n'agenda n'abasajja be olukaaga (600), bwe batuuka ku kagga Besoli, abamu ne basigala awo.
10
Naye Dawudi ne basajja be bina (400) ne beyongerayo; kubanga abalala ebibiri (200) baali baakoye nnyo, ne batasobola nakusomoka kagga Besoli.
11
Abasajja abaali ne Dawudi ne basanga Omumisiri mu ttale, ne bamuleeta eri Dawudi. Ne bawa Omumisiri oyo emmere n'alya, era ne bamuwa amazzi n'anywa.
12
Ne bamuwa n'ekitole ky'ettiini n'ebirimba by'ezabbibu ebikalu bibiri (2). Bwe yamala okulya, n'afuna amaanyi, kubanga yali amaze ennaku ssatu (3) nga talya, era nga tanywa, emisana n'ekiro.
13
Awo Dawudi n'abuuza Omulenzi nti, “Oli musajja w'ani? Era ova wa?” N'addamu nti, “Ndi mulenzi eyava e Misiri, omuddu w'Omwamaleki; mukama wange yansuula ennaku ssatu (3) eziyise kubanga nali mulwadde.
14
Twakwekweta obukiikaddyo obw'Abakeresi n'ensi ya Yuda n'obukiikaddyo obwa Kalebu; ne twokya ne Zikulagi omuliro.”
15
Dawudi n'amugamba nti, “Oyinza okuntwala eri ekibiina kino?” N'amuddamu nti, “Ndayirira Katonda nga tolinzita era tolimpaayo mu mikono gya mukama wange, ndyoke nkutwale eri ekibiina kino.”
16
Awo bwe yamutusaayo, ne babasanga nga beesuddesudde mu kifo kyonna, nga balya, nga banywa, nga basanyuka olw'omunyago omunene gwe baggya mu nsi ey'Abafirisuuti ne mu nsi ya Yuda.
17
Awo nga buwungeera, Dawudi n'abalumba, n'abalwanyisa okutuusa akawungeezi ak'olunaku olwaddirira. Era ku bo ne watabaawo n'omu awonawo, okuggyako abavubuka bina (400), abeebagala eŋŋamira ne badduka.
18
Dawudi n'asuuza byonna Abamaleki bye baali banyaze; Dawudi n'awonya bakazi be bombi.
19
Ne watabulawo kintu kyonna Abamaleki bye baali banyaze, oba kitono oba kinene, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'omunyago gwonna; Dawudi n'akomyawo byonna.
20
Dawudi n'atwala endiga n'ente zonna, ze baagoba okukulembera ensolo ezo endala, n'ayogera nti, “Guno gwe munyago gwa Dawudi.”
21
Awo Dawudi n'agenda eri abasajja ebibiri (200), abaali bakooye ennyo ne batayinza kugenda naye era abaasigala ku kagga Besoli. Ne bavaayo okusisinkana Dawudi n'abantu abaali naye. Dawudi bwe yabatuukako, n'abalamusa.
22
Awo abantu bonna ababi n'abatalimu nsa, mwabo abagenda ne Dawudi, ne bagamba nti, “Tetujja kubawa ku munyago gwetusuzizza kubanga tebagenda naffe; wabula buli muntu tumuddize mukazi we n'abaana be bagende.”
23
Awo Dawudi n'ayogera nti, “Baganda bange, si bwe mugenda okukola ku ebyo Mukama by'atuwadde, atuwonyezza n'agabula mu mukono gwaffe ekibiina ekyatutabaala.
24
Era tewali ajja kuwuliriza bye mugamba. Eyasigala ng'akuuma ebintu, n'oyo eyagenda ku lutalo, bateekwa okufuna omugabo gwe gumu, bajja kugabana kyenkanyi.”
25
Okuva ku lunaku olwo, eryo nerifuuka etteeka n'empisa mu Isiraeri ne leero.
26
Awo Dawudi bwe yatuuka e Zikulagi, n'aweereza abakadde ba Yuda, mikwano gye, ku munyago ng'agamba nti, “Kino ekirabo kye mbaweerezza, kivudde ku munyango gwe twaggya ku balabe ba Mukama.”
27
N'aweereza ab'e Beseri, n'ab'e Lamosi eky'omu bukiikaddyo, n'ab'e Yattiri,
28
n'ab'e Aloweri, n'ab'e Sifumosi, n'ab'e Esutemoa,
29
n'ab'e Lakali, n'ab'omu bibuga by'Abayerameeri, n'ab'omu bibuga by'Abakeeni,
30
n'ab'e Koluma, n'ab'e Kolasani, n'ab'e Asaki,
31
n'ab'e Kebbulooni, ne mu bifo byonna Dawudi ne basajja be bye baatambulatambulangamu.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31