bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Samuel 13
1 Samuel 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 14 →
1
Sawulo yali awezezza emyaka asatu (30), bwe yatandika okufuga; n'afugira Isiraeri emyaka ebiri (2).
2
Sawulo ne yeerondera abasajja ba Isiraeri enkumi ssatu (3,000), enkumi ebbiri (2,000) ne babeeranga naye e Mikumasi ne ku lusozi e Beseri, ate olukumi (1,000) ne baabeeranga ne Yonasaani e Gibea ekya Benyamini; abantu abalala bonna n'abasiibula okuddayo ewaabwe.
3
Yonasaani n'akuba ekigo eky'Abafirisuuti ekyali e Geba, Abafirisuuti ne bakiwulira. Sawulo n'afuuwa ekkondeere okubuna ensi yonna, ng'ayogera nti, “Abaebbulaniya bawulire.”
4
Isiraeri yenna ne bawulira nga boogera nga Sawulo akubye ekigo eky'Abafirisuuti era nga Isiraeri Abafirisuuti bamutamiddwa. Abantu ne bakuŋŋaanira e Girugaali okugoberera Sawulo.
5
Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okulwana ne Isiraeri nga balina amagaali emitwalo esatu (30,000), n'abasajja abeebagala embalaasi kakaaga (6,000), n'abantu abaali abangi ng'omusenyu gw'oku ttale lye nnyanja; ne bambuka ne basiisira e Mikumasi, ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Besaveni.
6
Abaisiraeri bwe baalaba nga bali mu kabi, era ng'eggye lyabwe lifumbiikiriziddwa, ne beekweka mu mpuku, ne mu bisaka, ne mu mpampagama z'enjazi ne mu bunnya.
7
Era abamu ku Baebbulaniya baali basomose Yoludaani ne bagenda mu nsi ya Gaadi ne Gireyaadi, naye Sawulo yali ng'akyali e Girugaali, abantu bonna ne bamugoberera nga bakankana.
8
Sawulo nnamala ennaku musanvu e Girugaali nga alinda Samwiri nga bwe yali amugambye, naye Samwiri nnaatajja; abantu ne basaasaana nga bamuvaako.
9
Sawulo n'agamba nti, “Mundeetere wano ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe.” N'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa.
10
Awo olwatuuka nga kyajje amale okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, laba Samwiri n'ajja; Sawulo n'afuluma okumusisinkana amulamuse.
11
Samwiri n'agamba nti, “Okoze ki?” Sawulo n'addamu nti, “Nnalabye ng'abantu basaasaana nga banvaako, ate nga naawe tojjidde mu nnaku ze wagamba, n'Abafirisuuti nga bakuŋŋaanidde e Mikumasi;
12
ne ŋŋamba nti, ‘Abafirisuuti bagenda kuserengeta bannumbe wano e Girugaali, ate nga sinnaba kwegayirira Mukama kunkwatirwa kisa.’ Kyennavudde nneewaliriza n'empaayo ekiweebwayo ekyokebwa.”
13
Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Wakoze kya busirusiru, tokutte kiragiro kya Mukama Katonda wo kye yakulagira; kubanga kaakano Mukama yandinywezezza obwakabaka bwo ku Isiraeri ennaku zonna.
14
Naye kaakano obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera; Mukama yeenoonyerezza omusajja alina omutima ogulinga ogugwe, era Mukama amutaddewo okuba omukulu w'abantu be, kubanga ggwe togondedde ekyo Mukama kye yakulagira.”
15
Awo Samwiri n'agolokoka n'ava e Girugaali n'ayambuka e Gibea ekya Benyamini. Sawulo n'abala abantu abaali awamu naye, abasajja nga lukaaga (600).
16
Sawulo ne Yonasaani mutabani we n'abantu abaali awamu nabo ne batuula e Geba ekya Benyamini; naye Abafirisuuti ne basiisira e Mikumasi.
17
Abakwekwesi ne bava mu lusiisira olw'Abafirisuuti ebibinja bisatu (3), ekibinja ekimu ne kidda mu kkubo erigenda e Yofula, mu nsi ya Suwaali,
18
eky'okubiri (2) ne kidda mu kkubo erigenda e Besukolooni, n'eky'okusatu (3) ne kidda mu kkubo ery'ensalo w'oyima waggulu okutunuulira ekiwonvu Zeboyimu ku luuyi olw'eddungu.
19
Mu nsi ya Isiraeri yonna temwalimu muweesi, kubanga Abafirisuuti baagamba nti, “Abaebbulaniya baleme okweweeseza ebitala oba amafumu;”
20
Abaisiraeri bonna baagendanga mu Bafirisuuti okuwagala enkumbi zaabwe, n'ebiwabyo byabwe, n'embazzi zaabwe, n'ebifumu byabwe.
21
Ne babawoozangako ssente bbiri okuwagala enkumbi n'ebiwabyo, ate ne babaggyangako ssente emu okuwagala embazzi, n'okuddaabiriza emiwunda.
22
Kale ku lunaku olw'olutalo, tewaali muntu n'omu ku abo abaali ne Sawulo ne Yonasaani, eyalina ekitala, wadde effumu, okuggyako Sawulo ne mutabani we Yonasaani.
23
Abafirisuuti abaali mu lusiisira ne bafuluma okugenda okukuuma awayingirirwa okulaga e Mikumasi.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31